Esther Kyozira
Esther Kyozira Munnayuganda alwanirira eddembe ly’abalema. Y'akulira ekibiina ekigatta abaliko obulemu mu ggwanga ekya National Union of Disabled Persons in Uganda, ekibiina ekigatta n'okulwanirira eddembe ly'abantu abaliko obulemu mu Uganda.[1][2][3] Kyozira akola okutumbula okukiikirira abantu abaliko obulemu mu byamateeka okulaba nga bakuumibwa enkola z’amateeka n’ebitongole, omuli eddembe lyabwe ery’okusoma, okukola, n’okwetaba mu nsengeka z’obufuzi mu Uganda.[1][4][5][6]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kyozira yasooka kukola ng'omukugu w'enteekateeka z'eggwanga mu kibiina ki Disability Rights Fund.[7][8] Yali memba wa kakiiko ka Higher Education Students' Financing Board (HESFB) ne National Association of Women Organizations in Uganda (NAWOU) (2014-2021), yaweereza nga ssentebe wa National Council for Persons with Disabilities (2008-2012),[9] era ye yali omukwanaganya wa Hi-Tech Project for the National Association of the Blind.[10]
Mu 2021, Kyozira yalondebwa okuba akulira ekibiina ekigatta abalema mu Uganda ekya National Union of Disabled Persons in Uganda (NUDIPU).[10] Emabegako yali akola nga dayirekita wa pulogulaamu zaabwe.[10]
Kyozira era akola ku bukiiko obufuga ekitongole kya Uganda ekya National Curriculum Development Centre ne Judicial Council.[7]
Okulwanirira eddembe
[kyusa | kolera mu edit source]Kyozira yalwanirira nnyo okuyisa etteeka ly’abantu abaliko obulemu erya 2020 n’etteeka erifuga obulamu bw’obwongo li Mental Health Act 2019.[9]
Kyozira asindiikirizza ebitongole bya gavumenti nga minisitule y’emirimu n’ebyentambula okulaba ng'abantu abaliko obulemu bakozesa enguudo mu ngeri ey’obukuumi n’okukendeeza ku bubenje.[11] Awagira enkola za gavumenti ez’okulaba nti abantu bonna b'ennyigiramu n’okuwagirwa. Okugeza Minisita omubeezi ow’ensonga z’abalema, mu kuwabulwa yayisa ekiteeso eri minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu omuli n’enteekateeka y’okutumbula abantu abaliko obulemu mu nteekateeka ya Parish Development Model okutumbula enkola y’okuyingiza ensimbi mu bitongole eby’abantu abaliko obulemu mu Uganda.[12]
Obulamu bw’omuntu ku bubwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kyozira aliko obulemu ku maaso era talaba bulungi.[9]
Engule n’okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Hellen Asamo
- Sarah Bireete
- Regina Bafaki
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Namugerwa, Catherine (2025-06-05). "Uganda: Nudipu Raises Alarm Over Able-Bodied Persons Standing for PWD Seats". Nile Post. Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "Visually-impaired candidates fail exams". Monitor (in Lungereza). 2025-03-15. Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "About". National Union of Disabled Persons in Uganda (in American English). Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "Concern as learners with disabilities perform poorly again". Monitor (in Lungereza). 2024-02-18. Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "UACE: Rushed implemantation of new curriculum blamed for low special interest learners' performance". Monitor (in Lungereza). 2026-03-13. Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "'We Are Able!' programme empowers PWDs in West Nile and Acholi". Monitor (in Lungereza). 2025-09-27. Retrieved 2026-05-06.
- 1 2 3 "Esther Kyozira". Diversability (in American English). 2025-07-14. Retrieved 2026-05-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - ↑ "Uganda's Diverse Disability Movement Offers Lessons for an Ableist Global Philanthropy". YES! Magazine (in American English). Retrieved 2026-05-06.
- 1 2 3 4 "CEO NUDIPU decorated with a Jubilee medal by His Excellency President Kaguta Museveni at 2024 Labour Day celebrations". National Union of Disabled Persons in Uganda (in American English). Retrieved 2026-05-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content. - 1 2 3 "Congratulations to Esther Kyozira". African Disability Forum. 2021-05-10. Retrieved 2026-05-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content. - ↑ Makula, Esther (2022-05-18). "The Plight of Persons with Disabilities Using Uganda's Roads". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-05-04.
- ↑ "PWDs to get extra Shs500,000 under PDM program". Monitor (in Lungereza). 2025-09-19. Retrieved 2026-05-04.