Jump to content

Fortunate Nantongo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nantongo Fortunate Rose.

Fortunate Nantongo yazaalibwa mu 1996 nga munamateeka, munabyabufuzi Omunayuganda era atuula ku kakiiko akakola amateeka. Y'akiikirira abantu ba Disitulikiti ya Kyotera nga Omubaka omukyala owa Paalamenti, mu Paalamenti ya Uganda. Yawangula eky'omubaka ng'ali ku tikiti Democratic Party (DP).[1][2][3][4] Ye Minisita Ow'ekisikirize avunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu, emirimu wamu n'enkulakulanya y'ebitundu ku ludda oluvuganya gavumenti.[5][6][7]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Nantongo yatandika okusoma pulayimale ku Bright grammar primary school erisinganibwa e Masaka, oluvannyuma n'agenda ku Mt. St Mary's college Namagunga gyeyatuulira S4, gyeyava okugenda ku St. Mary's Kitende gyeyamalira S6.[1][8]

Oluvannyuma yeeyongerayo okusoma Diguli mu By'amateeka okuva Uganda Christian University gyeyatikirwa mu 2018 kweyayongereza ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu ateeka okuva kutendekero lya law development center in 2019.[1]

Maama wa Nantongo Robinah Nakasirye Ssentongo, eyasooka okubeeta Omubaka Omukyala owa Disitulikiti ye Kyotera bweyafa nga tewali akisuubira mu masekati g'okukuba kakuyege mu Gwekumineebiri nga 18 2020, olwa COVID-19, Nantongo yalondebwa aba DP okumudira mu bigere.[1][9][10][11][12]

Nantongo, nga ye mwana ow'okubiri okuzaalibwa maama we ne taata we, yafiirwa maama we, kitaawe ne ssenga we mu kabanga ka naku 10.[12] Kino kyawaliriza abalonzi okumukwatibwa ekisa era nebamulonda okugenda mu Paalamenti.[1][13]

Mu kaseera maama we weyafiira, Nantongo yeeyali amuyambako ku by'obufuzi. Yeeyali adukanya n'eby'ensiimbi za maama we, nga yamukolera okunoonyereza ku by'emirimu gya Paalamenti n'okudukanya pulojekiti mu konsitituweensi ku lulwe. [<span title="This claim needs references to reliable sources. (April 2022)">citation needed</span>]

Yalondebwa nga eyali agenda okwesimbawo ku lwa DP enaku bbiri oluvannyuma lwa maama we okuzikibwa, olw'okuba kakuyege w'okunoonya akalulu ka bonna aka 2021 yali asigazaayo obutaweza na mwezi okugwaako.[1][2][10][13] Mu kulonda, yafuna obululu 49,019, nga eyali asinga okumuvuganya Rachel Nakitende eyali owa National Resistance Movement yafuna obululu 26,137.[3][14][15]

Nantongo yawerezaako ku kakiiko akadukanya eby'amateeka n'ensonga za Paalamenti[16] wamu n'akavunaanyizibwa ku by'ekikula ky'abantu.[17]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 https://observer.ug/news/headlines/69238-in-just-10-days-kyotera-s-rose-nantongo-buried-her-mother-father-and-aunt
  2. 1 2 https://www.independent.co.ug/dp-pleased-with-performance-in-parliamentary-elections/
  3. 1 2 https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nantongo-fortunate-rose-10472/
  4. https://chimpreports.com/dp-celebrates-getting-9-mps-in-last-weeks-polls/
  5. https://www.independent.co.ug/shadow-cabinet-niwagaba-nyeko-and-bwanika-picked/
  6. https://www.independent.co.ug/parliament-confirms-shadow-cabinet/
  7. https://www.galaxyfm.co.ug/2021/07/14/parliament-approves-shadow-cabinet/
  8. http://stmaryskitende.com/2021/01/18/big-wins-for-kitende-in-2021-elections/
  9. https://www.independent.co.ug/kyotera-nrm-cadres-support-dps-nantongo-for-district-woman-mp/
  10. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2020-12-20. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mp-ssentongo-laid-to-rest-as-dp-fronts-daughter-to-take-up-mantle-3234822
  14. https://www.independent.co.ug/kyotera-nrm-cadres-support-dps-nantongo-for-district-woman-mp/
  15. https://www.youtube.com/watch?v=1ELWRS13S4c
  16. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-legal-and-parliamentary-affairs/
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-09. Retrieved 2024-03-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)