Flavian Zeija
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Yazaalibwa nga | 18 Gwakubiri (Mukutulansanja) 1969 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Omulimu | judge, lawyer |
| Ekifo ky'alimu | Chief Justice of Uganda |
Flavian Zeija munnayuganda eyazaalibwa nga 18 Ogw'okubiri 1969 Munnamateeka, mulamuzi, mu by'enjigiriza n'okuddukanya emirimu gy'ekitongole ekiramuzi era nga ye Ssaabalamuzi wa Uganda okuva mu Ogw'oluberyerye 2026.[1] Emabegako yaliko omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda okuva mu 2025 okutuuka mu 2026 [2] era nga Principle Judge wa Uganda okuva mu 2019 okutuuka mu 2025. Nga tannasitulwa ku bukulembeze bw’ekitongole ekiramuzi, yaliko omulamuzi mu kkooti enkulu eya Uganda.[3]
obuto bwe n'emissomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Zeija yazaalibwa nga 18 Ogw'okubiri 1969 mu Uganda. Yasomera mu ssomero lya St. Mary’s College Rushoroza okusoma siniya. Yatikkirwa mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n’obunene mu Uganda, n’afuna diguli ye esooka mu mateeka mu 1997. Yafuna diguli eyookubiri mu by’amateeka okuva mu Law Development Center okuva mu yunivasite y’e Makerere, diguli eyokubiri mu by'obusuubuzi (Masters of Business Administration) okuva mu Uganda Martyrs University, yatikkirwa diguli eyookubiri mu mateeka okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 2002 ne Doctor wa Philosophy mu mateeka, okuva mu yunivasite y’e Makerere Yunivasite y’e Dar es Salaam mu 2013.[3]
Obumanyirivu mu mulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannaba kwegatta ku kkooti eno, Zeija yakolera mu by’amateeka eby’obwannannyini, n’atandika ng’omuyambi mu by’amateeka mu 1998 mu kkampuni ya bannamateeka eya Kwesigabo, Bamwine, Walubiri & Company Advocates, esangibwa mu Kampala. Emabegako, yakolera mu Tropical Africa Bank nga maneja Omuddukanya ensonga z’amateeka n’okuddiza amabanja oba ssente ezibanjibwa (manager legal and recovery), wakati wa 2002 ne 2003. Yakola ne mu FINCA Uganda Limited nga looya w’amateeka. Mu kiseera we yalondebwa mu kkooti enkulu mu Uganda, yakola nga nannyini kampuni atwala era addukanya emirimu gyaayo (managing partner) mu kkampuni ya bannamateeka endala eya Zeija, Mukasa & Company Advocates, esangibwa mu Kampala.[3]
Yasomesa n’amateeka mu Yunivasite za Uganda eziwerako, omuli Uganda Christian University, Makerere University ne Makerere University Business School (MUBS) mu dipatimenti y’amateeka g’ebyobusuubuzi (department of Business Law).[3]
Omulimu gwe nga omulamuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2016, Zeija yalondebwa okuba omulamuzi mu kkooti enkulu eya Uganda. Oluvannyuma yaweereza ng’omulamuzi omutuuze mu kkooti enkulu e Mbarara. [3] Mu gw'ekkumi n'ebiri 2019, yalondebwa okuba omulamuzi omukulu owa Uganda, n'afuuka akulira kkooti enkulu era nga ye mulabirizi wa kkooti eziri wansi.[4]
Mu Gw'oluberyeberye 2026, Flavian Zeija yalondebwa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng'omulamuzi omukulu owa Uganda,oluvannyuma lw’okuwummula kwa Alfonse Owiny-Dollo.[5] Yalayira mu ofiisi nga 25 Ogw'oluberyerye 2026.[6]
Emisango egyasalibwawo egy’amaanyi
[kyusa | kolera mu edit source]Omulamuzi Omukulu, ayinza mu kusalawo kwe, okugenda mu maaso n’okuwulira emisango, mu buyinza bwe ng’omulamuzi wa Kkooti Enkulu eya Uganda. ogumu ku musango gweyasala mu Gw'omwenda wa 2020 gwali gwa Kalemera H. Kimera ne Kabaka Muwenda Mutebi II. Mu kugoba omusango guno, omulamuzi yagambye nti okusinziira ku mateeka ga Uganda agakwata ku busika agaliwo kati gagamba nti, omuzzukulu atawandiikiddwa mannya mu kiraamo tayinza kuvuganya ku busika bwa busika bwa jjajja. Abo abasobola okuvuganya be (a) abaana b’omugenzi abatuufu (b) abaana abatali mu mateeka ne (c) abaana bonna abakuzibwa omugenzi . Omulamuzi yalagira omuloopa okusasula ssente z’abawawaabirwa ez’amateeka.[7]
Famire ye
[kyusa | kolera mu edit source]Justice Flavian Zeija mufumbo alina abaana batano.[3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Museveni appoints Justice Flavian Zeija as Chief Justice". ChimpReports. 22 January 2026.
- ↑ Anthony Wesaka (7 December 2019). "Who is the new Deputy Chief Justice?". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 12 February 2025.
- 1 2 3 4 5 6 Anthony Wesaka (7 December 2019). "Who is new Principal Judge Flavian Zeija?". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 30 September 2020.
- ↑ "Flavian Zeija: Who is Uganda's newly appointed Chief Justice?". Daily Monitor. 22 January 2026.
- ↑ "Museveni appoints Justice Flavian Zeija as Chief Justice". ChimpReports. 22 January 2026.
- ↑ "Dr Flavian Zeija sworn in as Uganda's new Chief Justice". The Independent Uganda (in American English). 2026-01-25. Retrieved 2026-04-27.
- ↑ Anthony Wesaka (29 September 2020). "Prince loses land case to Kabaka". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 30 September 2020.