Erasmus Desiderius Wandera
Erasmus Desiderius Wandera 16 Ogwokuna 1930 – 8 Ogwekkuminebiri 2022. yali musumba w'Eklezia y'abakatoliki mu Uganda era nga yaweereza ng'Omusumba w'e Soroti okuva nga 29 Ogwokusatu 1981 okutuuka nga 27 Ogwomukaaga 2007. [1]
Wandera yafa nga 8 Ogwekkuminebiri 2022 ku myaka 92. [2]
Obuto bwe n’obufaaza
[kyusa | kolera mu edit source]Wandera yazaalibwa nga 16 Ogwokuna 1930 mu kibuga Dabani, ekitundu ekyafuuka Disitulikiti y’e Busia mu Buvanjuba bwa Uganda . Nga 27 Ogwekkuminebiri 1956, yatuuzibwa ku bwafaaza. Yaweereza nga Faaza okutuusa nga 29 Ogwekkuminogumu 1980. [1]
Ng'Omusumba
[kyusa | kolera mu edit source]Wandera yalondebwa okuba Omusumba w’e Soroti nga 29 Ogwekkuminogumu 1980 era n’atukuzibwa ng’omusumba nga 29 Ogwokusatu 1981, Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga, Ssaabasumba wa Kampala, ng’ayambibwako Omusumba James Odongo, Omusumba w’e Tororo, ne Ssaabasumba Henri Lemaître †, Titular Ssaabasumba wa Tongres. [1] Wandera yaweereza ng'omusumba okutuusa mu 2007. [3] Nga 27 Ogwomukaaga 2007, Omusumba Erasmus Desiderius Wandera yawummula obuweereza. [1] Yafa nga 8 Ogwekkuminebiri 2022 ku bikujjuko bya Immaculate Conception. [4]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bwandera.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20221208233604/https://kalisho.info/bishop-erasmus-desiderius-wandera-of-soroti-catholic-diocese-has-passed-on/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1149015/soroti-bishop-warns-leaders
- ↑ https://web.archive.org/web/20221208233604/https://kalisho.info/bishop-erasmus-desiderius-wandera-of-soroti-catholic-diocese-has-passed-on/
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:S-rel Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End