Ffene

Bisangiddwa ku Wikipedia

Dan Nsobya,Bukedde Newspaper,Dec 09,2013 Ffene kibala ekiri ku ttunzi ennaku zino. Abalimi n’abasuubuzi nkumu mu ggwanga kati mwe bayoola ensimbi kyokka obulimi bwa ffene tebuteereddwaako ssira n’emiti mingi gifunye akawuka akagikaza awatali kikolebwa! Omusuubuzi w’ebibala mu Kame Valley Market mu kibuga [Mukono], Musa Bisaso agamba nti enkota ya ffene esobola okuliisa abantu 10. Buli kiwayi kya 500/- bagisuubula wakati wa 2,000/- ne 3,000/- okusinziira ku bungi bwa ffene obubeera ku katale. Omukugu mu by’ebibala mu Makula Nussery e [Masanafu], Dan Kyaligamba agamba nti ffene omwaka abala sizoni bbiri (emirundi ebiri). Omuti ku lubala olusooka awo ku myaka wakati w’esatu n’ena gussaako enkota ntono. Ku myaka etaano n’omukaaga omuti gusobola okuteekako enkota ezisoba mu 30 mu sizoni emu ate ku myaka 10 guba gusoboa okuteekako enkota ennene ezisoba mu 80. Mu bufunze ku myaka esatu yiika bw’oba olinamu emiti 60 mu sizoni esooka buli nkota bw’ogitunda ku 2,000/= ofunamu 600,000/-. Ku myaka etaano buli sizoni oba ofuna sh 3,600,000/-. Ku myaka 10 mu yiika ey’emiti 60 osobola okufunamu 9,600,000/- mu sizoni emu.

Emigaso gya ffene Ng’oggyeeko okumulya, ffene akamulwamu omubisi, akazibwa n’aliibwa nga bbagiya, akolebwamu wayini, ate ennaku zino ebbula ly’emiti we lituuse asalibwamu embaawo n’enku. OKUSIMBA FFENE. Omukugu mu byobulimi, [Baagala Walusimbi] agamba nti ffene ky’ekibala ekisobola okudda ku bika by’ettaka ebitali bimu mu [Uganda]. Agamba nti wadde guli gutyo, ffene okubala obulungi kisinziira ku ndabirira, obugimu bw’ettaka n’embeera y’obudde. Abala bulungi ng’alimiddwa ku ttaka eggwanvu, omutalegama mazzi ate eritaliimu bbumba. Agamba nti ffene wa ntondo, tayagala kusimbulizibwa, kale bw’oba ogenda kumusimba ofuna ensigo n’ozisimba butereevu mu kifo w’oyagala. Ensigo nga tonnazisimba sooka ozinnyike mu ddagala nga Perenox oba Mancozeb 80 okuziyiza obulwadde bw’omu ttaka. Ensigo zaanikeko ng’omaze okuzinnyika olyoke osimbe. ima ebinnya ebigazi ate ebiwanvu ffuuti 2x2. Amabanga osobola okupima ffuuti 25x30 oba 20x30. Ku mpima y’amabanga eno mu yiika emu mugendamu ebikolo wakati wa 48 ne 80. Ate bw’oba ogenda kusimba ku lusalosalo amabanga pima ffuuti 15x30 okuva ku kikolo okutuuka ku kinnaakyo. Baagala agamba nti ffene bw’aba alabiriddwa bulungi, ettaka ggimu, talumbiddwa bulwadde, ate nga n’embeera y’obudde nnungi, okugeza ng’enkuba etonnya, atandika okubala wakati w’emyaka esatu n’etaano okusinziira ku kika. Ffene yeekolera obugimu, ebikoola bwe bigwa bivunda ne bikola obugimu ye ne yeeyongera okutinta ate taliiko mirimu mingi ng’okukoola wabula bw’oba n’essamba osaawamu busaayi.

Okuziyiza obulwadde Baagala agamba nti omuze gw’abalimi okutemaatema ku nduli, mbu abale mangu gusaana okukomezebwa kuba lino ly’ekkubo erisinze okusiiga ffene endwadde kale omuti tegusaana kunuubulwa mu ngeri yonna. Oluusi ng’atandise okubala, enkota ento zivunda ne zikunkumuka olw’obulwadde. Ekizibu kino bw’oba okirina, bw’olaba amulisa ng’ofuuyirako ne [Mancozeb 80W.P] oziyize enkota okuvunda. Ffene oluvannyuma lw’okumulisa, ayengerera wakati w’emyezi esatu n’ena. Abanoga ow’okutunda basobola okunoga akuze obulungi wadde ttannayengera.

Ebiwuka ebyonoona ffene Namuginga awummula ebitulituli ku nduli. Ayagala nnyo awatemeddwa, mu mpataanya z’amatabi oba awali enkovu yonna. Ebiwuka bino we biruma obulwadde we buyita era kino kivaako amatabi agakoseddwa okutandika okukala. Oluusi ffene yeeyasamu nga tannanyengera naddala ng’enkuba eddiridde ekyeya, ekikuta kya ffene ne kitakula mangu. Obulwadde obukaza emmwaanyi ne ffene bumukaza kale tokozesa bikuta bya mmwaanyi okugimusa ffene, omuti ogulwadde gukuule oguggyewo. Ekiso ekitemye ku muti omulwadde kisasaanya obulwadde.