Ernest Bazanye
Ernest Bazanye munnayuganda munnamawulire, muwandiisi wa kumutimbagano, awanikayo obutambi obulabwa obukwata ku ndowoozaze n'ez'abalala, ebirowoozo, ebintu ebipya n'ebirango (blogger) , muwandiisi wa bitabo era muwandiisi w'emizannyo egiragibwa ku ntimbe, obulango bwa ttivi ,zi vidiyo geemu n'obutambi obufulumira ku mutimbagano (Scriptwriter) mu Uganda. Asinga kumanyibwa olw’omuko gwe ogw’okusesa ogwa Ernest Bazanye ogwa Bad Idea, ogwafulumiranga mu lupapula lwa Sunday Vision okuva mu 2004 okutuuka mu 2018. Ye muwandiisi w’ebitabo by’abaana bisatu, era emboozi ze ennyimpi zirabikidde mu butabo bw'amawulire obufulumizibwa mu biseera ebigere (Mgazines) Eclectica, Kalahari Review, Soomanystories, era nezikubibwa mu bitabo bya Africa Book Club omukungaanziyibwa ebitontome n'ebiwandiiko ebirala(Anthology).
Bazanye awandiise ebisesa n’okusaaga okujereegerera okusobola okuggusa ensonga naddala ku nsonga z'ebyobufuzi mu lupapula lw'amawulire The Daily Monitor, Suluzulu.com, Saraba Magazine, era mu kiseera kino muwandiisi wa buli wiiki n'emikutu The Nile Post ne The New Times of Rwanda buli wiiki.
Yagatta ku pulogulaamu z'ebyobufuzi ez'okusaaga n'okujereegerera okusobola okuggusa ensonga eza What’s Up Africa ne Business Unusual ng’omuwandiisi era yawandiika nga kw’otadde n’okutegeka pulogulaamu y'ebyobufuzi erimu obwakazanyirizi Muwawa Club ku ttivi ya Urban.
Mu 2015 ekiwandiiko kye ku mutimbagano ki "Sirika ndowooza" (Shut Up I'm Thinking") , kyaweebwa engule y'ekiwandiiko oba obubaka bw'okumutimbagano obwasinga mu mwaka mu mpaka z'engule ez'okukozesa emikuti gi munyumiza wala.
Ebitabo bye
[kyusa | kolera mu edit source]- Bazanye, Ernest (2009). Chasing A Dream. Fountain Publishers.
- Bazanye, Ernest. I Will Miss Mr Kizito. Fountain Publishers.
- Bazanye, Ernest, Uncle Julius' Funeral, Fountain Publishers
Engero enjiiye ennyimpi /enfumo
[kyusa | kolera mu edit source]- " Okwewaggula kw'Ow'oluganda Armand ", mu (2014) (2014) nga bano. Ekibinja ky'essanyu n'emboozi endala okuva mu Afrika: Africa Book Club Anthology: Volume 1 (2014) . Ebitabo bya Aalvent. ISBN <bdi>978-1941221044</bdi> .
- "LHR okutuuka ku EBB", Okuddamu okwetegereza mu Lukalahari
- "Toyigako" Eclectica.org
- Halfaman, Eclectica.org [1] y’okusomesa abantu.
- Etteeka ly'Ensi, SoooEmboozi nnyingi.ug
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- "ERNEST BAZANYE" afrikanmbiu.com. Retrieved December 9, 2014
- Ernest Bazanye's Bad Idea
- "Chandler and Frasier: Kampala’s Most Wanted | Ernest Bazanye (a novel excerpt)" somanystories.ug. Retrieved December 9, 2014
- "Halfaman—Ernest Bazanye Sempebwa—Eclectica Magazine v17n3". www.eclectica.org. Retrieved 2019-04-07.
- ↑ "Halfaman—Ernest Bazanye Sempebwa—Eclectica Magazine v17n3". www.eclectica.org. Retrieved 2019-04-07.