Ezra Suruma
Ezra Suruma (yazaalibwa 11 Ogwekkuminoogumu 1945) Munnayuganda omukugu mu by'enfuna, bbanka, era omukugu mu by'ensoma.
Yafuuka chancellor wa yunivasite y'e Makerere mu Ogwolubereberye 2016.[1] Yaliko omuwabuzi omukulu eri pulezidenti wa Uganda ku by'ensimbi n'enteekateeka y'ebyenfuna, ekifo kye yalimu okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 15 Ogwolubereberye 2016.[2]
Yawereza nga omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda okuva mu 1990 okutuuka mu 1993.[3]
Emabegako, yali agenyiwala mu Brookings Institution, mu, mu kitongole kya Africa Growth Initiative mu kitongole kino. Yatumibwa ku kifo ekyo mu Ogwokuna 2010.[3]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kabale mu 1945. Alina diguli mu science mu by’ensimbi okuva mu yunivasite ya Fordham mu kibuga New York, yagifuna mu 1969. Diguli ye eya Master of Arts mu by’enfuna yagifuna mu 1972, nayo mu yunivasite ya Fordham. Doctorate ya Philosophy mu by'enfuna yagifuna mu 1976 okuva mu yunivasite y'e Connecticut. Alina ne diguli eyookubiri mu computer science n’emu mu bya banka z’ensi yonna.[3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannayingira mirimu gya gavumenti n’egy’obwannannyini, Suruma yaliko pulofeesa w’ebyenfuna n’okuddukanya emirimu mu yunivasite y’e Makerere ne mu yunivasite ya Florida A&M .
Mu 1987, yeegatta ku Bank of Uganda, banka enkulu mu ggwanga, nga dayirekita w’okunoonyereza, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1990. Okuva mu 1990 okutuuka mu 1993, yaweereza ng’omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda. Mu 1993, yava mu kifo ekyo n’ayingira mu bbanka ya Uganda Commercial Bank nga ssentebe era maneja , n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1996.[3]
Mu 2005, yalondebwa okubeera minisita w’ebyensimbi, okuteekateeka n’okutumbula ebyenfuna. Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa nga 16 Ogwokubiri 2009, lwe yalondebwa okuba omuwabuzi wa pulezidenti omukulu ku by’ensimbi n’okuteekateeka ebyenfuna.[4] Magazini ya bbanka z'ensi yonna eya The Banker yalonda Suruma okufuna engule ya "Best Finance Minister of Africa Award" mu mwaka gwa 2008.[5]
Mu kiseera we yabeerera minisita w’ebyensimbi, yatumbula nnyo eby’amakolero ga bbanka mu Uganda era yali musaale mu kuteekateeka n’okutandikawo pulojekiti ya Uganda ey’ebyensimbi entonotono eyamba abalimi ab'omutendera ogwa wansi n’abasuubuzi okufuna looni ez’amagoba amatono.[6]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Suruma mufumbo era alina abaana bana, omukulu okuva mu bufumbo bwe obwasooka, n’omuzzukulu omu. Era akuza abaana ba mulekwa ab'abato be babiri. Yali nnannyini migabo mu Bbanka y’ebyobusuubuzi (Uganda) (NCBU), era nga ye dayirekita wa bbanka eno.[7]
NBCU yali bbanka ey’ebyobusuubuzi enzaaliranwa eyaggalwawo Bank of Uganda nga 27 Ogwomwenda 2012.[8] Mu 2011, Suruma ne bamusigansimbi abalala baatandikawo UGAFODE Microfinance Limited, ekitongole kya Tier III, ekitereka ssente entonotono, nga kilabirirwa Bank of Uganda.[9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Emmanuel Tumusiime-Mutebile
- Omuyimbi Michael Atingi-Ego
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Patience Ahimbisibwe (18 January 2016). "Dr Suruma Installed Makerere Chancellor". Retrieved 10 May 2020.
- ↑ Edward Ssekika and Sadab Kittata Kaaya (19 August 2014). "Ex Minister Suruma Slams Government Policies". Retrieved 10 May 2020.
- 1 2 3 4 New Vision (24 April 2010). "Suruma Joins US Think Tank Brookings". Retrieved 10 May 2020. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "3R" defined multiple times with different content. - ↑ Newvision Archive (18 February 2009). "Full Cabinet List As At 18 February 2009". Archived from the original (Archived from the original on 13 February 2015) on 13 February 2015. Retrieved 10 May 2020.
- ↑ Sylvia Juuko (10 February 2020). "Suruma Wins African Minister Award". Archived from the original (Archived from the original on 2 April 2015) on 2 April 2015. Retrieved 10 May 2020.
- ↑ Raymond Baguma and Brian Mayanja (24 February 2009). "Suruma Regrets Failing To Restructure Finance". Retrieved 10 May 2020.
- ↑ Barbara Among (15 March 2010). "Politicians Fight Over City Bank". Retrieved 10 May 2020.
- ↑ Robert Muhereza (27 September 2012). "BoU Takes Over Management of National Bank of Commerce". Retrieved 10 May 2020.
- ↑ New Vision (12 July 2011). "Suruma To Start Micro-Finance Bank". Retrieved 10 May 2020.