Essomabutaffaali(Cell Biology)

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by Terminologist Muwanga Charles to post this article from his Luganda Scientific works on Luganda Wikipedia for free public consumption.

Essomabutaffaali ( Biology of Cerls ).

Ekimumu ku bikola essomabiramu(Biology) kwe kuba nti ebiramu byonna bikolebwa butaffaali(cells). Ebiramu ebimu birimu akataffaali ka namunigina ate ebirala birina obutaffaali bungi obusengekeddwa okukola ebinywa ate ebinywa(tissues) ne bisengekebwa okukola ebitundu by’omubiri eby’enjawulo(organs).


Mu biramu bingi , ebitundu by’omubiri(organs) eby’enjawulo bikolera wamu nga ensegekera y’ebitundu by’omubiri (organ system). Kyokka ne ne mu biramu ebizibuwavu(complex life forms) obulungi , essomabiramu lyetoloolera ku bigenda mu maaso mu butaffaali. Omu ku bannasayansi abasooka okwekenneenya obutaffaali yali mungereza Robert Hooke.Mu myaka gya 1600 , Hooke yekenneenya akabubi nga akozesa enzimbulukusa(microscope) eyali ya kayiiyizibwa.

Mu myaka gya 1950, bannasayansi batondekawo omulamwa ogugamba nti ebiramu biyinza okwawulwamu ebiziizite (prokaryotes ) ne ebiziizina(eukaryotes). Ebiziizina kitegeeza bino biramu nga birina obutaffaali nga obuzimbe bwabwo bwesonjodde bulungi ate ebiziziite kitegeeza ebiramu bino obutaffaali bwabyo tebulina buzimbe bwesonjodde bulungi.

Obutaffaali bw'ebiziziina n'ebiziziite bulina ebikulu(features) bibiri  :

(i) olububi lwa Pulaazima(plasma membrane)

(ii) sayitopulaazima(cytoplasm).

Kyokka obutaffaali bw'ebiziziite tebulina nsengeka nga ya biziziina kubanga ebiziziite tebulina buziizi yadde ebitundu bya olugaanire(organelles) ebirala ate obutaffaali bw'ebiziziina bulina obuziizi n’ebitundu ebirala.

Mu Biziziite mulimu bbakitiriya ate mu biziziima mulimu polotozowa (protozoa), fungi, ebimera , n’ensolo.