Jump to content

Florence Nkalubo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Florence Nkalubo
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaFlorence Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza, Luganda Kyusa
Omulimuteacher, munnabyabufuzi, sportsperson Kyusa
OmukozesaEkitongole kya Federation of Uganda Football Associations, Lubiri Kyusa

Florence Nkalubo amanyiddwa nga owek. Florence Bagunya Nkalubo munnayuganda, musomesa, munnabyabufuzi era omuwolereza w’ebyemizannyo . Amanyiddwa nnyo mu Yuganda olw’okufuba okulembera abakyala n'abavubuka mu by'emizannyo.

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Maama w’abaana basatu. [1] Arthur Bagunywa Nkalubo Kateregga yali taata wa Florence era yaliko minisita w'Obwakabaka bwa Buganda . [2] Taata ono yafira mu ddwaliro lya platinum ku myaka 91 okusinziira ku bafamire ye. [2]

Ebyafaayo by’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawereza mu Bwakabaka bwa Buganda emyaka 10 nga Minisita w’abavubuka n’emirimu. [3] [4] [5] Era ye nnantameggwa w’omupiira gw'abakazi ogw'ebigere mu Yuganda ekisikiriza abawala bangi okutwala emizannyo ng’omulimu. [3] [6] Yawereza ng'omumyuka w'omukulembeze wa Federation of Uganda Football Associations (FUFA) era yakiikirira abakyala okumala ekiseera ng’omu ku babaka ababiri bakyala.[3] [6] [1] [7] [8] Yegatta ku FUFA ng’omuwanika. [1] Ng’omubaka wa FUFA, yaleeta pulogulaamu nnyingi ezawagirwa FIFA ng’omupiira gw’amasomero nga Kampala District Girls’ Primary School football era amasomero 60 gegatandikawo omupiira gw'abawala ogw'ebigere negugaziwa oluvanyuma. [1] Yetaba mu muby'emizanyo ng’okubuuka waggulu, ttena y’oku mmeeza, ttena y’omuddo, ne hockery ng'akyali muwala muto. [1] Ng'ali mu Nkozi Teachers’ College, yabanguka mu discus, short put n’okudduka emisinde emiwanvu.[1] Yawangula ebikopo bingi. [1] Mu 1997 e Lubaga North, Nkalubo yavuganya nga kansala omukyala nga LC zaakajja n’awangula era ekiseera kye yamala mubuweereza yatandikawo empaka za Nkalubo End of Year Cup.[1] Era yaweereza ng'omukulembeze wa UWFA. [1] Yali ayagala okuvuganya ng'omubaka wa Palamenti e Lubaga North ng'ayita mu kibiina kya Democratic Party. [9] [10] Yali muwandiisi mu by'enjigiriza mu kibuga kya Lubaga North.[9] Yawerezako nga Kampala International University Council. [11]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 "Football is in her veins". Monitor (in Lungereza). 2021-01-07. Retrieved 2025-04-18.
  2. 1 2 "Ex-Buganda minister dies aged 91". New Vision. Retrieved 2025-04-18.
  3. 1 2 3 "Owek. Florence Bagunywa Nkalubo :: Kampala University". ku.ac.ug. Retrieved 2025-04-18.
  4. "Buganda Kingdom Official Decries Bad Conditions For Jailed Riot Suspects :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-04-18.
  5. Kasozi, Ephraim (1 November 2007). "Uganda: Teach Luganda in Schools - Mengo". AllAfrica. Retrieved 18 April 2025.{{cite news}}: CS1 maint: url-status (link)
  6. 1 2 "Florence Bagunywa Nkalubo deliberates". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-04-18.
  7. "Florence Bagunwa Nkalubo". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-04-18.
  8. Isabirye, David (2021-05-08). "Kabugo, Kiwanuka voted as Uganda Youth Football Delegates | FUFA Elections 2021". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-04-18.
  9. 1 2 "IN BRIEF". New Vision. Retrieved 2025-04-18.
  10. Kasozi, Ephraim (26 January 2006). "Uganda: Lubaga Candidate Pledges to Address Teachers' Pay".{{cite news}}: CS1 maint: url-status (link)
  11. "University Council :: Kampala University". www.ku.ac.ug. Archived from the original on 2024-10-05. Retrieved 2025-04-18.