Jump to content

Erica Sabiti

Bisangiddwa ku Wikipedia

Erica Sabiti yali Ssaabalabirizi wa Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire [1] okuva mu 1966 okutuuka mu 1974. [2]

Obulamu obuto

[kyusa | kolera mu edit source]

Omwaka Sabiti mweyazaalibwa tegukakasibwa naye ensonda zikkiriziganya nti yazaalibwa ng'omwaka gwa 1908 tegunnatuuka. [3] [4] Yazaalibwa mu Nkore nga kati emanyikiddwa nga Ankole mu maserengeta ga Uganda era yasomera ku ssomero lya Kings College Buddo ne Makerere College

Sabiti yasomesa mu ssomero lya pulayimale nga tannatuuzibwa kufuuka mudyankoni mu 1933 era Faaza mu 1934. Oluvannyuma lw’okuweereza ekkanisa mu Uganda okumala emyaka 26, yatukuzibwa ng'Omulabirizi wa Rwenzori era Dean mu 1960. [5]

Mu 1966, yafuuka Ssaabalabirizi wa Uganda eyasooka. [6]

Yafuuka Omulabirizi wa Kampala eyasooka mu 1972 era n’aweereza okumala emyaka ebiri okutuusa lwe yawummula mu 1974. [7]

Sabiti yafiira e Kinoni mu Uganda nga 15 Ogwokutaano 1988. [4]

Mu 1925, yawasa Georgina Kachandra eyafa mu mwaka gwegumu era n'addamu okuwasa mu 1930. [3]

Ye ne mukyala we Geraldine baazaala abaana musanvu. [4]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://primarysources.brillonline.com/browse/archives-of-the-church-of-uganda/archbishop-of-uganda/general-file
  2. https://dacb.org/stories/uganda/sabiti-erica/
  3. 1 2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1506362/anglican-archbishops-decades
  4. 1 2 3 https://www.episcopalarchives.org/cgi-bin/ENS/ENSpress_release.pl?pr_number=88114
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Crockford's_Clerical_Directory
  6. https://www.bristol.anglican.org/aboutus/bristoluganda/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2024-02-21. Retrieved 2025-09-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)