Festo Karwemera
Festo Karwemera era ayitibwa Omugurusi Festo Karwemera Mwene Karagare Kabure-Nkeecwere , yazaalibwa mu 1925, n'afa nga 27 Ogwomunaana mu 2020) yali munnayuganda munnabyafaayo, omulwanirizi w’eby'obuwangwa era omusomesa. Ng’omuwandiisi yali amanyiddwa okusinga okukola ebiwandiiko n'okuwandiika mu lulimi Orunyankore n'Orukiga. Era yasiimibwa okubeera nga yeeyatandikawo omukuumi n'okubeera nga y'alabirira n'okudukanya ekifo webatereka eby'edda ekyali kimannyikiddwa nga Bakiga Cultural Museum e Kabale.
Obuvo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Karwemera yazaalibwa nga mukulembezze wa ddiini, Karagare Kabure-Nkeecwere ku kyalo Karubanda, mu ggombolola lya Buhara, mu Disitulikiti y'e Kabale mu 1925. [1]
Yasomera ku Muyebe Sub Selected Grade School, Kinyasano Junior Primary School ne Kigyezi High School. [2] Oluvannyuma lw’okuva mu siniya mu 1944, Karwemera yeeyongerayo kutendekero ly'qbasomesa erimannyikiddwa nga Nyakasura Vernacular Teacher Training College ng’atuukiriza ebisaanyizo by’okubeera omusomesa w’olulimi oluzaaliranwa. [3] Era yafuna ebisaanyizo by'okubeera omusomesa w'ekibiina eky'okubiri okuva mutendekero ly'abasomesa erya Bishop Tucker Teachers College e Mukono.[3]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1955, Karwemera yakola ng’eyali akulira esomero lya Katare Primary School, n’akuzibwa okufuuka Omumyuuka w'Akulira Alondoola Amasomero G'ekanisa mu Disitulikiti y’e Kigezi mu 1959. [4] Wakati wa 1964 ne 1965, yakola ng'omukulu w’esomero lya Hornby High School e Kabale, Uganda.[5]
Mu 1966, Obulabirizi bw’e Kigezi bwamulonda okuweereza nga ssentebe w’ekitundu ky’e Kigezi mu pulojekiti ya Save The Children Fund. [6] Wakati wa 1970 ne 1972, yali akulira ekitongole ky’Eby'obusuubuzi mu ggwanga e Kabale.
Mu myaka gya 1980 yaweereza mu bifo eby’enjawulo mu gavumenti ez’ebitundu okugeza ng’akulira Akakiiko k’Obuweereza mu Disitulikiti y’e Kabale. Yeeyali akulira Akakiiko Akadukanya Tawuni y'e Kabale bwe yafuulibwa munisipaali mu kiseera kino.
Nga munabizineensi z'’obwannannyini, yali musuubuzi wa mere y’empeke. [4]
Omukululo
[kyusa | kolera mu edit source]Karwemera yatandikawo ekifo ekikumibwaamu eby'obuwangwa ekya Bakiga Cultural Museum e Kabale, oluusi kiyitibwa The Home of Edirisa Museum oba mu kitundu Akehongo Kabaana Ba Karwemera oba Ekifo ky’Abaana Gyebeekweeka e Karwemera.[7][4]
Mu Gwomukaaga 2017, yaweebwa diguli ey’ekitiibwa mu by’ebiwandiiko okuva mu Yunivasite y’e Kabale olw’okutumbula obuwangwa.[8]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Karwemera yali mufumbo ne Aidah Mary Ziryabura.[3]
Yafa nga 27 Ogwomunaana mu 2020 ng'ekyamuvirako okufa kwe kigambibwa nti kyali bitundu by'omubiri gwe ebiwerako kulemererwa kukola bulungi. [1]
Ebitabo ebifulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Karwemera yawandiika ebitabo ebiwerako mu lulimi Olurunyakore n'Orukiga nga...
- 1966 – Otebwa Ourimi Rwawe, (Tewerabira lulimi lwo) [4] [9]
- 1975 – Shutama nkuteekyerereze [10]
- 1980 – Ija twevugye [11]
- 1994 – Emicwe n’emigyenzo y’aBakiga (Empisa n’Emitendera Gya Bakiga) [9] [12]
- 1995 – Empandiika ya Runyankore-Rukiga: egufuhaziibwe [13]
- 2008 – Encuukye Tushome Tujerenge [14]
- 2012 – Katondoozi y’orunyankore-Rukiga: Thesaurus ya Runyankore-Rukiga (eyawandiikibwa wamu ne Yoweri Museveni et al.)
Ebyavunirwa
[kyusa | kolera mu edit source]Karwerwa asiimibwa olw’emirimu gye n’ebintu bye yakola mu:
- Semateeka wa Uganda mu 1995 okukyusibwa mu Rukiga n'Orunyakore;
- Baibuli y’Olungereza okugiteeka mu Rukiga n'Orunyankore; [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Kigezi's cultural scholar, Omugurusi Festo Karwemera dies". Monitor (in Lungereza). 31 August 2020. Retrieved 2023-11-23. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":4" defined multiple times with different content - ↑ ATWIINE, SABRINA (8 September 2020). "Omugurusi Festo Karwemera Kigezi's shining star fades". The Observer – Uganda (in British English). Retrieved 2023-11-23.
- 1 2 3 "Kigezi mourns legendary author Karwemera". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-11-23. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 "Festo Karwemera 93, Still Struggling to Save Runyankore – Rukiga Language". ChimpReports (in American English). 10 January 2018. Retrieved 2023-11-24. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ "Kabale leaders mourn author Festo Karwemera". The Independent Uganda (in American English). 30 August 2020. Retrieved 2023-11-24.
- 1 2 Nsheeka, Wilfred Arinda (2 September 2020). "Omugurusi Festo Karwemera: The life and times of Kigezi's cultural scholar". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2023-11-24. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content - ↑ Cross Cultural Foundation (2012). "The Home of Edirisa Museum" (PDF). Retrieved 24 November 2023.
- ↑ Mann, Collins (27 June 2017). "Kabale University awards honorary degrees". Kabale University News (in American English). Retrieved 2023-11-24.
- 1 2 Reporter, Spy (30 August 2020). "Pan-Africanists Mourn Death Of Cultural Scholar Festo Karwemera 95 – TheSpy" (in British English). Retrieved 2023-11-23.
- ↑ Karwemera, Festo K. (1975). Shutama nkuteekyerereze. East African Literature Bureau.
- ↑ Karwemera, Festo (1980). Ija twevugye. Kampala: Centenary Publishing House.
- ↑ African 671, University of Wisconsin-Madison Students in. "Rukiga Cultural Resources" (in Lungereza).
{{cite journal}}: Cite journal requires|journal=(help) - ↑ Karwemera, Festo (1995). Empandiika ya Runyankore-Rukiga : egufuhaziibwe. Kampala: Fountain Publishers. ISBN 9789970020102.
- ↑ Karwemer, Festo (2008). Encuukye Tushome Tujerengye. Kabale: Nakayiba Printers and Stataioners (u) ltd.