Essoma-(-logy)words
Muwanga agamba nti okuva mu kikolwa ky'Oluganda "okusomesa" tufuna emiramwa emikulu nga: (i) Sessomo(Academic discipline, field of study) (ii)Essomo (sub-field of study, topic) (iii) Essoma-(prefix meaning "-logy" or "study of..." ) (iv)Essomeso(Lesson)
Akawango akasookeso(prefix) "essoma-"(equivalent to the English "-logy") kasobozesezza oluganda okuvvuunula amasomo ag'ekikugu gonna.
Akawango akasookeso "essoma-" era kategeeza kye kimu n'akawango akasookeso "eby-".Ebyokulabirako:
(i)Ebyobuvubi= Ebyenjigiriza eby'obuvubi oba ebikolebwa mu buvubi (ii)Eby'obulimi -Ebyenjigiriza eby'obulimi oba ebikolebwa mu bulimu (iii) Ebyebibira = Ebyenjigiriza eby'ebibira oba ebikolebwa mu bibira (iv) Ebyobuziba = Ebyenjigiriza eby'obuziba (Chemistry) (v)Ebyamalimiro=Ebyenjigiriza eby'amalundiro n'amalimiro(Agriculture) (v) Ebyembimo=Ebyenjigiriza eby'empimo (Geometry) (vi)Ebyobuzimbe=Eby'enjigiriza eby'obuzimbe mu sayansi w'obutonde(Physics)
Gino wansi miramwa gye tufuna nga tweyambisa akawango akasookeso "essoma" mu kifo kye Eby- :
(a) Essomampimo=Essomo ly'empimo (Geometry). Empimo=dimension (b) Essomankula=Essomo ly'enkula ez'ekibalo(Geometry).Enkula = mathematical shape (c)Essomabibuuka=Essomo ly'ebibuuka(Aeronautics) (d) Essomabuzimbe=Essomo ly'obuzimbe (Physics).Laba "ebyobuzimbe" (e)Essomabuziba = essomo ly'obusirikitu obuyitibwa obuziba(Chemistry).Laba "ebyobuziba"
Lindirira ebijja ku muko guno!