Eugene Omalla
Eugene Omalla, yazaalibwa nga 5 Ogwekumi mu 2000, nga mudusi wa misinde gy'akafubutuko enzaalwa za Budaaki ng'alimu Omusaayi Gw'abannayuganda, eyakuguka mu misinde gya mita 400. Alina likodi mu Afrika ey'okuduka y'okudukira munda eya mita ezisoba 400. Okuva mu Gwokuna mu 2024, abadde akiikirira eggwanga lya Budaaki. Yawangula omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Olympics egy’omukyeya kya 2024 mu misinde gya mita 4 × 400 egyetabibwaamui abakazi n'abasajja egy'okuduka ng'okwasa muno akalinga akati.[1]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Alina muganda we omulongo, amannyikiddwa nga Jaime Omalla, nga naye avuganya mu mizannyo gy’emisinde. Balina taata wabwe OMunnayuganda ayitibwa Timothy Omalla ne maama Omudaaki Wilma Omalla. Baazaalibwa mu kibuga ekimannyikiddwa nga Zoetermeer era nebabeera mu Budaaki okutuusa bwe baawezza emyaka musanvu ne bagenda e Uganda. Bombi baasomera ku Kansas State University mu Amerika. Okuva mu 2024, bombi badukira wansi wa bendera ya Budaaki, wabula nga bombi baali bakikiriddeko Uganda emabegako.[2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Yaddukira wabweru era n'akola bulungi ng'omuntu n'obutikitiki 46.06 mu obwa mita 400 mu Gwokutaano gwa 2023.[3][4] Yaddukira obutikitiki 45.18 mu misinde egyali munda n'ateekawo likodi empya eya ssemazinga wa Afrika mu mita 400 egyali mu kisaawe kya Sports Performance Center e Lubbock.[5][6]
Yayitamu okugenda mu mpaka za NCAA Indoor Championships mu kibuga Boston, mu Massachusetts, okudduka mu mita 400 ne mita 4 × 400 ez'okwetoloola ng'okwasa muno akati, mu ttiimu eyalimu muganda we omulongo.[7] Yadduka obudde bwa butikitiki 46.37 mu mpaka ezaali eza sekinoomu.[8] Baamalira mu kifo kyakusatu ku fayinolo y'okuduka ng'okwasa muno akati nga bali ne Tavon Underwood ne Kyle Gayle nebawangula omudaali gw'ekikomo.[9]
Yaddukira eggwanga lya Budaaki omulundi ogwali gusooka mu mpaka z'ensi yonna ezaali ez'Okuduka Ng'okwasa Muno akati ezaaliwo mu 2024 mu kibuga Nassau e Bahamas. [10] Yavuganya mu mpaka za mita 4 × 400 ezaali zitabuddwala abakazi n'abasajja ez'okuduka ng'okwasa muno akati ezaali mu Olympics wa 2024 mu kibuga Paris n'awangula zaabu ne ttiimu ya Budaaki.[11]
Yalondebwa okugenda okwetaba mu mpaka za European Athletics Indoor Championships eza 2025 e Apeldoorn gye yawangulira omudaali gwa zaabu ne ttiimu ya Budaaki mu misinde gy’abasajja egya mita 4 × 400 egyali egy'okuduka ng'okwasa muno akati.[12][13] Nga 22 Ogwokuna 2025, yalondebwa ku ttiimu ya Budaaki eyali egenda okwetaba mu mpaka za 2025 eza World Athletics Relays mu Guangzhou, e China mu Gwokutaano mu 2025.[14]
Yavuganya mu mpaka za 2025 eza World Athlettics Relays ezaali zetabibwamu abasajja n'abakazi mu mita 4 × 100 nga za kuduka nga bwokwasa muno akati e China mu Gwokutano 2025. [15]
Yalondebwa okugenda ku ttiimu ya Budaaki mu mpaka za 2025 eza World Athletic Championships ezaali e Tokyo, mu Japan era n’adduka ku lunaku olwaggulawo mu misinde egyalimu abakazi n'abasajja egya mita 4 × 400 nga baduka okwetoloola ekisaawe nga bw'okwasa muno akati, era n’addamu mu z'akamalirizo nga ttiimu ya Budaaki ewangula omudaali gwa ffeeza emabega wa Amerika.[16][17] Yadukiea munsengeka y'abasajja eya mita 400 nga tayise ku luzannya oludirira olwakamalirizo.[18] Era yaddukira mu mpaka z'ensengeka z'abasajja eza mita 4 x 400 mu misinde egy'okwetoloola nga bw'okwasa muno akati, omwali lawundi ey'okusunsula n’ez’akamalirizo.[19]
By'asinze okukola obulungi ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Obubaka okuva mu kibiina ekivunaanyizibwa ku Mizannyo gy'Emisinde Munsi yonna nga biri ku bimukwatako ebitagasa, wabula nga byawandikibwa. [1]
| Omukolo | Obudde mu s | Olunaku olw'omweezi | Ekifo gyezaali | Ebiterekero | Ebiwandiiko |
|---|---|---|---|---|---|
| Mita 200 | 20.64 | 14 Ogwomusanvu 2024 | La Chaux-de-Fonds, Switzerland | (Wind: +0.7 m/s) | |
| Mita 300 | 32.68 | 28 Ogwokuna 2024 | Willemstad, Curaçao | ||
| Mita 400 | 45.04 | 3 Ogwomunaana 2025 | Hengelo, Netherlands | ||
| Omutendera omumpi ogwa mita 400 | 45.18 Template:AthAbbr | 23 Ogwokubiri 2024 | Lubbock, Texas, United States | AR | Omalla yali akiikirira Uganda/Africa mu kiseera ekyo. |
Ebyava mu mpaka
[kyusa | kolera mu edit source]Obubaka okuva mu kibiina ekivunaanyizibwa ku Mizannyo gy'Emisinde Munsi yonna nga biri ku bimukwatako ebitagasa, wabula nga byawandikibwa. [1]
| Omwaka | Empaka | Gyezaali | Ekifo kyeyakwata | Omukolo | Obudde bweyadukira | Ebiwandiiko |
|---|---|---|---|---|---|---|
| 2024 | World Athletics Relays | Nassau, Bahamas | 12th | 4 × 400 m relay | 3:03.02 | (45.69 split) |
| Summer Olympics | Paris, Bufalansa | 1st | 4 × 400 m mixed | 3:07.43 | Template:AthAbbr (45.26 split) | |
| 2025 | European Athletics Indoor Championships | Apeldoorn, Budaaki | 1st | 4 × 400 m relay | 3:04.95 | (46.46 split) |
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Eugene Omalla". World Athletics. Retrieved 13 April 2024. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "WAprofile" defined multiple times with different content - ↑ "Sprinters Eugene and Jaime Omalla will now compete for the Netherlands". Runners World. 11 April 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "Sprint twins Omalla will join the Dutch athletics team". Nos.nl. 11 April 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "Sprint twins Omalla will join the Dutch athletics team". nhnieuws.nl. 11 April 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "Omalla twins will join the Dutch sprint team". Atletiek.nl. 11 April 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "African indoor record holder for 400 meters strengthens Dutch athletics team". nu.nl. 11 April 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "Multiple Wildcats qualify for NCAA indoor championships". The Mercury. 1 March 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "NCAA Division I Indoor Championships". World Athletics. 7 March 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ "Men's 4x400 Metres Relay Short Track". World Athletics. 7 March 2024. Retrieved 13 April 2024.
- ↑ van Driel, Mark (6 May 2024). "Why sprint twins Omalla competes for the Netherlands: 'You have to choose what helps you most forward'". Retrieved 12 May 2024.
- ↑ "Mixed 4 x 400 Metres Relay - Paris Olympic Games 2024 Athletics". Watch Athletics. 3 August 2024. Retrieved 28 December 2024.
- ↑ "46 TeamNL atleten in actie tijdens EK Indoor Atletiek in Apeldoorn". Atletiek.nl. February 25, 2025. Retrieved 25 Feb 2025.
- ↑ Broadbent, Chris (Mar 9, 2025). "Five gold medals! Super Sunday as Dutch close Apeldoorn 2025 with glorious finale". European Athletics. Retrieved 9 March 2025.
- ↑ "Atletiekunie maakt selectie WK estafette bekend". Atletiek.nl. 22 April 2025. Retrieved 22 April 2025.
- ↑ "Mixed 4x100 Metres Relay - World Athletics Relays Championships 2025". Watch Athletics. 11 May 2025. Retrieved 13 May 2025.
- ↑ "World Athletics Championships, Tokyo 2025". World Athletics. 13 Sep 2025. Retrieved 13 September 2025.
- ↑ "53 TeamNL atleten naar WK atletiek in Tokio". Atletiek.nl. 1 September 2025. Retrieved 1 September 2025.
- ↑ "World Athletics Championships, Tokyo 2025". World Athletics. 13 Sep 2025. Retrieved 23 September 2025.
- ↑ "World Athletics Championships, Tokyo 2025". World Athletics. 13 Sep 2025. Retrieved 23 September 2025.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Eugene Omalla at World Athletics
- Eugene Omalla at Olympics.com
- Eugene Omalla at the Paris 2024 Summer Olympics
- Eugene Omalla at TeamNL (mu Budaali)
- Eugene Omalla at Atletiek.nl (in Dutch)