Jump to content

Evelyn Nakabira Lagu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Evelyn Nakabira Lagu eyali amanyiddwa ennyo nga Evelyn Love oba Evelyn Lagu, yali muyimbi Munnayuganda, muzannyi wa firimu, munnakatemba. Evelyn Lagu yafa nga 18 Ogwomwenda mu mwaka gwa 2023 nga aweza emyaka 41 egy'obukulu. Lagu yafa bulwadde bw'ekibumba.[1][2][3][4]

Ebyafaayo n'obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Evelyn Nakabira Lagu yazaalibwa nga 1 Ogw'omukaaga, 1982, mu Disitulikiti y’e Kalungu, Yuganda. [2] [3] [5] Oluvannyuma lw'okufiirwa bazadde be bombi ku myaka emito, yakuzibwa ssenga we ne bbawe George W Lubega. George W Lubega yalabirira Evelyn Lagu ng'amusasulira fiizi era Evelyn Lagu yasomera mu masomero agawerako, omuli Aga Khan Primary School, Mityana Secondary School, ne Pride Secondary School e Mityana kumutendera gwa O’ Level. Yamaliriza emisomo gye egya A' Level ku ssomero lya St. Peter's Busubizi mu mwaka gwa 1999. [1][3][4]

Evelyn Lagu yatandika ng’omuyimbi omuyambi eri abamu ku bayimbi abasinga okumanyika mu Uganda. Evelyn Lagu amanyiddwa nnyo olw’obusobozi bwe obw’amaanyi mu kuyimba, era yafuna okusiimibwa mu nsiike y’okuyimba mu Uganda naddala mu bika bya Afrobeat, Pop, ne Dancehall . Ng’oggyeeko obuwanguzi bwe mu kuyimba, Evelyn Lagu yeenyigira mu kuzannya katemba, era y’azannya firimu eziwerako awamu n'emizannyo gya ttivvi.[1][3][4]

Evelyn Nakabira Lagu yafa nga 18 Ogw'omwenda 2023 oluvannyuma lw’okulwala obulwadde bw’omutima n’ensigo okumala ebbanga.Muyimbi munne Eddy Kenzo ne munnamawulire Gabriel Buule be bamu ku baawa obubaka obw'okusaasira. [6] [5][4][1]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Evelyn_Nakabira_Lagu#cite_note-:0-1
  2. 1 2 Atuhairwe, Ivan (2023-09-18). "Evelyn Lagu's son was ready to donate his kidney to her". MBU (in American English). Retrieved 2024-11-30.
  3. 1 2 3 4 Asiteza, Remmy (2023-09-18). "Singer Evelyn Lagu is dead". Daily Express (in British English). Retrieved 2024-11-30.
  4. 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Evelyn_Nakabira_Lagu#cite_note-:3-4
  5. 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Evelyn_Nakabira_Lagu#cite_note-:4-5
  6. "Ugandan musician Evelyn Lagu dies". Monitor (in Lungereza). 2023-09-18. Retrieved 2024-11-30.