Jump to content

Eriabu Lugujjo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eriabu Lugujjo yinginiya w'amasanyalaze, mu mu yunivasite era mukulembeze wabyanjigiriza . Mu kiseera y'amyuka ccansala wa yunivasite ya Ndejje, yunivasite ey’obwannannyini ey’Abakulisitaayo, eyaweebwa olukusa akakiiko k'eggwanga akatwala eby'enjigiriza ebya waggulu, mu 1992. [1] Yalondebwa ku kifo ekyo mu Mwezi gwomusanvu 2012. [2]

Alina ddiguli esooka mu bwayinginiya bw'amasannyalaze, gye yafuna mu 1969, okuva mu yunivasite ya Makerere, yunivasite ya Uganda esinga obunene era yunivasite ya gavumenti esinga obukadde. N'era alina ddiguli eyokubiri mu bwayinginiya bw'amasannyalaze, gye yafuna mu 1971, okuva mu bbanguliro lya Califonia Institute of Tecnology, e Pasadena . Ddiguli ye ey'obwa Ddokita mu bwayinginiya bw'amasanyalaze yafunibwa mu 1974, era nayo mu Caltech. [3]

Ebyafaayo by’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Amangu ddala ng’amaze okutikkirwa mu yunivasite y’e Makerere, yeegatta ku bbanguliro ly'obwayinginiya ng’musomesa omuyambi mu 1969. Yalinnya n’ayita mu madaala, oluvannyuma ng'afuuse omukulu w'ekitongole eky'obwayinginiya bw'amasannyalaze. Okuva 1981 okutuuka 1989, yeeyali akulira ebbanguliro lya tekinologiya e Makerere. Abadde akwatagana n’ekitongole ky'ekibiina ky'Ekibiina ky'Amawanga Amagatte eky'Ebyenjigiriza ,Ssaayansi n'Ebyobuwangwa (UNESCO) okuva mu 1983. Okumala ebbanga lya myaka munaana, yaweerezaako nga mmemba ku lukiiko olufuzi olwa UNESCO. Mu kiseera kino ye ssentebe w’akakiiko akagezesa abayizi , akatandikibwawo okulungamya ebyenjigiriza eby’ekikugu n’ebyemikono mu Uganda. [4]

  1. Yunivasite za Uganda
  2. Amabanguliro ga Uganda ag'ebyobusuubuzi
  3. Abakulembeze ba yunivasite za Uganda
  4. Amabanguliro ga Uganda ag'amateeka
  5. Eby'enjigiriza bya Ugamda

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Retrieved 13 September 2014.
  2. Kiwanuka, Frederick (1 July 2012). "Ndejje University Gets New Vice Chancellor". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 13 September 2014.
  3. Baryamureeba, Venansius (2 July 2012). "Communication By The Vice Chancellor At The 31st Monthly Media Briefing, Monday 2nd July 2012: Professor Eriabu Lugujjo Appointed Vice Chancellor of Ndejje University" (PDF). Office of the Vice Chancellor, Makerere University. Archived from the original (PDF) on 12 September 2013. Retrieved 13 September 2014.
  4. "The Current Composition of The Members of The ITC And Their Constituencies". Uganda Ministry of Education & Sports. Archived from the original on 13 September 2014. Retrieved 13 September 2014.
  1. "Uganda National Council for Higher Education: Private Universities". Uganda National Council for Higher Education. Retrieved 13 September 2014.
  2. Kiwanuka, Frederick (1 July 2012). "Ndejje University Gets New Vice Chancellor". Retrieved 13 September 2014.
  3. Baryamureeba, Venansius (2 July 2012). "Communication By The Vice Chancellor At The 31st Monthly Media Briefing, Monday 2nd July 2012: Professor Eriabu Lugujjo Appointed Vice Chancellor of Ndejje University" (PDF). Office of the Vice Chancellor, Makerere University. Archived from the original (PDF) on 12 September 2013. Retrieved 13 September 2014.
  4. "The Current Composition of The Members of The ITC And Their Constituencies". Uganda Ministry of Education & Sports. Archived from the original on 13 September 2014. Retrieved 13 September 2014.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]