Entry Inhibitor

Bisangiddwa ku Wikipedia

Entry Inhibitor[kyusa | edit source]

Kino kika (class) kya ddagala lya ARV oluusi ekiyitibwa fusion ekimu ku bikozesebwa mu mulengo okujjanjaba akawuka ka siriimu. Ekika kino kikosa oba okutaataganya engeri akawuka ka HIV gye keeripa n’okuyingira mu katoffaali k’omuntu naddala CD4+ T cells.

Okuyingira kwa HIV mu (CD4+ T Cell)[kyusa | edit source]

Waliwo ebiriisa ebiwera eby’ekika kya protein ebikola ekinene mu kuyambako akawuka ka HIV okwesogga obutoffaali bwa CD4 T Cells. 1. CD4: Kino kiriisa kyanirizi (protein receptor) ekisangibwa ku lususu ku butoffaali obuyambi (T cells) oluusi obuyitibwa CD4+T cells.

2. [gp120]]: Kino kiriisa ku ngulu w’akawuka ka HIV ekyerippa ku kiriisa ekyanirizi ku katoffaali ka CD4.

3. CCR5: Kino kiriisa kyanirizi (protein receptor) eky’okubiri ekisangibwa ku lususu lw’obutoffaalo obwa CD4+ T Cell ne Macrophages enyanirizi receptor eziyitibwa Chemokine.

4. CXCR4: Kino kika kya chemokine ekyanirizi ekisangibwa ku CD4+ T cells

5. gp: Kino kiriisa ekyagala okuba n’akakwate n’okufaanana gP120 ezisensera olubembe lw’obutoffaali bwa CD4+ T cell.

Emitendera gy’okwegatta n’okuyingira egibaawo[kyusa | edit source]

Akawuka ka HIV okwesogga kalina okuyita mu mitendera gino:

1. Okulipaggana kw’ekiriisa ky’akawuka ka HIV ekya gp 120 ku kiriisa ekyanirizi eky’akatoffaali ka CD4.

2. Ekyukakyuka mu kiriisa kya gp120 ekikireetera embeera y’okwegala ekivaako ekiriisa gp41 okufuna omwaganya okukyerippako.

3. Ekiriisa gp120 okwerippa ku kiriisa CCR5 oba CXCR4

4. Olubembe lw’akatoffaali okusenserebwa ekiriisa gp41 ekireetawo embee ng’olususu lw’akawuka ka HIV n’olw’akatoffaali ka T Cell ekyanguyiza okuleetawo embeera y’okukesogga.

5. Akawuka okwesoggera ddala munda wa katoffaali (cell core).