Fatim Badjie
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Gambia |
| Erinnya eriweereddwa | Fatim |
| Erinnya lya famire | Badjie |
| Yazaalibwa nga | 13 Gwakkuminogumu(Museenene) 1983 |
| Gy'azaalwa | Banjul |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | Minisita |
| Gyeyasomera | Tennessee State University |
Fatim Badjie (yazaalibwa nga 13,Ogwekkuminogumu 1983) musuubuzi Omugambia, omukugu mu by'empuliziganya, era omukwanaganya w'enkulaakulana y'ebizimbe abadde mu bifo eby'enjawulo mu bitongole by'obwannannyini mu ggwanga. [1]
Ebyafaayo n'obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Fatim Badjie yazaalibwa nga mu 1982 mu Banjul era muwala wa Dembo M. Badjie, eyaweereza ng'omubaka wa Gambia mu Sierra Leone, Buyindi ne China . Ono wa kika kya ba Jola . Yasoma Siniya ku Gambia Senior Secondary School. Oluvannyuma y'eyongera okusomera e Bubirigi . Emisomo egy'awaggulu yagisomera ku Yunivasite ya Tennessee State mu Amerika, gye yafunira diguli ya Bachelor of Arts (BA) mu by’empuliziganya. [1] Era oluvannyuma yakola diguli eyookubiri okuva mu Yunivasite y’e Manchester mu ICT olw’enkulaakulana. [2]
Obukugu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yali akolera mu kkampuni ya GSM eya Comium Gambia nga y'akulira eby'empuliziganya. Mu Gwokusatu, 2008 yalondebwa okuba Minisita w’ebyempuliziganya, amawulire ne Tekinologiya, ng'adda mu bigere bya Neneh Macdouall-Gaye . [1] Mu kiseera ekyo, ye yali omuntu asinga obuto okulondebwa mu kabineti ya Gambia. Yagobwa mu kifo kino mu Gwokubiri 2009. Oluvannyuma yalondebwa okuba Minisita w’ebyobulamu n’embeera z'abantu, ekifo kye yalimu okuva mu Gwokubiri 2011 okutuuka mu Gwekkuminogumu 2012. [3] Abadde mmemba w’ekibiina ky’abakyala ekya Sigma Gamma Rho okuva mu 2003.
Ace Communications Executive (ACE)
[kyusa | kolera mu edit source]Badjie ye mutandisi era akulira Ace Communications Executive (ACE) , kkampuni ekola ku by’empuliziganya, okutendeka, n’okwebuuza kunkolagana n'abantu gye yatandikawo mu Gwokusatu 2009. [4] Ng'annyumwa olugendo lwe olw'okukola bizinensi, Badjie yategeeza nti yayimirizaawo ACE ng'akozesa omusala gwe saako ne ssente zeyatereka mu 2009 [2] .
Oluvannyuma lw’okukulakulana kw’ekitongole kya Ace Communications Executive (ACE), Badjie yagaziya emirimu nga yeenyingira mu kukulaakulanya ebizimbe n'ettaka n’okusiga ensimbi oluvannyuma lw’okutandikawo enkolagana ye ne Swami India International [5] okukulaakulanya ekifo ekyasooka mu The Gambia ekisinga obunene eky’okukozesa ebintu ebitabuddwa, The Diplomat [6]
Khidra Developments - nga kikoleddwa ACE Communications Executive
[kyusa | kolera mu edit source]Badjie yagaziya emirimu gye mu kukulaakulanya ebizimbe n’okukwasaganya ssente ng’ayita mu kutandikawo kkampuni ya Khidra Developments, wansi wa kkampuni ya ACE. Khidra Developments yatondebwawo okuziba ebituli mu nteekateeka y'ettaka eyali eyitimuse mu Gambia nga ekwataganya abazimba pulojekiti ez’omutindo n’okuyunga bamusigansimbi ku mikisa egy’omuwendo, obuweereza, n’ebizimbe ebiriraanyewo. [7]
Ng'ayita mu Khidra Developments, Badjie akyagenda mu maaso n’okussa essira ku kunyweza enkola z’okuddukanya ebizimbe, enkolagana ne bamusigansimbi, n’okutuusa pulojekiti ez'olubeerera mu katale k’ebyaayumba n'ettaka akagenda kagaziwa mu ggwanga . [8]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 Arnold Hughes; David Perfect (11 September 2008). Historical Dictionary of The Gambia. Scarecrow Press. ISBN 978-0-8108-6260-9. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "HughesPerfect2008" defined multiple times with different content. - 1 2 Sawaneh, Ebrima (2016-07-08). "How Fatim Badjie Started Ace Communications Executive". Business In Gambia (in American English). Retrieved 2025-04-30. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - ↑ "Health Minister Fatim Badjie removed - The Point". thepoint.gm (in American English). Retrieved 2025-04-30.
- ↑ Saja. "Fatima Badjie's story: From youngest minister to successful entrepreneur". Archived from the original on 7 September 2017. Retrieved 19 September 2017.
- ↑ Swami India International. "Homepage".
{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link) - ↑ Khidra Developments. "The Diplomat".
{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link) - ↑ Khidra Developments. "Gambia 61st Independence Day Message".
{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link) - ↑ Fatim Badjie - Proprieter of Khidra Developments. "Meet The CEO".