Jump to content

Ephraim Kamuntu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ephraim Kamuntu munnayuganda omukugu mu byenzirukanya y'emirimu era munnabyabufuzi. Ono yaliko Minisita w’ebyamateeka n'essiga eddamuzi mu kabineti ya Uganda ekifo kyeyalodebwamu nga 14 Ogwekkuminebiri 2019. [1] Kamuntu era yaliko Minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi okuva mu Gwomunaana 2012 okutuusa mu Gwomukaaga 2016. [2] Kamuntu munnabyanjigiriza era mmemba ku lukiiko olufuga Bishop Stuart University.[3]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Ephraim Kamuntu yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Sheema nga 26 Ogwomwenda 1945. Yasomera ku ssomero Ntare school ku mutendera ogwa siniya (1962-1965) wamu ne haaya (1966-1967). Bwamaliriza haaya yegatta ku yunivasite e Makerere era n’atikkirwa diguli mu byenfuna, ebyobufuzi wamu n'ebyafaayo mu mwaka 1971. Mu 1973, yafunaa diguli ey'okubiri mu bya tekinologiya eya Master of science in systems analysis okuva mu University of Rochester mu New York . Alina diguli eyookubiri mu by'enzirukanya ya bizinensi eya Master of Arts in management science and business administration okuva mu University of Massachusetts . [4]

Oluvanyuma lwa Idi Amin okuwamba gavumenti mu Uganda mu 1971, Kamuntu yeegatta ku kibinja kya bannayuganda abaali bawakanya obukulembeze bwa Amin nga basinziira mu buwanganguse ekya Save Uganda Movement. [5]Kamuntu yasomesako ku Nairobi University mu mwaka 1978.[6] Kamuntu yasomesaako ku ssomero ly'ebyenfuna ku yunivasite e Makerere eryayitibwanga Faculty of Commerce oluvannyuma eryakyuusibwa okufuuka Makerere University Business School e Nakawa. [7]​​​ Okuva mu 1992 okutuuka mu 1995, Kamuntu yaliko ssentebe kwossa okuba akulira enzirukanya y'emirimu mu mu bbanka y'ebyobusuubuzi eya Nile Bank Limited. Wakati wa 1995 ne 1997, yali muwi wamagezi ku nsonga z'ebyensimbi. Okuva mu 1997 okutuuka mu 2001, yayali omukwanaganya w’enteekateeka ya gavumenti ya Uganda okukulaakulana ebitongole by’obwannannyini namakampuni mu Uganda . Yayingira eby'obufuzi eby'okuvuganya mu 2001 era neyeesimbawo okuba omukiise wa palamenti ow'Obukiika ddyo bwa Sheema ebiro ebyo eyali ekyatwalibwa mu Disitulikiti y’e Bushenyi era nawangula akalulu mu mwaka ogwo kwossa naako akaaliiwo mu 2006. [4]

Nga 1 Ogwomukaaga 2006, yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’amakolero. [8] Nga 16 Ogwokubiri 2009, yalondebwa nga Minisita ow'ebyensimbi avunaanyizibwa kukuteekerateekera eby'enfuna. [9] Mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu kabineti nga 27 Ogwokutaano 2011, yakuzibwa okuba minisita omujjuvu era n'aweebwa Minisitule evunaanyizibwa ku by'obulambuzi [10] n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa lwe yalondebwa nga Minisita w'amazzi n'obutonde nga 15 Ogwomunaana 2012.

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ephraim Kamuntu yawasa Ida Kamuntu eyafa mu May 2015. [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 6 June 2016.
  2. Vision Reporter (15 August 2012). "President Yoweri Museveni Reshuffles Cabinet". Retrieved 15 June 2016.
  3. https://www.bsu.ac.ug/pl-categs/5th-university-council/
  4. 1 2 POU (2012). "Profile of Professor Ephraim Kamuntu, Ex-Officio Member of Parliament". Parliament of Uganda (POU). Retrieved 3 March 2015.
  5. Michael Mubangizi (13 December 2007). "We wanted to hit OAU delegates". Archived from the original on 6 December 2024. Retrieved 4 January 2021.
  6. Mulera, Muniini K. (8 April 2013). "Bitterness of betrayal: 34 years after Maj. Kimumwe's death". New Vision. Archived from the original on 1 May 2019. Retrieved 1 May 2019.
  7. Mulera, Muniini K. (8 April 2013). "Bitterness of betrayal: 34 years after Maj. Kimumwe's death". New Vision. Archived from the original on 1 May 2019. Retrieved 1 May 2019.
  8. Mukasa, Henry (2 June 2006). "Cabinet Ministries Allocated". Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 3 March 2015.
  9. "Full Cabinet List As At 18 February 2009". 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 3 March 2015.
  10. Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 3 March 2015.
  11. Amanyisa, Zadock (10 May 2015). "Kamuntu's wife death renews cries over poor healthcare". Archived from the original on 9 August 2016. Retrieved 15 June 2016.