Jump to content

Felix Onama

Bisangiddwa ku Wikipedia
Felix Onama
Munna Uganda munna byabufuzi, eyaweerezaako nga minisita mu gavumenti y'Obote okuva 1962-71.Wa ggwanga lya Madi.Yazaalibwa mu West Nile. Yasomera St.Marys College Kisubi ne ssettendekero Makerere.Yaweerezaako ng'omukulembeze wa UPC mu West Nile Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waFelix Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga1921 Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimucivil servant Kyusa Wikidata

Felix Kenyi Onama yazaalibwa mu1921 nafa mu 2001 era nga ono yali munnabyabufuzi mu Uganda, eyaweereza nga minisita mu gavumenti ya Milton Obote (1962–71).

A Madi, Onama yazaalibwa mu Disitulikiti y'e West Nile . Yasomera mu St Mary's College, Kisubi, ne Makerere University . [1]

Yaweerezaako ng'omukulembeze w'ekibiina kI Ugandan People's Congress (UPC) mu Disitulikiti ya West Nile eyali esuuliddwa, nga ono yalina endowooza z'ebyobufuzi eziyogerwako nga ezaali ez'enjawulo, bw'ogeraageranya n'ebitundu by'ekibiina eby'enjawulo. [2] Era yaweereza nga maneja ow'okuntiko mu kitongole kya West Nile Co-operative Union, ng’akola ku kulongoosa ppamba, okuva mu 1960 okutuuka mu 1962. [3]

Yaweereza nga Minisita w’emirimu n’abakozi mu1962 okutuuka mu 1963, n'awereeza nga Minisita w’ensonga z’omunda okuva mu 1963 okutuuka mu 1965 n’oluvannyuma Minisita w’ebyokwerinda okuva mu 1966, [1] [4] ekyamuwa obuvunaanyizibwa ku poliisi n’amagye. [5]

Onama yali alowooza nti alina enkolagana ey’oku lusegere n’amagye, n’olwekyo mu January 1964, bwe waaliwo okwegugunga ku bbaalakisi y’amagye e Jinja, ekibuga kya Uganda ekyokubiri era nga mwe muli amagye agaali gakula, Obote yamusindika e Jinja okuteesa n’abayeekera. [1] [5] Onama yakwatibwa ng’omuwambe, n’akubwa era n’essaati ye nebajiyuza. [5] Olw’akazito akaali kamutereddwako, yakkiriza bingi bye baali baagala, omwali okwongeza omusaala ogw’amaanyi eri amagye, n’okukuzibwa amangu abaserikale bangi. [6]

Mu 1965 okutuuka mu 1966, Onama yeenyigira mu kavuyo ka zaabu (Gold Scandal) Uganda gyeyinyigiramu. [1] Daudi Ochieng, okuva mu kibiina kya Kabaka Yekka, yalumiriza nti abamu ku bammemba mu gavumenti okuli Felix Onama, Ssaabaminisita Obote ne Idi Amin, baali baganyuddwa mu kutunda zaabu n’amasanga g’enjovu okuva e Congo olw’ebikwekweto by’amagye ga Uganda mu ggwanga eryo, nga byonna byavuganyizibwako Onama. [7]

Oluvanyuma lw’okunywezebwa kw’empisa z’ekibiina oluvanyuma lw'akavuyo ka zaabu, Onama yavaayo ng’omukulembeze w’ekiwayi kya ‘conservative faction’ ekya UPC, ng’ayagala nnyo gavumenti okuwa obuwagizi eri abasuubuzi abaliwo, okusinga gavumenti okweza eby'obusubuzi (State Capitalisim) enkola eyali ewagiddwa ennyo Obote. [8] [1] [1] Mu mwaka gwa 1968, Onama yalondebwa nga Ssabawandiisi w'ekibiina ki Uganda People's Congress kukisanja kya myaka musanvu, wadde nga ekisnja kino kyatataganyizibwa okuwanba kw'amagye mu 1971. Omwaka gwa 1970 wegwatukira, Onama yali omu ku bantu abaali basinga okubeera n'obwanyini ku ttakka nga era yali nanyini w'emmotoka zi kayoola, ezafuulibwa eza gavumenti mu ​kulangirira kw'e Nakivubo (Nakivubo Pronouncement) .

Amin eyali akwata obuyinza ng'ayita mu kuwamba gavumenti, teyeesiga Onama era yamisibira mu maka ge mu mwaka gwa 1972. [1] Oluvannyuma Onama yafuuka omu ku bakulembeze b’ekibiina ki Uganda National Rescue Front . [9]

Obulamu bwe ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Onama yawasa Semmy mwannyina wa Milton Obote. [10]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 Pirouet, Louise (1995). Historical Dictionary of Uganda. Scarecrow Press. p. 305. ISBN 978-0810829206.
  2. ↑ "Independence: The Early Years". Retrieved 17 August 2010. Taken from "Rita M. Byrnes, ed. Uganda: A Country Study. Washington: GPO for the Library of Congress, 1990."
  3. ↑ M. Crawford Young; Neal P. Sherman; Tim H. Rose (1981). Cooperatives & development: agricultural politics in Ghana and Uganda. United States: University of Wisconsin Press. p. 61. ISBN 978-0299087104.
  4. ↑ Sidney Taylor (1967). "Kenyi+Onama" The New Africans: a guide to the contemporary history of emergent Africa and its leaders. Reuters ltd.
  5. 1 2 3 Michael J. Macoun (1996). Wrong place, right time: policing the end of empire. p. 74. ISBN 978-1860640193.
  6. ↑ M. Louise Pirouet (2009). "Obote, (Apolo) Milton (1925–2005)". Oxford Dictionary of National Biography. Oxford University Press. Retrieved 17 August 2010.
  7. ↑ J. Kasangwawo. "The 1966 Crisis". Federo. Archived from the original on 21 August 2010. Retrieved 17 August 2010.
  8. ↑ Jørgensen, Jan Jelmert (1981). Uganda: a modern history. Taylor & Francis. p. 231. ISBN 978-0856646430.
  9. ↑ Alex Peter Schmid; Albert J. Jongman (2005). Political terrorism: a new guide to actors... p. 680. ISBN 978-1412815666.
  10. ↑ "Obote Sister Detained". New Vision. 11 June 2002. Retrieved 30 May 2017.