Fillbert Obenchan
Filbert Obenchan (yazaalibwa mu mwezi Ogwokubiri nga 7,mu mwaka gwa 1996) muzannyi wa mupiira era Munnayuganda, ng'okusinga azannya nga omuzibizi. Amanyiddwa nnyo olw'ebiseera by'amaze mu Kampala Capital City Authority (KCCA) FC, gy'akoze kinene mu buwanguzi bwa ttiimu eno mu Premier Liigi ya Uganda.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Obenchan omulimu gwokusamba omupiira yagutandikira mu ttendekero ly’omupiira erya KCCA FC, gye yazannyira emyaka ebiri, okuva mu mwaka gwa 2015 okutuuka mu mwaka gwa 2017. Omutindo gwe yayolesezza mu ttendekero lino gwamufunira okulinnyisibwa mu ttiimu y’abakulu mu mwaka gwa 2017, ne yeegatta ku bazannyi abalala abato nga Allan Okello ne Peter Magambo.[2]
Emirimu gye n'obukugu
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okulinnyisibwa mu ttiimu y’abakulu, Obenchan yeewolebwa ku ttiimu ya UPDF FC mu sizoni ya 2017-2018. Wabula ebbanga lye yamala ku bbanja lyasalibwako, n’adda mu KCCA FC wakati mu sizoni.[3][4][5][6] yakola omulimu omunene mukuzibira ttiimu,nabayambako okukuma omutindo n'erinnya omuli ekikoopo kimu ekya Premier Liigi ya Uganda awamu ne [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Cup kikoopo lya Uganda] kimu,ekikoopo kyakiraabu kimu ekya CECAFA,ne bikoopo bya Super bibiri ne kimu ekya 8 Super.[7][8]
Obenchan yava k ttiimu ya KCCA FC mu mwezi Ogwokutaano mu mwaka gwa 2021 oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako. Kiraabu eno yasiima emirimu gye era n’esiima okwewaayo kwe ku ttiimu okumala emyaka. Wabula yaddamu okwegatta ku KCCA FC mu mwezi Ogwolubereberye mu mwaka gwa 2022 ku ndagaano ya myaka esatu n’ekitundu, ng’egenda okumukuumira mu kiraabu eno okutuusa mu mwaka gwa 2025, gye yaweebwa omujoozi nnamba 35.
Omusono gw’okuzannya
[kyusa | kolera mu edit source]Obenchan amanyiddwa olw’obukodyo obungi n'okuyiya mu kuzibira, okusobola okuzannya mu bifo ebiwerako ku mugongo. Obukugu bwe mu kuzibira n’okumanyiira obukodyo bimufudde omuzannyi eyeesigika mu KCCA FC mu banga ly'omulimu gwe lyonna.[6]
Ebituukiddwaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kye yamala ku KCCA FC, Obenchan bye yakola byali bikulu nnyo mu buwanguzi bwa kiraabu eno mu mpaka ez’enjawulo, omuli:[4]
- 1 Ekikopo kya Uganda Premier League
- 1 Ekikopo kya Uganda
- 1 Ekikopo kya kiraabu ya CECAFA
- 2 Ebikopo bya Super
- 1 Ekikopo kya Super 8
Omutindo gwe era gwali gwa maanyi nnyo mu lugendo lwa KCCA FC okugenda mu bibinja mu mpaka za CAF Champions League mu mwaka gwa 2018. [4]
Emipiira
[kyusa | kolera mu edit source]Emipiira egimu egyazannyibbwa;[9]
Embeera eriwo kati
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu mwaka gwa 2024, Filbert Obenchan akyagenda mu maaso n'okuzannyira KCCA FC, ng'avuganya mu Premier Liigi ya Uganda, gy'asigala nga muzannyi omukulu mu bazibizi ba kiraabu eno.[10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Fillbert OBENCHAN - KCCA FC Official Website" (in American English). 1996-02-06. Archived from the original on 2025-08-12. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "MTN Sports - MTN Sports Home of UG Sports". MTN Sports (in American English). Retrieved 2024-09-25.
- ↑ Isabirye, David (2021-07-07). "Obenchan departs KCCA after six seasons". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-09-25.
- 1 2 3 "New Signing | Fillbert Obenchan returns to KCCA FC - KCCA FC Official Website" (in American English). 2022-01-05. Archived from the original on 2025-06-04. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Filbert Obenchan returns to KCCA FC". Bukedde (in Lungereza). Archived from the original on 2024-09-25. Retrieved 2024-09-25.
- 1 2 Isabirye, David (2020-06-09). "KCCA embedded in negotiations with utility player Obenchan". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Transfers: KCCA confirm the return of Filbert Obenchan | The Touchline Sports" (in American English). 2022-01-05. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Filbert Obenchan returns to KCCA FC". New Vision (in Lungereza). 6 January 2022. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Filbert Obenchan returns to KCCA FC". New Vision (in Lungereza). 6 January 2022. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Filbert Obenchan returns to KCCA FC". Bukedde (in Lungereza). Retrieved 2024-09-25.