Enzikiriza Ey'ekinnansi mu Uganda

Enzikiriza Ey'ekinnansi Enzikiriza ey'ekinnansi kye kijjukizo eky'ensikirano esimbye mu magezi gabajjajjaffe abatusooka ku nsi eno, agalaga obwetaavu bwokutambulira mu ntegeeregana n'obutonde obutwetolodde, n'enkolagana entukuvu wakati w'abantu n'ensi y'omwoyo.[1]
Enzikiriza ey'ekinnansi etambulira wansi w'obuwabuzi obwa Ministry ya Uganda ey'ekikula ky'abantu, eby'emirimu wamu n'ekulaakulana (Ministry of Gender, Labour and Social Development) era nga ekakasibwa etteka lya ly'ebyensikirano (customary Law) mu Ssemateeka wa Uganda. Enzikiriza eno teriiko bwannanyini era egatta amawanga gonna agali mu Yuganda.
Enzikiriza Ey'ekinnansi esibuka mu magezi n'ebyafaayo by'abantu ba Uganda abannansi agaze gatambuzibwa mu ngero, ennyimba nemikolo gy'obuwangwa n'ennono. Amagezi gano gegaali omusingi okwazimbibwa ebika, emiziro, amannya g'ebifo wamu n'okwawula obuwangwa obwenjawulo. Mu biro bino, bajjajjafe bayita mu Mulangirizi wamu nebanne abatuula mu Ttaabamiruka we Rubaga 2024 [2] nebaakaanya amagezi g'abajjajjafe negassibwa mu kitabo ekiyitibwa Bibyo. Omulangirizi Wasajja Kiwanuka oluvanyuma yalondbwa abeere omukulembeze w'enzikiriza eno asooka mu Uganda naweebwa ekitiibwa kya Ssaabatindira. Yalondebwa ne Nnaabatindira nga Muhereza Kabahinda H. Nakayima okuva e Ibanda mu Ankole.[3]

Ebyafaayo by'enzikiriza ey'ekinnansi
[kyusa | kolera mu edit source]Enzikiriza ey'ekinnansi y'emu kwezo enkola ez'obuwangwa azasookera ddala ku lukaalu lw'Africa nga zisimbye mu bulamu bw'abantu obwabulijjo, eby'obukulembeze, nokunnyonyola ensibuko y'ebintu ebitaakolebwa bantu. Enzikiriza eno ssi ddiini nga bwekiri mu nzkiriza eziva mu nsi z'abagwiira, wabula nkola entambulira awamu n'obulamu bw'abantu okusobola okuleetawo obulongoofu mu nkolagana yaabwe wamu n'enkolagana y'abantu n'obwomwoyo.[4]
1. Ensibuko nga bwerabikibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Edda ennyo nga ebitundu mu nsi kati eyitibwa Uganda tebinatuumwa mannya, abantu bamanya okubeera kw'amaanyi g'obutonzi era ensibuko y'obulamu. Wakati mu kutandika kw'obuwangwa, abantu bafuna ebigambo byebatuumanya amaanyi ago amassukulumu okugeza; Abaganda bagayita Katonda (okuva mu kikolwa eky'okutonda), amawanga ag'ebugwanjuba omuli Bunyoro, Toro, Ankole namala nebakozesa Ruhanga, abaTeso bakozesa Were at mu Acholi bakozesa Jok. Amaanyi g'obutonzi gano gategeerwa nga agali mu bitonde byonna byetulaba nebyetutalaba, nga kwotadde n'emyoyo gy'abajjajjaffe abakola nga abalungamya wakati waamanyi gano naffe abantu.[5]

2. Enkolagana n'ebajjajja wamu n'endyo zaffe
[kyusa | kolera mu edit source]Ensonga enkulu ennyo mu Nzikiriza ey'ekinnansi kwe kussa ekitiibwa mu bajjajjaffe. Enzikiriza eno esomesa nti abo abasooka okuba kunsi kuno tebaafa wabula badda mu nsi yemyoyo, era nga bayamba n'okukuuma bazzukulu baabwe abaliwo kati. Amaka wamu n'ebika bikuuma ebijjukizo wamu n'ebiggwa we bateeka amakula, era nendyo zaabwe nezikuumibwa butiribiri. Bajjajjaffe balondanga mu bazzukulu baabwe bebayisaamu obubaka obulabula, obujjukiza, obulagula ebirijja mu maaso, ebikwata ku kuwonya enddwadde n'ebirala bingi. Obukkiriza mu bazzukulu bwatandikiranga mu ngero ez'ebyafaayo byamawanga, ebika, emiziro n'emizizo. Era bino byanywezanga obumu, empisa, obuntubulamu nekwata y'obutonde obutwetoolode.[6]
3. Ebifo ebitukuvu eby'obutonzi
[kyusa | kolera mu edit source]Enzikiriza y'ekinnansi esoosoowaza nnyo obutonde omuli; ensozi, embalama z'emigga, ebibira, embalama z'ennyanja, n'enjazi. Bino bitwalibwa nga ebifo ebitukuvu omuwummulira emyoyo.Ebiggwa byasibwanga mu bifo bino okwongera okuleetawo ennyungirizo wakati webiri ku nsi, neebyo eby'omwoyo. Ebifo nga ennyanja Nalubaale, Omugga Kiyira, Ebiyiriro bya Ssezibwa, ebiyiriro bye Kidepo, olusozi Walusi, Olusozi lw'omwezi (Rwenzori), Olusozi lwa Kigulu, Olusozi lwa Masaba n'ebirala.[7]
4. Abalyowamyoyo n'abakkirwako obubaka
[kyusa | kolera mu edit source]Abalyowamyoyo gwemugongo gw'enzikiriza ey'ekinnansi kuba lyekkubo ery'empuliziganya wakati w'abakkiriza n'ensi ey'emyoyo. Abalyowamyoyo, abasajja n'abakazi era baweebwa obuvunaanyibwa obuvunaanyizibwa okukuuma ebiggwa by'ekika, okukuuma n'okujukiza abalala emikolo gy'ennono, okukulemberamu emikolo aginyweza ab'ekika ku butonzi.[8]
Ku ludda olulala, abakongozi beebo abakkirwako obubaka okuva mu myoyo egy'enjawuloomuli; egy'okubutonzi n'egyabo bajjajjafe abatuva ku maaso. Bano baba n'obusobozi obuva mu mbeera ez'obuntu olw'o emyoy negisobola okuboogererako nga giwa okulabula, okulambika,n'omukisa eri abazzukulu.Abalyowamyoyo,abakongozi n'abasawo b'ekinnansi bakolera wamu naye buli omu akola omulimu gw'anjawulo. Wabula bonna baleetawo obutembekevu, okuvumula, empisa n'enkulaakulana ey'abantu bebakulembera nga ewaniriddwa obuyambi bw'emyoyo emitukuvu.[9]
5. Obufuzi bwamatwale n'okujja kw'eddini zabagwiira[10]
[kyusa | kolera mu edit source]Okujja kw'abafuzi b'amatwale kwaggulawo essula ey'entiisa mu byafaayo by'enzikiriza ey'ekinnansi. Okujja kwa ba minsane abakristaayo n'ebikolwa byabasomi b'eddini y'ekiwarabu mu kiseera ky'obufuzi bwamatwale mwasibukamu ensomesa eyafuula enzikiriza yaffe ennansi okuba eya 'Sitaani' era ey'kirogo. Ekigambo 'Sitaani' kyaleetebwa bagwiira era okutuusa olwaleero kirina makulu nnini zaffe ennansi. Ebiggwa byaffe byasanyizibwawo, abalyowamyoyo battibwa nebasibibwa ne makomera, okugeza Kigaanira Ssewannyana ow'e Mutundwe, abantu bonna baakakibwa okusuulawo enkola z'abajjajjabwe.Engeri gyekyali nti ediini zino zaali ziva butereevu mu nsi ezaali zivamu bafuzi bamatwale, bayambako nnyo abakulembeze bediini zino okukaakatika amadiini amgwiira ku bantu ba Uganda mu biseeera ebyo. Awo weewatandikra okugatta enkola z'abalyowamwoyo nga bonna begatta wamu nabasawo ab'ekinnansi.[11]
6. Obunywevu n'okuzuukusa Enzikiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Wadde nga Enzikiriza Enzikiriza ey'ekinnansi eyise mu tyoboolwa okumala ebbanga eddene okuviira ddala mu biseera bya bafuzi bamatwale n'abaminsane b'enzikiriza engwiira, enkola zaayo tezaasanyizibwawo; zaasigala mu mbeera z'abantu ababuliijjo naddala mu mikolo gy'amaka, enkungaana z'ebika, ebivuulu by'enyimba namazina, obusawo bw'ekinnansi, enyimba n'engero. Bwekityo, ebifo ebimu ebitukuvu byasobola okutaasibwa, engero n'ebyafaayo ebimu bikyajukirwa, n'amagezi ag'ekinnansi amalala egasigala mu bulamu bwantu obwa bulijjo.[12]
Wasituuse omulembe ogw'abavubuka abayaayana okumanya ku magezi gano ag'ekinnansi naddala enzikiriza eno era kati tebakyalina kutya okwali kwasigibwa mu bazadde ababulira mu ddini engwiira. Abajjajjabi, abakongozi n'abalanzi beesowoddeyo okumanyika ate nokulaga ebitone byabwe awatali kutya. Okuzuukuka kuno tekuli mu byakudda mabega wabula okujjukira okuyamba okusaawo enkola ezijja ku mulembe guno naye nga zesiamye ku magezi gabajjajjafe.[13]
7. Obutume bw'Omulangirizi n'obubaka mu kitabo Bibyo[14]
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva ku lusozi lw'e Bugembegembe wasituka Omulangirizi, omuvubuka okuva mu nju ya Ssekabaka Daudi Chwa II eyafuna okulabikirwa okukyusa omulembe gwe. Yali yasomesebwa amagezi gabagwiira naye tegasobola kuziyiza bubaka bwabajjajjabe ku mukkirako era bwatyo yafuuka olutindo lw'okujukira ebyedda ate negeri gyokubibbulira mu biseera ebyabuliwo. Omulangirizi Wasajja Kiwanuka obubaka bweyafuna yabugata ku byafaayo by'ensiye wamu n'amagezi amakusike ag'olukalu lwa Africa ne bikungaanyizibwa mu kitabo Bibyo. Mu ddoboozilye, amagezi gabajjajjaffe abedda gasobola okuwulirwa nate, engero za ba Ssekabaka, abalanzi abasooka baddamu okwogerwako, obutukuvu bw'ensi n'ebitonde ebiriko bwassukulumizibwa nate.[15]
Bwatyo yalondebwa okukulemberamu kaweefube w'okuzza obujja Enzikiriza yabajjajjaffe nga ali wamu n'olukiiko olussukulumu olwaliko abo abazze balafubana okulaba nga Enzkirirza eno eddamu okufuna ettutumu lyayo.[16]
8. Emisingi gy'enzikiriza Ey'ekinnansi
[kyusa | kolera mu edit source]Enzikiriza ey’ekinnansi esiimbye mu misingi musanvu. Abakkiriza bonna balina okutambulira mu misingi gino okusobola okutegeera amakulu g’obulamu bwabwe n’obuvunaanyibwa bwabwe eri Omutonzi. Emisingi gyegino;[17]
Bwetusinza, tusukkulumya Omutonzi w’ebintu byonna.[18]
Teri kitonde kisinzibwa waggulu w’omutonzi w’ebintu byonna. Ffenna tusabibwa okuteekawo enkolagana ennungamu n’omutonzi waffe nga tuyita mu kusinza, okwefumintiriza n’okutambulira ku biragiro bye ebyerambise mu butonde.
Omwoyo gw’Omutonzi gutudde mu ffe ne mu bitonde bye byonna.
Ebitonde byonna nga mwemuli n’abantu, birina Omwoyo gw’omutonzi mu byo. Ffenna tukubirizibwa okuzuula, okukulaakulanya n’okukuuma butiribiri ekitundu ky’obwomwoyo ekitutuddemu. Era tukubirizibwa okussa ekitiibwa n’okukuuma ebitonde ebitwetolodde kuba nabyo birimu omwoyo gw’obutonzi.
Omwaliiro gw’obutalabika mwe mwajjuzibwa obugabane n’obuyinza.
Omutonzi yatukisa omwaliro gw’ebitonde ebitalabika wabula naawa omukiisa abo abamaze okwezuula okuloza ku maanyi n’obuyinza bweyajjuza mu bitonde ebyo. Omwaliiro g'wobutalabika gwegutulwamu abo abavudde mu bw'omubiri era betuyita bajjajjaffe. Era tukubirizibwa okussa ekitiibwa mu myoyo gyabajjajjaffe abatusooka ku nsi eno wabula kati nga abli mu bwamwoyo. Bajjajja bawereza obubaka gyetuli obulabula, obusomesa, obujjajjaba oluusi n'obwemulugunya. Tulina okumanya bajjajjaffe baavako buvi omubiri wabula teebafa kuggwawo.
Omuzadde y’empagi etunyweza mu bwakatonda.
Kwali kusiima kwa Mutonzi okuzaalibwa abazadde abo era okuzaalibwa mu maka ago. Bazadde baffe babaka ba Mutonzi beyawa obuvunaanyibwa obw’okuleetawo obulamu obuggya. Bwekityo amaka galina obuyinza okulambika okuteekateeka n’okulambika ezadde Omutonzi lyayiza mu maka ago. Enteekateeka eno erimu ennambika mu mpisa, enkola z’emyoyo, obuntubulamu, okumanya oluganda n’ensibuko.
Buvunaanyizibwabwo okukola obulungi oba okwonoona.
Bwetuba tukula, tufuna okumanyisibwa kwebyo ebikkirizibwa n’ebitakkirizibwa, ebibi n’ebirungi, ebituufu n’ebikyamu era omuntu avunaanyibwa ku ngeri gyasalawo okutambulira kwebyo ebikirizibwa oba okukola ebyagaanibwa. Okusalawo okulungi oba okubi kuvaamu empeera oba okubonerezebwa.
Obukkiriza ly’ekkubo eritutuusa mu bulongoofu.
Omuntu yenna atalina kukkiriza abeeranga ekisusunku mu banga oba eryato eritalina ndagiriro. Omuntu ow’ekika ekyo taba nakigendererwa mu bulamu bwe. Abo abakkiriza nti Omutonzi atude mu bbo bafuna omukisa okwezuula n’okwelongoosa okusobola okujja mu maaso g’omutonzi.
Omubiri bwegufa omwoyo guddayo mu ssaalaliro ly’emyoyo.
Omwoyo gukka mu mubiri gw’omuntu lwazaalibwa era omubiri bwegufa, omwoyo gumuvaamu ne guddayo mu nsi y’emyoyo gyegwava. Ensi y’emyoyo erimu emyaliro egiwerako emyoyo egivude mu mubiri gyegidda okusinziira ku ngeri gyegibadde gyeyisaamu nga gikyali mu mibiri
- ↑ Obuwangwa
- ↑ Ttaabamiruka we Rubaga 2024
- ↑ Omulangirizi
- ↑ Afirika
- ↑ Buganda
- ↑ Obuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)
- ↑ Obuwangaaliro obw'Obutonde(the natural environment)
- ↑ Bakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient Buganda
- ↑ Bakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient Buganda
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Protectorate_of_Uganda
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda
- ↑ Ennyambala mu Buganda
- ↑ Okujjanjabisa obutonde
- ↑ Bibyo
- ↑ Omulangirizi
- ↑ Omulangirizi
- ↑ Emisingi gya Namba
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Katonda_(mythology)