Jump to content

Ephraim Biraaro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ephraim Biraaro Gashanga yazaalibwa 28 Ogusooka 1961) Munnayuganda, munnabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti akiikirira Konsitityuwensi ya Buhweju ey'eBuggwanjuba, Disitulikiti y'e Buhweju . [1] [2] [3] Mu Paalamenti ey’ekkuminemu, Biraro aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku mwenkanonkano. [4]

 

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Biraaro yazaalibwa nga 28 Ogusooka 1961. Yasomera ku Church School e Nyakashaka mu 1969 n’atuula ebigezo bye ebya Pulayimale ebyakamalirizo ku Nyakitoko primary School mu 1979. Yagenda mu Burere SS mu 1980 ne mu 1983 Nganwa High School gye yafunira satifikeeti ya siniya ey'okuna eya Uganda Certificate of Education Mu 1984, yeegatta ku Masaka Secondary School gyeyafunira satifikeeti ya Uganda Advanced Certificate of Education, naye essomero lino lyataataaganyizibwa olutalo olwa 1985. Oluvannyuma lw’eggye lya National Resistance Army okuwamba obuyinza, yamaliriza. Yeegatta ku ttendekero ly'obubazi bw'ebitabo erya Institute of Accountants and Commerce Kampala okutuuka mu 1987.Wakati wa 1988 ne 1991 yakola ng’omusomesa alina layisinsi. [1]

Mu 2004, yeegatta ku Uganda Martyrs University Nkozi n’afuna diguli mu by’obusuubuzi ne mu 2008, n’afuna diguli ey'okubiri mu kuddukanya bizinensi. [5]

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva mu 2002 okutuuka mu 2010, Biraaro yaweereza nga kansala wa Disitulikiti y’e Bushenyi e Burere. Wakati wa 2010 ne 2011, yaliko omumyuka wa ssentebe wa Disitulikiti y’e Buhweju. [1]

Mu 2011, yeegatta ku Paalamenti ng’akiikirira Buhweju, [6] [7] era mu 2016 yawangulwa Francis Mwijukye .

Mu 2015, yaleeta ekiteeso ky’okukutula Buhweju ey'eBuggwanjuba okuva ku Ssazza ly'e Buhweju. [8]

Mu 2020, yalangirira nti agenda kuvuganya ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Buhweju ey'e Buggwanjuba nga tekinnaba nakutondebwawo, kye yawangula oluvannyuma mu kulonda kwa bonna okwa 2021. [9]

Ono y’omu ku baali baagala Buhweju afuuke Disitulikiti mu kiseera we yali kansala mu lukiiko lwa Disitulikiti. [10]

Yaliko maneja w’amakolero g'amajaani e Igara, Kayonza ne Mabare nga tannaba kwegatta ku byobufuzi. [10]

Ono y’omu ku balimi abaamanyi mu Disitulikiti y’e Buhweju nga mulimi w'amatooke, emmwanyi n'amajaani. [5]

Yali omu ku babaka ba Paalamenti abaalaga obutali bumativu n’engeri Umeme gye yali eyisaamu Bannayuganda. [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 https://www.newvision.co.ug/articledetails/107132
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/biraaro-ephraim-ganshanga-6964/
  3. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/biraaro-ephraim-ganshanga-6964/
  4. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-equal-opportunities/
  5. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-12-30. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/10563c77-0030-4220-945e-0c0fd157b63d/
  7. https://allafrica.com/stories/201101100100.html
  8. http://ugandaradionetwork.com/story/mps-split-over-more-requests-for-county-creation
  9. https://mknewslink.com/three-declare-interest-to-contest-for-buhweju-west-mp-seat-before-parliament-passes-it/
  10. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-01. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.parliament.go.ug/news/5456/parliament-investigate-umeme-over-unlawful-acts