Erisa Ssekisambu
Template:UpdatedTemplate:Updated[1]Erisa Ssekisambu (yazaalibwa nga 28 omwezi Ogwomunaana mu mwaka gwa 1995) muzannyi wa mupiira era Munnayuganda, nga azannyira mu Super Studio Malappuram mu All India Sevens Football[2][3] ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda ng'omuzannyi wa makkati .
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ssekisambu azannye mu kiraabu ez’enjawulo mu Uganda nga SC Villa, Express, Uganda Revenue Authority SC, Vipers SC era gye buvuddeko yazannyirako ekiseera ekyo mu KCCA FC.[4]
SC Villa
[kyusa | kolera mu edit source]Ssekisambu yatandika omulimu gw'okusamba omupiira gwe mu mwaka gwa 2011. Yasooka kuzannya nga 23 omwezi Ogwomwenda mu mwaka nga 2011 nga bazannya Police FC[5] era yateeba ggoolo ye eyasooka nga 18 omwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2011 nga bazannya Gulu United, SC Villa yawangula ggoolo 4-0.[6] Ssekisambu yava mu SC Villa n’agenda mu Express ng’asuubira okufuna obudde bw’okuzannya bwe yali tafunye ku Villa Park okuva omutendesi Srdjan Zivojnov, bwe yali tamuwa budde bwa kuzannya.[7]
Express
[kyusa | kolera mu edit source]Ssekisambu yeegatta ku Express mu mwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2012. Yazannya omupiira gwe ogwasooka nga 22 omwezi Ogwokubiri mu mwaka gwa 2012 nga bazannya Water FC era omupiira ne guggwaa ggoolo 0-0.[8] Yateeba ggoolo ye esooka nga bazannya Masaka Local Council FC nga 29 omwezi Ogwokutaano mu mwaka gwa 2012 era Express n'ewangula ggoolo 1-0.[9]
Uganda Revenue Authority SC
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2012 Ssekisambu yeegatta ku Uganda Revenue Authority SC okuva mu Express[10]
SC Villa
[kyusa | kolera mu edit source]Ssekisambu yakomawo mu SC Villa mu mwaka gwa 2015. Yazannya nga bazannya ne Soana FC ng'omupiira gwe ogusoose ku kudda mu SC Villa. Yateebye ggoolo ye eyasoose mu sizoni eno nga bazannya Express era omupiira ne guggwa mu maaso ga SC Villa ggoolo 2-1.
Vipers SC
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwezi Ogwomusanvu mu mwaka gwa 2015, Ssekisambu yagenda mu Vipers SC mu mwaka gwa 2015.,[11][12] Yazannya omupiira gwe ogwasooka nga bazannya Bidco FC, Vipers SC yawangula 1-0. Yateebye ggoolo ye eyasoose mu Vipers SC nga battunka ne Saints FC. Ssekisambu sizoni eno yagimalirizza n’okuteeba ggoolo 16 ne bwe kiba nti abakugu abamu bawakanya nti yateeba 17 mu sizoni ya Uganda Premier League eya 2015–16[13] Sekisambu yateeba ggoolo ey’ebyafaayo mu Vipers SC bwe battunka ne Enyimba FC nga 12 omwezi Ogwokubiri mu mwaka gwa 2016 mu luzannya olusooka olwa CAF Champions League.[14]
Gor Mahia
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 1 omwezi Ogwekkuminoogumu mu mwaka gwa 2018, kyategeezebwa nti Ssekisambu yeegasse ku kiraabu ya Gor Mahia mu Kenya ku ndagaano ya myaka ebiri.[2] Nga 16 omwezi Ogwokubiri mu mwaka gwa 2019 yateeba hattrick ye eyasooka mu Gor Mahia nga battunka ne Mount Kenya United.[15]
Emipiira gyazanyidde tiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 20 omwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2015, yasooka kuzannya mu kiraabu ya bakuluulu mu Uganda nga bazannya Tanzania era n’ateeba ggoolo 2 mu mupiira gwe ogwasooka.[16] Yali omu ku mmunyeenye eyakaayakana mu mpaka za CHAN Finals eza 2016 mu Rwanda bwe yateeba ggoolo mu mupiira ogwagwa amaliri ne Mali ggoolo 2-2.[17]
Mu mpaka z'amawanga ga Afrika eza 2014, Erisa ye yasinga okuteeba Uganda.[18]
Ebibalo by’emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Template:UpdatedNga 22 omwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2012
| Kiraabu | Sizoni | Liigi | Ekikopo | AFC | Omugatte | ||||||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Apps | Ggoolo | Zeyayamba | Apps | Ggoolo | Zeyayamba | Apps | Ggoolo | Zeyayamba | Apps | Ggoolo | Zeyayamba | ||
| Omugatte gw’emirimu gye | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | |
Mu ggwanga lye
[kyusa | kolera mu edit source]Template:Updated[1]Omupiira ogwasambibwa nga 4 omwezi Ogwomukaaga mu mwaka gwa 2016[19]
| Uganda | ||
|---|---|---|
| Omwaka | Apps | Ggoolo |
| 2015 | 9 | 3 |
| 2016 | 7 | 1 |
| 2017 | 1 | 0 |
| Omugatte | 17 | 4 |
Engule
[kyusa | kolera mu edit source]Kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Express
- Liigi ya Uganda eya Premier : 2011–12
Uganda Revenue Authority SC
- Ekikopo kya Uganda : 2013–14 :
SC Villa
- Ekikopo kya Uganda : 2014
Vipers SC
- Ekikopo kya Uganda : 2015–16
- Liigi ya Uganda eya Premier : 2017–18
Uganda
[kyusa | kolera mu edit source]- Ekikopo kya CECAFA : 2015
Omuntu ssekinnomu
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Erisa Ssekisambu at Soccerway
- 1 2 "Erisa Sekisambu". National-Football-Teams.com. Retrieved 15 June 2018.
- 1 2 Isabirye, David (1 November 2018). "Striker Ssekisambu joins KPL big spenders Gor Mahia". Kawowo.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "DONE DEAL: Former Vipers SC Striker, Erisa Sekisambu Joins Kenya Premier League side, Gor Mahia". Galaxyfm.co.ug. 1 November 2018. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Erisa Sekisambu - All Matches - Mundial 11 - Stats - Results - Figures - News - H2H". Archived from the original on 15 June 2018. Retrieved 15 June 2018.
- ↑ "SC Villa vs. Police - 23 September 2011". Gh.soccerway.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ https://www.whoscored.com/matches/480362/show/uganda-super-league-2010-2011-sc-villa-gulu-united-fc
- ↑ Nsimbe, John Vianney. "How Express defied odds to win league". Observer.ug. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Water FC 0 v Express FC 0". Whoscored.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Masaka LC vs. Express - 29 May 2012". Gh.soccerway.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ Kiyonga, Ismael (2 July 2015). "Erisa Sekisambu joins Vipers on 3 year deal". Kawowo Sports. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "URA snap up Lutimba, Sekisambu from Express". Newvision.co.ug. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Erisa Sekisambu Completes Dream Move to Vipers | The Official Website of Vipers Sports Club | viperssc.com". viperssc.com (in American English). Archived from the original on 23 May 2018. Retrieved 23 May 2018.
- ↑ "Robert Ssentongo scoops league top scorer's boot with a brace on final day". Bigeye.ug. 28 May 2016. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "CAF Champions League: Erisa Sekisambu scores historical goal for Vipers". Fufa.co.ug. 12 February 2016. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Shame as Gor Mahia reward hat-trick hero Erisa Ssekisambu with club ball". Goal.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ Strack-Zimmermann, Benjamin. "Tanzania vs. Uganda (0:3)". National-football-teams.com. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Airtel - FUFA Awards 2016: All is set on the D-Day". Fufa.co.ug. 2 December 2016. Retrieved 10 December 2021.
- ↑ "Professionals to boost Uganda Kobs ahead of Olympic qualifier - Xinhua | English.news.cn". Archived from the original on 22 January 2017. Retrieved 2 November 2016.
- ↑ "Sekisambu makes Uganda Cup history". Archived from the original on 4 November 2016. Retrieved 2 November 2016.
- ↑ "Sekisambu makes Uganda Cup history". Archived from the original on 4 November 2016. Retrieved 2 November 2016.
- ↑ "Premier League launch 2015-16 Season Awards – Uganda Premier League". Upl.co.ug. 23 June 2016. Retrieved 10 December 2021.