Faruk Malik
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Okusinziira ku bannamawulire Martha Honey ne David B. Ottaway, Malik yali "munnansi wa Zanzibari ow'ensibuko ya Pakistan". [1] Madanjeet Singh eyali akiikirira India mu Uganda yakiriziganya nakyo okumunyonyola nga munnansi wa Pakistan. Okwawukana kwekyo, omu ku bawabuzi ba Amin, Bob Astles, yagamba nti Malik yali munnansi wa Pakistani/Omungereza alimu omusaayi gwa ba Asia [2] ne mukwano gwe Omungereza. [3]
Malik yasituka mu bitiibwa bweyatandikka okuweereza mu kitongole kya State Research Bureau, ekitongole ekikessi ekya Uganda ne poliisi ey’ekyama eyakolanga mu kiseera ky'obufuzi bwa Pulezidenti Amin (1971–1979). [1] Okusinziira ku Singh, Malik yali "mukesi mukugu" owa Amin. [4] Astles yategeeza nti Malik yali ategeera bulungi nnyo Pulezidenti, era nti bombi baali bantu ba munda nnyo.[5] Mu kifo kino, yakola kinene mu Minisitule y'ebyamawulire mu Uganda, ng'alondoola abakessi abalala "abawerako". [1] Ogumu ku mirimu gye emikulu kwe kuketta abantu ba Uganda abaali bava ebweru w’eggwanga n’aba Asia ab’omu kitundu. [1] Era yekeneenya n’ategeka amawulire agawandiikibwa Bungereza ku bikwata ku Uganda.[6] Okusinziira ku Astles, Malik yalina okumanyisa Amin ku "nkulaakulana y'okuwamba" oluvannyuma lwa Pulezidenti okuwa obubuddamu eri ennyonyi ya Airbus A300 eyawambibwa mu 1976. [3]
Okwongera kwekyo, Malik yayamba gavumenti ya Uganda okugula tekinologiya w’amawanga amalala n’abakugu. Yakola endagaano ne Harris Corporation okuteekawo siteegi ya "satellite" mu Arua; ye kennyini yafunamu mu ddiiru eno. [1] Honey ne Ottaway baagamba nti Malik "ku bubwe" yayingiza abakugu mu Pakistan abawera 400 okuwagira gavumenti ya Amin, [1] wadde nga Singh yategeeza nti Minisita w'ebyensimbi Moses Ali yakola kinene nnyo mu kuleeta abakozi ba Pakistan mu Uganda. [7] Okutwaliza awamu, ebikumi n’ebikumi by’Abapakistani baali bayamba gavumenti ya Uganda mu mwaka gwa 1978, nga bawa obuyambi obw’ekikugu obw’amaanyi mu kifo ky’amagye n’abantu baabulijjo. [8] [9]
Olutalo lwa Uganda ne Tanzania bwe lwabalukawo mu 1978, Malik ne munna mateeka we Justice Mohamed Said baagezaako okunyweza gavumenti ya Amin.[10] Y'omu ku beesigwa abaali baasembayo mu gavumenti ya Uganda,[11] newankubadde bombi ye nga kwotadde ne Said badduka mu ggwanga nga Kampala tennagwa ne badda mu magye agaakulemberwa Tanzania mu mwezi Ogwomunaana mu 1979. Abapakistani bano bombi baasobola okusomoka ensalo ne bagenda e Kenya, newankubadde ng'emmotoka zaabwe eza Mercedes-Benz zaboyebwa abakuumi ba Amin olw'okudduka kwabwe.[12]
Ebiwandiiko
[kyusa | kolera mu edit source].mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 [Martha Honey Martha Honey].
{{cite news}}: Check|url=value (help); Missing or empty|title=(help) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 "The untold story of 1976 Entebbe raid". The Observer. 27 July 2016. Archived from the original on 6 July 2018. Retrieved 17 October 2020.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ "Africa: The President is helpless". Africa. 1979. p. 37.
- ↑ MacManus, James (8 March 1979). "Amin relies on foreign aid to keep power". The Guardian. p. 8.MacManus, James (8 March 1979). "Amin relies on foreign aid to keep power". The Guardian. p. 8.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
Emirimu egijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]