Jump to content

Eric Berry Edney

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eric Berry Edney (1913–2000) yali mukugu mu by’ensolo enzaalwa y’e Bungereza.

Edney yazaalibwa mu Bognor Regis, era yasengukira mu Rhodesia n’ab’omu famire ye ng’akyali mwana muto. Yasomera mu ssomero ly'ekisulo n'ettendekero e Bulawayo . Edney yafuna diguli ya ssaayansi okuva mu Rhodes University College mu 1933. Yaddayo e Bungereza okusoma era nafuna Dipuloma mu Imperial College ne Ph.D. mu Yunivasite y’e London mu 1936.

Edney yakolera mu National Museum of Southern Rhodesia okutuusa mu 1940, lwe yakkiriza ekifo ky’omusomesa wa biology mu Makerere College . Mu Ssematalo ow'okubiri, yaweereza mu ggye lya Uganda. Okuva mu 1946 okutuuka mu 1955, yaweereza mu kiseera kye kimu ng’omusomesa wa zoology n’omusomi mu biwuka mu Yunivasite y’e Birmingham, ate era ng’afuna D.Sc. okuva mu ttendekero lyerimu. Wakati wa 1955 ne 1965, Edney yasomesa mu University College of Rhodesia ne Nyasaland ng’omukulembeze eyatandikawo ekitongole ky’eby’ebisolo. Oluvannyuma yagenda mu Amerika, n’asomesa mu yunivasite y’e California, Riverside okutuusa mu 1972, ne mu yunivasite y’e California, Los Angeles okutuusa mu 1979.

Mu kuwummula, Edney yagenda e Vancouver nafuna ekifo eky’ekitiibwa mu Yunivasite y’e British Columbia . Okuzuulibwa nti alina obulwadde bw’okukendeera kw’amaaso kyakomekkereza emirimu gye egy'okunonyereeza. Mu bbanga ly’emirimu gye, Edney yaweebwa ekirabo kya Guggenheim Fellowship mu 1968, era n’alondebwa okubeera fellow mu Royal Entomological Society, Institute of Biology, ne American Association for the Advancement of Science . Edney yafiira mu Vancouver nga 28 Ogwokutaano 2000, nga wa myaka 86.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]