Essomannimi

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Essomannimi (Linguistics))

Mu kitabo kye "Essomamakulu (Semantics), Muwanga Charles ayogera ku "Essomannimi"(Linguistics)nga essomo lya sayansi w'ennimi ezoogerwa abantu ab'obuwangwa obw'enjawulo.

Ekitundu ky'esssomannimi ekyekuusiza ku buzimbe bw'olulimi kirimu amasomi ag'enjawulo omuli :

  • Essomamaloboozi (Phonetics) - lino ly'essomo ly'amaloboozi bwe gavaayo mu kwogera.
  • Essomanjatula (Phonology) - lino ly'essomo ly'enjatula y'ebigambo okujjayo amakulu ag'enjawulo
  • Enzimba y'ebigambo (Morphology) - kino kikwata ku ngeri ebigambo gye bizimbibwamu
  • Enzimba y'ebirambululo (Syntax) - kino kikwata ku ngeri ebirambululo( sentences) kye bizimbibwamu)
  • Essomamakulu (Semantics) - lino ssomo lya makulu ga bigambo
  • Enkozesa y'olulimi (Pragmatics) -lino ssomo erikwata ku nkozesa y'olulimi