Jump to content

Fort Portal College of Health Sciences

Bisangiddwa ku Wikipedia
Akabonero ka FPCOHES

Fort Portal College of Health Sciences (FPCOHES) ttendekero lya gavumenti mu Uganda, eryakkirizibwa okusomesa eby’obulamu ku ddaala lya dipuloma okuva mu mwaka gwa 2022. [1] [2] [3]

Ekifo w'esangibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ettendekero lino lisangibwa ku kibanja namba 9, oluguudo lwa Mugurusi, Buhinga mu kibuga ky'e Fort Portalmu Disitulikiti y'e Kabarole, mu bitundu by’oBuggwanjuba bwa Uganda, kiromita nga 296 (mayiro 183) mu Buggwanjuba bw'ekibuga ekikulu Kampala. Lisangibwa okumpi n’essomero lya Buhinga Primary School n'eddwaliro lya Fort Portal Hospital, era erimanyiddwa nga ekkulu eya Fort Portal Regional Referral Hospital.

Ebyafaayo ku Ttendekero lino

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw'okutandiikibwa mu 1965, FPCOHES yatandika obuweereza nga liyitibwa Fort Portal School of Medical Assistants, nga mu kusooka lyali lisangibwa mu Lubiri lw'Omukama e Fort Portal . Mu 1969, lyasengukira okumpi n’eddwaliro lya Fort Portal . Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebisomesebwa mu 1984, yakyusibwa erinnya n’etuumibwa Fort Portal School of Clinical Officers . Oluvannyuma lyakyusa erinnya nga kati ly'ettendekero lya ssaayansi w'ebyobulamu . [4]

Enteekateeka z’ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

FPCOHES egaba pulogulaamu ez’enjawulo eza satifikeeti ne dipuloma ezitegekeddwa okuwa abayizi obukugu mu bikolwa n'ebiwandiike mu ssaayansi w’ebyobulamu: [4]

Ekitongole kino kigatta okuyiga mu by’ensoma n’okutendekebwa mu bikolwa, nga kikozesa enkolagana n’abakola ku by’obulamu.

Enfuga n’obukulembeze

[kyusa | kolera mu edit source]

Ettendekero lino lifugibwa olukiiko olulimu abakiise okuva mu by’obulamu n’ebyenjigiriza, nga bwe kirambikiddwa mu tteeka erifuga yunivasite n’amatendekero amalala. Ttiimu y'abaddukanya ettendekero lino evunaanyizibwa ku kulaba ng’enkola zaayo ziteekebwa mu nkola saako n'okuddukanya emirimu gyayo mu bulungi. [5]

Abayizi abaaliwo

[kyusa | kolera mu edit source]

FPCOHES ekuuma enkolagana n’abayizi abaaliwo abakoze eby'amaanyi mu by’obulamu. Abamu ku bayizi abaaliwo kuliko:

  • Richard Byaruhanga Sserioza - Omusomesa [6]
  • Dr. Ponsiano Kabagyenga Nuwagaba - Omusomesa [7]
  • Dr. Iddi Matovu - Omukugu ey'ebuuzibwako ku by'obulamu mu bantu [8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.education.go.ug/wp-content/uploads/2022/11/HEALTH-TRAINING-INSTITUTIONS.docx-EDITED.pdf
  2. https://www.studenthub.ug/news/574/government-allied-health-training-institutions-in-uganda
  3. https://ayoma.co.ug/listing/fort-portal-college-of-health-sciences-fpcohes/
  4. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-02-28. Retrieved 2025-08-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.ugandalaws.com/statutes/principle-legislation/universities-and-other-tertiary-institutions-act-2001
  6. https://www.bsu.ac.ug/profile/byaruhanga-sserioza-richard/
  7. https://allafrica.com/stories/202307170601.html
  8. https://www.newvision.co.ug/category/people/matovu-to-use-his-phd-to-fight-hiv-and-tb-NV_198126
  9. https://unche.or.ug/institution/
  10. https://uaheb.go.ug/accredited-schools/