Jump to content

Enyma

Bisangiddwa ku Wikipedia

    I-Am Enygma (yazaalibwa 1 Ogwokubiri, 1980), amanyiddwa ennyo n’erinnya lye erya siteegi erya Enygma. Munnayuganda Omuyimbi wa Rap, mukozi wa nnyimba, mufulumya wa nnyimba omukulu era omutandisi w'emirimu amanyiddwa olw’ennyimba ze eza laced rhymes n'okwambala masiki ku maaso asobole okukweka kyali. Yafuna ettutumu mu Gwekkumineebiri gwa 2010 oluvannyuma lw'okwatiikirira kw'oluyimba lwe olwa, Hustler's Night nga lulimu n'abayimbi omwali The mith, Keko ne Navio . Kino kyaddirirwa ennyimba ezaasingako okuvuga mu 2011, okwali FUMEME ne Ten Reasons . Era akiikirira kimu kya kusatu eky’ekibiina kya Rap ekya Klarity ng’ali wamu ne The Mith ne Lyrikal Proof. Era atera okukolagana n'abayimbi abalala nga Ruyonga, Maurice Kirya [1] ne Lyrical G . [2] Ng'omutandisi w'emirimu, Enygma akola bizinensi ez’obwannannyini, okusinga eziri wabweru w’eby’ennyimba.

    Enygma yafuna obwagazi bwa hip hop oluvannyuma lw’okumuwulira ku mikutu gya leediyo ne ttivvi egy’amaanyi ng’akyali mwana muto okuva mu nnyimba za rap ezimanyiddwa ennyo ezaali enjatiikirivu. Yasanyuka olw'okuba ntii yali afunye ekika ky'ennyimba ekyali kikwatagana n’okwagala kwe eri ebitontome bye yali azimbidde mu ssomero. Enygma yatuuka n’okutandika okukwata mu mutwe ennyiriri za rap zonna ze yali ayagala ennyo era we yamaliriza siniya yali afunye erinnya mu banne nga battle MC ow’amaanyi era ow’okuvuganya era nga bulijjo ayimba ku bubaga bw'omussomero. Yakwatagana ne kizibwe we, pulodyusa Vince Vaider, ne bakola olutambi mu 2001, kyokka obuzibu mu by’ekikugu ne bumulemesa era Enygma n’awummula mangu okukuba Rap n’assa essira ku kusoma mu Yunivasite.

    Nga wayiseewo emyaka egiwerako, Enygma yaddamu okuwandiika era mu mwezi gw'omukaaga 2011 yafulumya oluyimba oluyitibwa Enygma of the State mixtape.[3] Kino kyaviirako Enygma okufuna Awaadi za Buzz Teeniez emirundi ebiri (Top Hood Rapper ne Breakthrough Artist) mu 2012. Kino kyaddirira ennyimba endala bbiri, omwali Maskerade mu Gwekkumineebiri 2012 (naddamu naafuna okunsulwa mu Buzz Teeniez Awards ku kya Top Hood Rapper) ne The Enygma Machine mu Gwoekkumineebiri, 2014.

    Enygma era amanyiddwa nnyo olw’ masiki ye emutunda, gy’ayambala buli lw’alabikira mu lujjudde, omuli okuyimba ne vidiyo z’ennyimba. [4]

    Obulamu bwe n'emirimu gye

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enygma yazaalibwa Kampala mu Uganda kyokka obuto bwe yabumala mu kibuga London ekya Bungereza. Yakuzibwa ku mpisa z’Afirika n’Obusiraamu ekyamuyamba mu bulamu bwe obw’ekika kya teetotal. Bazadde be nabo baali baagala nnyo ebyenjigiriza era ne bakubiriza Enygma okwagala okusoma ebitabo okuva nga wa myaka ena gyokka. Amangu ddala nga yaakatandika okusoma, yafuuka nnantameggwa mu kwatula ennyukuta ezikola ebigambo era n’galina enkolagana ennungi ennyo n’abasomesa be b’Olungereza abaali bategera ekitone kye eky'okumanya ebigambo ekiwandiikiddwa. Kyaleetera Enygma okwagala ennyo okusoma n’okuwandiika ebitontome. Era yeegatta ku kiraabu z’omussomero omuli ey'abayimbi era mu bifo eby’enjawulo yakubanga ennanga, xylophone, engima z’ekyuma, omulere ne double bass. Ebivuga bino yabikubanga ku nkuŋŋaana mu ssomero era n’atontomanga n’okuzannya emizannyo.

    Mu 1989, oluyimba Vanilla Ice lwe yayimba ne Ice Ice Baby lw'ayatiikirira nnyo era nga lwettanirwa nnyo mu London n’awalala wonna. Omuvubuka Enygma yali tawulirangako nnyimba zeesigamye nnyo ku bigambo ng’ebyo era omuvubuka Omufirika abeera mu London yafuna ennyanjula esinga obutasuubirwa ku nnyimba y'ekika kya rap. Enygma yakwata ebigambo byonna mu mutwe era n'akola kye kimu ku luyimba lwa MC Hammer olwa U Can't Touch This n'oluyimba lwa Will Smith olw'omulamwa lwe yaweereza The Fresh Prince of Bel-Air. Mu 1991, omuyimbi Kris Kross ow’emyaka 11 akuba rap yavaayo ku siteegi era olw’okuba abalenzi bano baali bamufaanana (naddala omugenzi Mac Daddy), Enygma yawulira ng’azziddwamu amaanyi nti omulimu guno gwali tegukugira balenzi bato nga ye. Mu myaka kkumi egyaddirira, yakung’aanya ennyimba za 2pac, Notorious BIG, Jay-Z, Nas, Eminem, Xzibit, DMX, Busta Rhymes, Naughty By Nature, Warren G, Will Smith, Lil Kim, Missy Elliot ne Rakim. Mu 1997, Mase yafulumya 24 Hours To Live nga mulimu Lox, Black Rob ne DMX mu emu ku nnyimba za hip hop ezaayatiikirira ennyo mu kiseera ekyo. Kino kyaleetera Enygma, oluvannyuma lw’emyaka mingi ng’awandiika ebitontome, okuwandiika ennyimba ze eza rap ezaasooka. Mu 2001 mu luwummula lwe olwa Senior 6 e London, yawandiika olutambi ng’agenderera okukwata ne pulodyusa eyali kizibwe we ayali ayitibwa, Vince Vaider. Naye nga entuuko bwe yakiteesa, kompyuta ya Vaider yakola bubi era teyasobola kujjayo n wa bivuga nga bwe kyali kibaliddwa. kkompyuta ya Enygma nayo yafa, ekyamuviirako okufiirwa ebigambo byonna bye yali awandiise ku lutambi lwe. Kino kyaviirako Enygma okulekeraawo okukuba rap kuba yali atandise okusoma ku Yunivasite era n’eby'okukola ekivvulu ekimu ku ttendekero omulundi gumu mu mwaka, teyafuna budde kukikola. Wabula yasisinkana GNL Zamba, Wordstorm, Navio, The Mith ne Langman mu nnaku ze eza Yunivasite. Omukwano oluvannyuma ogwamuyamba ennyo mu mulimu gwe, wadde nga kino teyakiraba mu kiseera ekyo.

    Entandikwa y’emirimu gye

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Oluvannyuma lwa Yunivasite, Enygma yasigala yeenyigira mu hip-hop mu ngeri y'akwetegereza kwokka era n’atandika omulimu gwe ogwa wofiisi, nga teyeenyigirirako ddala mu kisaawe ky’akuyimba. Ku mukolo gumu ogw’ekitongole, yasumulula ettaayi ye n’akwata akazindaalo n’atandika okukuba rap eri abalabi be abaali bawuniikiridde. Kino kyavaako Enygma okuddamu okukwatagana n’omuntu gwe yali amanyidde ddala okuva mu biseera bye ng’omuyizi ayitibwa Jay Kay. Jay Kay yalina audio editing suite era yali atereeza ennyimba ku kompyuta ye ne mikwano gye abalala basatu (Junny, DM Dub ne Plan Mbi) era nga beeyita Da Posse. Enygma yayitibwa okwegatta ku kibiina kino okusinziira nti bonna baalina ebintu bibiri bye baali bafaanaganya ebyali nti, bonna baalina emirimu gy’awoofiisi era nga baagala nnyo okuyimba Rap. Aba Da Posse bwe baalinga tebakwata nnyimba ku kompyuta ezaalina emizindaalo gya Skype, baali beegezaamu mu kukuba rap nga beegeraageranya n'ekigendererwa eky’okusaza obukodyo bwabwe obw’okuyimba. Oluvannyuma lw’okukwata oluyimba lwa Kampala City, kyasalibwawo nti kye kyali ekiseera okunoonya situdiyo entuufu n’okukwata ennyimba okw’ekikugu. Kino kyaviirako ekibiina kino okugenda mu Hannz Records mu Gwekkuminoogumu gwa 2009, Kampala City ne baddamu kumukwata buto. Hannz ne Enygma baakiraba nti baalina enkwatagana ennungi era ne bakkaanya okukola pulojekiti endala nga bali wamu mu bbanga eritaali ly’awala.

    olutambi lwa Enygma of the State

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Mu 2010, Enygma yatandika omulimu gwe ogw’okuyimba ogw’amaanyi. Yali asazeewo akole ku lutambi lumu bwamala awummule. Olutambi olwo lwali lw'akuyitibwa Enygma of the State. Omutwe guno gwava mu mixtape ya Lupe Fiasco eyali eyitibwa Enemy of the State nga efaanana omutwe gw'emu ku firimu za Will Smith z’ayagala ennyo. Olutambi lw'agatta ebintu Enygma bye yakola okuva lwe yasooka okumanya nti asobola rap, ne by'akola mu kiseera kino era olutambi lwakukomekkerera na buli kimu ky’akoze wakati awo. Okuwaanyisiganya ekigambo "Enemy" n'erinnya "Enygma" nakyo kikiikirira okwawukana wakati mu kika ky'omuntu Enygma kyebamulabamu. Asobola okuba ow'ekitangaala n’ow'ekizikiza okusinziira ku ngeri gy’osazeewo okumutaputamu, n’afuukira ddala Enygmatic. Olutambi luno bwe lwaggwa, Enygma yawulira ng’ayize bingi nnyo ku kubeera omuyimbi akwata ennyimba ng’akola era yalaba nga waali wakyaliwo n’ebirala bye yalina okuyiga. Yasalawo okuyimiriza eky'okuwummula okutuusa ng’alabye engeri gy’asobola okukula ng’omuyimbi era n’addamu okukola Enygma of the State okuva ku lutambi okudda ku mixtape n’alufulumya mu Gwomukaaga gwa 2011. Bwe yali mu lugendo olwo, erinnya lya Enygma lye ly'ayongera okukula. [5]

    Oluyimba lwe olw'akulembera naye nga telwali ku mixtape eyo lwali lwa Hustler’s Night nga yali ne The Mith, Keko ne Navio nga lwagenda wansi ng’olumu ku nnyimba za hip-hop eza Uganda ennungi mu biseera byonna. Lw'atongozebwa ku Hot 100 era vidiyo eno yatambula nnyo lutimbe lwa Afrika olutongoza vidiyo z'ennyimba, olwa Channel O .

    Olutambi lwa Maskerade

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Olw’okuba Enygma of the State yali mixtape ya butanwa, Enygma yayagala okukola mixtape mu bugenderevu. Okusoma kwe okwa hip-hop kwamuyamba okumanya nti mixtapes zibaamu nnyo endongo ebeera ewulikika emabega mu luyimba, n'amaloboozo g'ebivuga okuva mu nnyimba enjatiikirivu ezimanyiddwa ennyo omuyimbi ayogerwako ze yali ayagala okukwatako n’okuwa enzivuunula empya. Era bwe kityo Enygma yagenda mu maaso okuteekamu ennyimba endala nnyingi nga bwe yawuliranga obwetaavu bwa pulojekiti eno. Era olw’okuba endongo yali bya bayimbi balala, mu butuufu yali akyusizakyusiza ku bivuga ebyo, era kye kyavaako okugiyita Maskerade (Ogwekkumineebiri 2012). Endowooza eno mu bangi teyasiimibwa era pulojekiti eno yayawulamu endowooza z’abaagazi ba hip-hop mu Uganda. Wadde kyali kityo, FUMEME (lwali luyimba olwali lunnyonyola ebizibu by’amasannyalaze okuvaavaako mu Kampala, lwakwatibwa ku ndongo y'omuyimbi Kanye West ey'omu luyimba lwa All of the Lights ) lwafuuka oluyimba lwa Enygma olwasinga okuggyibwa ku mutimbagano mu biseera byonna era ne lubunyisa ettutumu lya Enygma ku mpweo ya leediyo ne ttivvi ezaali ezitawa budde bungi nnyimba za hip-hop eza Uganda.

    Olutambi lwa Possebility

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enygma bwe yali akwasaganya Enygma of the State ne Maskerade, yali akyasisinkana banne aba Da Posse era ng’oluusi bakwatayo ku nnyimba. Omutwe gwa Possebility gwalondebwa ng’obuwanguzi obwava mu kwagala mu mbeera ezenjawulo. Nga buli omu akola emirimu gye ebiseera byonna mu mirimu gyabwe egya wofiisi, okukung’aanya bammemba bonna awamu awatali kusalako okusobola okukwata ennyimba ezimala okukola mixtape kyali kizibu naye nga kisoboka. Possebility yafulumizibwa mu 2013.

    Olutambi lwa The Enygma Machine

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enteekateeka eyasooka yali nti olutambi lwa Enygma olwali lusuubirwa okuva edda olwa Enygmatic lwali lugenda kufulumizibwa mu 2014. Wabula yali awulira obukoowu oluvannyuma lw’okukwata ennyimba okumala emyaka 3 nga tayimiridde era bwe kityo omwaka 2014 ogusinga yagumala mu luwummula okuva mu situdiyo. Wabula ekirungi, empisa ye ey’okukola obutasalako yategeeza nti mu kkabada mwalimu mixtape endala era bwe kityo waaliwo pulojekiti eyaliwo okufulumizibwa okubuna abawagizi be okutuusa ng’olutambi luwedde. The Enygma Machine yafulumizibwa mu Gwekkumineebiri gwa 2014. [6]

    Gye yayimbira

    [kyusa | kolera mu edit source]
    • 2011: Ekivvulu kya Navio ekya Nawuliranga
    • 2012: Kwivuga. [7]
    • 2012: Ekivvulu kya Mun*G Champion. [8]
    • 2012: The Mith Nine2Eleven. [9]
    • 2013: Ekivvulu kya Ruyonga Victory Music Concert. [10]
    • 2013: Ekivvulu kya Myko Ouma Season II. [11]
    • 2014: Ekivvulu kya Benezeri Champion. [12]
    • 2014: Ekivvulu kya Bayimba. [13]
    • 2014: Ekivvulu kya Navio eky’emisana.

    Omusono gwe ogw’okuyimba

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enygma yali amanyiddwa olw’okutumbula enkozesa ya punchlines mu hip-hop wa Uganda era kakyali kabonero ke akamutunda k’amanyiddwaako. Wadde kiri kityo, Enygma akozesa obukodyo obw’enjawulo obw’okuwandiika ennyimba, ng’akozesa enfumo n’ebigambo ebituufu mu mulimu gwe. Wabula okusinga byonna, anyumirwa nnyo okuzannyisa ebigambo buli lwe yafuna omukisa era kino kimuyambye okubeera waggulu, mu lubu lw'abayimbi ba hip-hop abamaanyi mu Uganda. [14]

    Obulamu bwe obw'obuntu

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enygma alaze ku mikutu gya gy'omutimbagano kw’ossa n’okwogera mu mboozi za leediyo ez’enjawulo nti Musiraamu, era nti Obusiraamu kitundu kikulu mu bulamu bwe. Mu mwaka gwa 2013, Enygma yafulumya oluyimba lwe yatuuma Fast Track nga luno lwali lulaga ebikwata ku bulamu bw’omusiraamu obw'okusiiba mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan .

    Ebintu ebirala by’ayagala

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Enygma mu bugenderevu abikkula kitono nnyo ku bulamu bwe obw’obuntu. Wabula kimanyiddwa nti ebirala by’ayagala mulimu omupiira, tekinologiya, okusoma ennyo n’okuwakanya e nguzi. [15] Era alina amasaati agatundibwa okuyita mu. [16]

    Entambi z'omu

    [kyusa | kolera mu edit source]
    • 2015: Enygmatic
    • 2011: Enygma of the State
    • 2012: Maskerade
    • 2014: The Enygma Machine
    • 2015: Mask-King-Tape

    Nga bali ne Da Posse

    [kyusa | kolera mu edit source]
    • 2013: Possebility

    Awaadi n'okusiimibwa kwe

    [kyusa | kolera mu edit source]

    Mu 2012, Enygma yalondebwa okuba omuyimbi ow'okufuna awaadi ku kifo kya Breakthrough Artist ne Top Hood Rapper ku Buzz Teeniez Awards.[17] Mu mwaka gwe gumu yali mu kibinja ekyalondebwa mu mpaka za 'Competition is Dead' mu awaadi za 'Pearl of Africa Music Awards'. Mu 2013, Enygma yaddamu okulondebwa nga Top Hood Rapper mu awaadi za Buzz Teeniez Awards.[18] Atwalibwa ng'omu ku bayimbi ba rap abakyasinze okuba ab'omugaso mu Uganda.[19]

    Ebijuliziddwa

    [kyusa | kolera mu edit source]

     

    Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

    [kyusa | kolera mu edit source]

     

    • Official website
    • Enygma's channel on YouTube
    1. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=26898:ruyongas-path-to-stardom
    2. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=24035:lyrical-g-now-drops-grown-man-view&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
    3. https://web.archive.org/web/20150108084548/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=315468&CatID=377
    4. https://web.archive.org/web/20150108084721/http://www.hipipo.com/music/news/956/Enygma-The-Masked-Hip-Hop-Lyricist-And-Rapper
    5. https://web.archive.org/web/20150108084512/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=629833&CatID=384
    6. https://web.archive.org/web/20150108084412/http://urbanhype.net/download-enygma-machine-mixtape-enygma/
    7. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=20707:muliras-kwivuga-gamble-pays-off&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
    8. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=20847:mungs-show-hip-hop-great-is-born
    9. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=18887:weekend-buzz-kerunen-at-serena&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
    10. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=26838:ruyonga-returns-in-victory-music-concert
    11. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=27411:myko-ouma-promises-surprise&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
    12. https://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=31660:-benezeri-has-arrived&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
    13. https://chimpreports.com/12935-uganda-prepares-for-bayimba-festival/
    14. https://observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=25170:celebs-vying-for-teen-awards
    15. https://www.youtube.com/watch?v=rxrWtKJe5W8
    16. https://www.monitor.co.ughttps//www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/fashion-beauty/definitive-creations-1593298
    17. https://www.ugandaonline.net/news/view/12539/buzz_teeniez_awards_are_back
    18. https://web.archive.org/web/20150108084159/http://xclusive.co.ug/2013/04/11/buzz-teeniez-awards-bobi-wine-snubbed-as-goodlyfe-scoop-highest-nominations/#.VK4dC3sztkE
    19. http://thetribeug.blogspot.com/2013/10/top-influential-ug-rappers.html