Jump to content

Entoloovu = Enkula ennetoloovu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Circle Properties

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Entoloovu (Circle) .

Entoloovu(Circle) mulamwa oguva mu kugattika(blending) ebigambo by'Oluganda "enkula ennetoloovu".Weetegereze bino:

(a)Ettoloovu = Ekkubo eryetoloovu (Roundabout)

(b)Enkulungo=Enkula ennekulungirivu (Sphere, Planet)

(c)Obwetoloovu (circumference)

(d)Obwebulungirivu (perimeter)

Entoloovu (Enkula ennetoloovu= a circularshape=Circle) “Entoloovu” kiggwaayo “enkula ennetoloovu”(circular shape=circle) ekitegeeza ekintu ekyetoloovu . Buli lwe tulowooza ku essomampimo ery’entoloovu (the geometry of circles), tuba tukuba ekifaananyi mu bwongo bwaffe eky’ebintu nga omupiira gwa motoka oba namuziga oba olupanka lw’eggaali. Enkula ennetoloovu (entoloovu)) eba efaanana bw’eti:

Entoloovu y’enkula eyebulungudde akatonnyeze ako mu makkati okuyita mu buwanvu bwe bumu okwetoloola akatonnyezekano.

Eno y’enkula ennetoloovuoba entoloovu abamu bagibuzaabuza n’enkulungoolw’obutayawula binnyonnyozo bya nkula zino zombi. Nedda, enkula eyo waggulu y’eyitibwa entoloovu kubanga eba netoloovu (circular) mu nkula so nga ate enkulungo eba nekululungirivu mu nkula yayo nga bw’olaba omupiira omwekulungirivu.

Entoloovu eba nkula ya museetwe nga yebulungudde akatonnyeze akali mu makkati obuwanvu bwe bumu okuva wakati. Ebinnyonnyozo by’enkula ennetoloovu(Circle)

Mu ssomampimo, fakikya nnyingi ezekuusiza ku ntoloovu(enkula ennetoloovu) n’akakwate ke zirina ku nkoloboze engolokofu, empeto, n’empuyinnyingi ziyinzaokukakasibwa. Fakikya zino ze ziyitibwa ebinnyonnyozo by’entoloovu, ekitegeeza “fakikya ezinnyonnyola entoloovu. Mu fakikya zino mulimu :

 Entoloovu nkula ya kyenkanyampuyi (symmetrical shape).

 Entoloovu ezirina ennakkati(radii) ez’enkanankana nazo ziba zenkanankana(congruent)

 Entoloovu ezirina ennakkati ezitenkanankana ziba nfaanagavu(similar)

 Entoloovu ezenkanankana ziba n’obwetoloovu bwe bumu

 Entoloovu ezirina ennakkati ezenkanankana ziba zenkanankana

 Bwe wetolooza entoloovu nga osinziira ku katonnyeze kayo ak’amakkati endabika yayo esigala y’emu, tekyuka.

 Olukoloboze olugolokofu oluyitibwa olusekkati (Diameter) lugabanya mu ntoloovu ebitundu bibiri, buli kitundu ne kiyitibwa “ekitoloovu”(=ekitundu ky’entoloovu =semi-circle).

 Kimu kya kubiri eky’olusekkati lw’entoloovu kiyitibwa lunakkati lw’entoloovu

 Olunakkati(Radius) olw’entoloovu = Olusekkati ey’entoloovu (d) / 2

 Obuwanvu bw’entoloovu bwonna bwe buyitibwa obwetoloovu (circumference) oba “obwebulungirivu bw’entoloovu”(Perimeter of Circle) era okubalanguza obwetoloovu bw’entoloovu tukozesa ekibalanguzo: Obwetoloovu bw’entoloovu= = 2 x π x r. Wano ‘π’ eba entakyuka eyenkanankana 3.14 ate 'r' y’eba laadiya y’entoloovu.

 Okukwataganya obutonnyeze bw’enkomerero obubiri ku ntoloovu ofuna “ekikoloboze “(chord) y’entoloovu era olusekkati ky’ekikoloboze ky’enkulungo eekisingayo obunene.

 Olukoloboze olugolokofu olukoona ku katonnyeze akamu ak’entoloovu luyitibwa oba “Olukoono” (Tangent).

 Ekitundu ku bwetoloovu bw’entoloovu kiyitibwa “akaaki” (Arc) k’entoloovu.

 Omugattiko gwa ekikoloboze n’akaaki kye kiyitibwa ekisittaloky’entoloovu.

 Empeto z’ekisittalo ze zimu ebbiri ez’entoloovu zenkanankana.Ekyokulabirako ,singa erimu kumpeto liri nampeto 60, kitegeeza eppeto ly’ekisittalo eddala liba nalyo nampeto 60.