Eric Adriko
Eric Tiyo Sekebuga Adriko Munnamakolero Omunnayuganda, yinginiya mu bwa makanika, musuubuzi, musomesa era munnabyabufuzi. Okutandika nga 12 Ogwomwenda mu 2016, yawerezako ng'eyali Akulira Muni University, emu ku yunivasite za gavumenti mu ggwanga. [1]
Obuvo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu kibuga Vurra, mu Disitulikiti y’e Arua, mu kitundu kya Uganda ekya West Nile , mu 1941. Yasomera Mvarra Primary School ne Jiako Primary School, nga tanawandiisibwa mu Arua Junior Secondary School mu 1955. Mu 1956, yatikirwa nga y'akulembedde ekibiina kye mu bigezo bya Junior Leaving Examination ebya Primary 8 eby’omwaka ogwo.
Yasomera mu King's College Budo. Oluvannyuma, okuva mu 1963 okutuuka mu 1966 yagenda mu Queen Mary University of London, n’atikirwa ne Diguli ya Sayaansi mu Bwa Yinginiya bw'Okukanika. Yafuna olukusa olw’enjawulo okugenda mu maaso n’okusoma mu diguli ey'okusatu nga wadde yali tasoose kusoma diguli ya kubiri. Mu 1970, yatikirwa ne Diguli Ey'okusatu mu Bwayinginiya Bw'okukanika okuva mu yunivasite y’emu eyo.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Eric Adriko yakomawo mu Uganda mu 1970 n’atandikawo ekitundu kutendekero nga Kiyigiriza Bwayinginiya, ku Makerere University nga y'Akulira abayizi n'e By'enjigiriza mu kitundu ky'etendekero ekyo. Mu 1972, yalekulira okuva e Makerere n'atandikawo kampuni eyiye ku ey'ebuzibwaako ng'eno yali emannyikiddwa nga, "Adriko and Associates Limited". [2] Mu 1978, yatandikawo "Westnile Distillers Limited", mu tawuni ya Arua, mu disitulikiti y'ewaabwe.[2] Mu 1979, yaddukira ku muliraano e Kenya, ng’olutalo olwagya Idi Amin mu buyinza lusemberera Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. [2]
Yabeera e Kenya okumala emyaka 10, n’agenda mu maaso n’emirimu gye egy’okwebuuzibwaako, ng’akolagana n’emikwano gye e Kenya. Mu 1989, yakomawo mu Uganda n’alondebwa ku kakiiko akaakola ssemateeka wa 1995. Mu mwaka gwe gumu, yeegatta ku by'obufuzi, ng’omukiise w’esaza ly’e Vurra mu lukiiko lwa National Resistance Council olwagaziyiziddwa. Oluvannyuma, yalondebwa okuba minisita w’Amakolero ne Tekinologiya mu Kabineeti ya Uganda . Yaweereza mu bifo bya baminisita eby’enjawulo, n’alinnya ku kifo ky’omumyuka wa Ssaabaminisita Owookubiri . Mu 1996, yalekulira okuva mu by'obufuzi.
Oluvannyuma lw’okuva mu by'obufuzi, yalondebwa okubeera ssentebe w’olukiiko olufuzi mu kitongole Ekisolooza Omusolo mu Uganda okuva mu 1997 okutuuka mu 2004. Oluvannyuma lw’ekyo, yalondebwa okubeera nga yeeyali Akulira Kyambogo University, okuva mu 2004 okutuuka mu 2014. gye yaweereza okumala ebisanja bibiri. Oluvannyuma lw’ekyo, yalondebwa okubeera nga yeeyali Akulira Muni University.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Franklin Ezaruku Draku (12 September 2016). "Dr Eric Adriko Installed As Muni University Chancellor". Retrieved 18 June 2017.
- 1 2 3 "Guilt of sharing region with Amin forced Adriko to exile". 30 June 2013. Retrieved 18 June 2017.