Esther Wamala
Esther Wamala Munnayuganda omukugu mu by’amawulire era akulira amawulire ku leediyo ya CBS. [1] Era munnamawulire wa ssaayansi omukulu era muwandiisi w’amawulire. Akuguse mu by’amawulire ebya ssaayansi w’ebyobulamu gy’afulumizza emiko mingi.[1] Ye kitundu ku bibiina ebiyamba abantu ebissa essira ku kukola ku mboozi z'eby'obulamu n'eddembe ly'obuntu ezikwata ku bawejjere abanyigirizibwa awamu n'abakoseddwa akawuka ka siriimu . [2][3]
Gyenvudde n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Wamala yafuna diguli esooka mu by’enkulaakulana okuva mu yunivasite y’e Makerere. Oluvannyuma yafuna diguli ey'okubiri mu by’amawulire n’obuyiiya okuva mu yunivasite ya Aga Khan. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (May 2025)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Wamala mukugu mu by’amawulire ebya ssaayansi ng’essira alitadde mu bya ssaayansi w’ebyobulamu.[4] Kati akolera ne kkampuni ya Central Broadcasting Service Limited ng’omukunggaanya w’amawulire omukulu ku CBS 89.2 FM Emmanduso. Bwe yali akyakola amawulire, emboozi za Wamala zaali zafulumizibwa ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo egy’ensi yonna n’emikutu gy’empuliziganya omuli OVC support.net, AllAfrica.com, ne Health News Nigeria .
Mu 2007, yali yeetabye mu Fredkorpset (FK) Professional Exchange, gye yali yeegattira mu kibiina ekigatta abakyala b’emikutu gy’amawulire ekya Ethiopian Media Women Association (EMWA) era nga yali pulodyusa wa wano mu firimu ya vidiyo eyatuumiddwa Joining Hands ekwata ku butabanguko eri abaana n’abakyala mu Ethiopia . Firimu eno yakoleddwa kkampuni ya Sound Development Media Communication ekola ku by’amawulire mu Canada .
Wamala mu 2019 yawangula mu kibinja ky'enteekateeka ya WAN-IFRA Coaching, Mentorship and Networking Program eri bannamawulire abakyala.
Wamala mmemba w’omukutu gwa Key Correspondents, ogussa essira ku bibinja ebisuuliddwa ku mabbali ebikoseddwa akawuka ka siriimu, okuloopa emboozi z’ebyobulamu n’eddembe ly’obuntu ezibakwatako. [5] Era ali mu bannamawulire abakyala abamanyiddwa mu kulonda kwa 2016. [6] Mu 2023, Wamala yafuna engule okuva mu kibiina kya UMWA (Uganda Media Women's Association) olw'omulimu gwe yakola mu kutendeka, okubuulirira n'okutendeka bannamawulire kkumi mu mikutu gy'amawulire wansi w'obwakabaka bwa buganda. [7]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Social_exclusion
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Social_exclusion
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Social_exclusion
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Social_exclusion
- ↑
{{cite news}}: Empty citation (help)"Sex Workers Demand Female Condoms". allAfrica.com. Archived from the original on 2016-05-09. Retrieved 2025-04-05. - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Canadians
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Canadians