Jump to content

Eriya Kategaya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Eriya Kategaya (yazaalibwa nga 4 Ogwomusanvu 1945 2 Ogwokusatu 2013) yali munnamateeka era munnabyabufuzi mu Uganda. Mu kiseera we yafiira yali mumyuka asooka owa Ssaabaminisita wa Uganda era Minisita w'ensonga z'omukago gwa East Africa. [1] Era yali mukiise mu Paalamenti ya Uganda ataayita mu kalulu, olw'okuba minisita wa Kabineeti.

Kategaya yazaalibwa nga 4 Ogwomusanvu 1943 e Karagwe Itojo mu Disitulikiti y’e Ntungamo, mu Bugwanjuba bwa Uganda. [2] Yali aludde ng'akolagana ne Pulezidenti Yoweri Museveni. Baasomera wamu ku ssomero lya Mbarara High School n’oluvannyuma ku lya Ntare School okuva mu 1961 okutuuka mu 1966. Kategaya ne Museveni era baasomera mu Yunivasite ya Dar es Salaam mu kiseera kye kimu.

Kategaya yalina diguli mu mateeka ( LLB ), okuva mu Yunivasite ya Dar-es-Salaam. Mu kiseera we yatikkirwa Yunivasite eno yali kitundu ku Yunivasite ya University of East Africa .

Obutendeke bwe mu by’amagye n’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kategaya yali mu kibiina kya Museveni ekya Front for National Salvation (FRONASA), ekibinja kya Bannayuganda abaali mu buwanganguse mu Tanzania oluvannyuma abaayambako okuvuunika gavumenti ya Idi Amin mu 1979 nga bayambibwako eggye lya Tanzania People's Defence Force. Mu 1980, ye yali omutandisi w’ekibiina kya Uganda Patriotic Movement, ekyakulemberwa Museveni okuvuganya mu kalulu. Museveni bwe yalangirira olutalo lw’akiyeekera ng’alwanyisa gavumenti ya Milton Obote II (1981 - 1985), Kategaya yaweereza mu kibinja ky'abalwanyi abaasinziiranga ebweru w'eggwanga ab'ekibinja kya National Resistance Army (NRA). NRA yakyuka n’efuuka ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement, n'evaamu n'eggye lya Uganda People’s Defence Force (UPDF). Yali ku ddaala lya Brigadier General mu ggye lya National Resistance Army okuva mu 1987 ng’ennamba ye yali RO-002 wadde nga taweerezangako mu kifo kyonna mu magye kuba ekiseera kyonna yali aweereza mu ofiisi za gavumenti endala nga minisita mu Kabineeti.

NRM ne NRA bwe baatuuka n’okutwala obuyinza mu January wa 1986, Kategaya y’omu ku bukulembeze bw’ebibinja eby’oku ntikko era ng’abasinga bamutwala nga nnamba bbiri oluvannyuma lwa Museveni. Wakati wa 1986 ne 2001, Kategaya yaweereza mu bifo eby’enjawulo nga National Political Commissar mu NRM ne Minisita mu gavumenti za Museveni.

Mu kisanja kyakubiri Museveni kye yamala nga yalondebwa Pulezidenti (2001 - 2006), Kategaya, mu kiseera ekyo eyali Minisita w’ensonga z’omunda, yamanyika nnyo okugwa mu mbeera ne Pulezidenti bwe yawakanya ebikolwa eby’okukyusa Ssemateeka okuggyawo ekkomo ku bisanja by’omukulembeze w’eggwanga. Mu May 2003, yagobwa ku bwaminisita bwe yali akyusakyusa mu kabineti, wamu ne baminisita abalala abaawakanya okuggya ekkomo ku bisanja. Kategaya yayongedde okwogera ng’awakanya okukyusa mu kawayiro k’ekkomo ku bisanja okutuusa okukkakkana nga Palamenti eyali ewagira ennyo Museveni n’eyisa ennongoosereza eno.

Okuva lwe yagobwa mu kabineti, Kategaya yakomawo okukola nga munnamateeka ow’obwannannyini mu kkampuni ya bannamateeka eya JBByamugisha Advocates esangibwa mu Kampala . [3]

Mu December wa 2004, yeetaba mu kutondawo ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) omukago ogulwanyisa Museveni ogwagenda mu maaso ne gufuuka ekibiina ekikulu eky’oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2006. Kyokka Kategaya yakuuma ekitiibwa kya wansi era nga tatera kwetaba mu nsonga za FDC.

Oluvanyuma lwa Museveni ne NRM okuwangula mu kulonda kwa bonna okwa 2006, olugambo lwatandika okusaasaana nti Kategaya yali mu nteeseganya z’okutabaganya ne Museveni. Olugambo luno lwalaga nti lulina omusingi omulungi Museveni bwe yasimbawo omukwano gwe omukadde okukkirizibwa Palamenti okubeera Minisita wa kabineti. Oluvannyuma yalondebwa ku bifo by’omumyuka wa Ssaabaminisita era Minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa . Kategaya abaddeko kinene nnyo mu kugenda mu maaso n’okukula kw’omukago gwa East Africa.

Mu nkyukakyuka mu kabineti eyakolebwa nga 27 May 2011, Eriya Kategaya yalabirira ebifo bye byonna mu kabineti. [4]

Eriya Kategaya yafa nga 2 March 2013 e Nairobi, gye yali amaze ebbanga nga ali mu ddwaaliro. [5] [6]

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://allafrica.com/stories/200909160065.html
  2. "Parliament of Uganda Website::". www.parliament.go.ug (in British English). Archived from the original on 2006-10-15. Retrieved 2017-11-21.
  3. "Parliament of Uganda Website::". www.parliament.go.ug (in British English). Retrieved 2017-11-21.
  4. "Ugandapicks.com". ugandapicks.com. Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2017-11-21.
  5. Okurut, Mary K. (2013-03-03). "Government mourns fallen minister". The Daily Monitor. Archived from the original on 2013-04-19. Retrieved 2013-03-03.
  6. Kizza, Joseph (2013-03-02). "Minister Eriya Kategaya dies aged 67". New Vision. Archived from the original on 2013-04-19.