Jump to content

Ernest Okello Ogwang

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ernest Okello Ogwang Munnayuganda, muyivu era muwandiisi wa bitabo. Yaliko omumyuka wa vice Chancellor (Academic Affairs) asooka ku yunivasite y’e Makerere . [1] [2] Era muyambi wa pulofeesa w’ebiwandiiko n’ennono mu Setendekero lye limu. [3] [4] [5]

Obuvo n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Ernest Okello Ogwang alina diguli ya PHD mu biwandiiko-ennono okuva mu Indiana University, Diguli eyokubiri mu biwandiiko ne BA (Hons.) okuva ku yunivasite y’e Makereregye yeegattako mu 1983. [3] [4]

Dr. Okello awandiise ebitabo ebiwerako ebyekenenyeddwa banne, empapula z’emirimu, jornals ezirongooseddwa, n’ebiwandiiko by’abayivu. [6] Ebitsaawe by’akuguse mu kunoonyereza n’okusomesa mulimu Ebiwandiiko by’Afirika, Eby'enono n’Ebiwandiiko, Litulica omwogere, Enfumo (Ebika n’Ebikozesebwa, Enkola, Ebyafaayo by’Obugezi, Okukola), Okunoonyereza mu nnimiro z’amawanga, n’Endowooza n’Okubyogerako awatateredde. [6]

Asomeseza amasomo ag’enjawulo ku yunivasite y’e Makerere mu biwandiiko by’Afirika, Ebiwandiiko bya Litulica omwogere, Ebiwandiiko n’Ebyafaayo by’ennono nga fieldwork course, Caribbean Literature, Ritual and Literature, Comparative Epic Poetry, Postcolonial Literature and Criticism. [6]

Dr. Okello Ogwang akoze okwebuzaako okw’enjawulo ne minisitule y’ebyenjigiriza (1993-94), Minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera z’abantu (2005), n’olukiiko oluvunaanyizibwa ku nkulaakulana y’okunoonyereza ku ssaayansi w’embeera z’abantu mu Afrika (CODESRIA). Alondeddwa okuweereza ku bitongole ebikola ku yunivasite y’e Makerere eby’enjawulo, Obukiiko, Ttiimu z’okukyalira ensiko, wamu ne ku lukiiko lwa Yunivasite olwa Senate n’olukiiko lwa Yunivasite. Dr. Okello yaweereza era akyaweereza mu matendekero ag’enjawulo ku mutendera gw’eggwanga n’ensi yonna. Ayambye abayizi eb’enjawulo abakola diguli eyokubiri ne Ph.D. abayizi okutuuka ku matikkira ne Postdoctoral Mentorship eri abasomesa abakulu abasoba mu bataano ku yunivasite y'e Makerere . Era ono yaliko omumyuka wa pulezidenti w'ekitongole kya History of the Ugandan Centre mu 2001. [7]

Byasobodde ofulumya (publications)

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Ekyas kyokubeerawo. ISBN 9970-02-022-6,978-9970-02-022-5
  • Etterekero ly’ebitabo ery’amatwale, Ebiwandiiko by’eggwanga, n’Obufuzi bw’amatwale.
  • Ebika by’Obuwangwa Ebimanyiddwa: Okunenya kw’Eby’Obugagga ku Kukiikirira Ekikula ky’Abantu mu Lang’o Orature.
  • Ebijjukizo ebimanyiddwa ennyo eby'ennono y'abajulizi ba Uganda.

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Namisango, Ritah (2018-01-12). "Makerere University DVCAA Dr. Ernest Okello Ogwang and team from CEES visits Lira Study Centre - CEES | Makerere Univsity" (in American English). Retrieved 2025-08-27.
  2. Serunkuma, Yusuf (2024-08-07). "I cry not for Prof Kakumba, but for Makerere University". The Observer (in American English). Retrieved 2025-08-27.
  3. 1 2 "Mak's 30 years of journalism in the eyes of former students". Monitor (in Lungereza). 2021-02-01. Retrieved 2024-01-27.
  4. 1 2 "Dr Ernest Okello Ogwang | Makerere University- Governance". governance.mak.ac.ug. Retrieved 2024-01-27.
  5. "Dr. William Tayebwa is new head of MAK journalism school". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-27.
  6. 1 2 3 "Ernest Okello Ogwang « INFECTIOUS DISEASES INSTITUTE". INFECTIOUS DISEASES INSTITUTE (in American English). Retrieved 2024-01-27.
  7. "History of the Ugandan Centre". Unlocking the History of PEN (in American English). Retrieved 2024-01-27.