Ephraim Adrale
Ephraim Adrale yali Omulabirizi wa Kanisa mu Uganda.[1]
Yasomera mu Makerere University era n’atuzibwa mu 1975. Yafuuka Omulabirizi w’e Madi mu bitundu bya West Nile mu 1988 n’aweereza okumala emyaka ebiri. Yali mutabani wa Matayo Ewada, eyali omuyizzi. Yagenda mumaaso n’afuuka omusomesa, n’akuzibwa okufuuka omukulu w’esomero lya Anyavu Primary School. Oluvannyuma yeeyongerayo mu by'okusoma n'afuuka omu kubakulembeze b’eddiini abadukanya Ekanisa, era bweyamaliriza n’atandika ogugoberera ebimu ku birina okukolebwa mu Kanisa era n’atuuzibwa ku bwa Reverend. Yayita mu mitendera egy'enjawulo okufuuka Omulabirizi w’e Madi mu kitundu kya West Nile era n’aweereza mu ofiisi ya Ssaabalabirizi e Namirembe ng’omuwandiisi w’Ababundabunda mu Ssaza ly’Ekanisa ya Uganda. Mu 1990 yafa oluvannyuma lw’okulwala akaseera akatono n’aleka namwandu Salome Munduru n’abaana baabwe munaana.
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Madi and West Nile Diocese @50: A time to thank God for His blessings - Daily Monitor". monitor.co.ug. Retrieved 2020-04-01.