Jump to content

Fox Odoi-Oywelowo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Fox Odoi-Oywelowo Munnayuganda omuwolereza era mubaka mu Paalamenti. Odoi-Oywelowo yaliko omuwabuzi omukulu mu by'amateeka eri pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni .

Nga 14 Ogusooka 2021, Fox Odoi-Oywelowo yalondebwa nga mmemba wa Paalamenti ya Uganda ey'ekkumin'emu ng'akiikirira ekitundu ky'eBuggwanjuba bwa Budama mu Bukiikakkonobwobuvanjuba. Mu Gwomukaaga, yakwata obukulembeze bw’akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu Paalamenti ya Uganda. Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu, awera okuvunaana buli kitongole ekityoboola eddembe ly’obuntu. [1] Mu 2023, ye mubaka yekka eyakuba akalulu nga awakanya ebbago erirwanyisa ebisiyaga .

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Fox Odoi-Oywelowo yazaalibwa nga 23 Ogwekkuminebiri 1968 mu Budama ey'Obuggwanjuba mu Buvanjuba bwa Uganda. Yasomera ku Manjasi High School nga tannaba kwegatta ku St Peter's College, Tororo, gye yamalira siniya. Oluvannyuma Fox Odoi-Oywelowo yeegatta ku Ssettendekero wa Makerere gye yafunira diguli mu mateeka (LLB Hons), n’atikkirwa mu 1992. Wakati wa 1992 ne 1993, yasoma dipulooma mu by’amateeka, n’atikkirwa mu 1993. Mu 2018, yafuna diguli eyookubiri mu mateeka, International Business Law, okuva mu Uganda Christian University .

Omulimu gw’amateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Fox Odoi-Oywelowo yatandika nga omuyambi w'omulamuzi JP Berko (Ghanaian Expatriate Judge) ku bitongole bya gavumenti ebigenderera okuyambako ku mawanga agakyakulakulana nga tannaweereza nga omuyambi mu by’amateeka mu kkampuni ya bannamateeka ey’obwannannyini mu Kampala .

Yeegatta ku kitongole ky’ebyamateeka ekya State House mu 1995 n’afuuka akulira ekitongole kino mu 1996. Wakati wa 1996 ne 1998, Fox Odoi-Oywelowo yali mu Ttiimu eyanoonyereza ku buyinza bwa Uganda Peoples’ Defence Forces (UPDF). Ttiimu eno yazuula abajaasi abataaliyo "emizimu" naye nga baali basasulibwa ku lukalala lw’omusaala gw’amagye ga UPDF. Mu 1999, yakulembera ekibinja ky’ababalirizi b’ebitabo eky’enjawulo ekya State House okuyingira mu kitongole ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA), okunoonyereza ku kwewala omusolo. Okubala ebitabo kuno kwaviirako okussaawo enkola ezigendereddwamu okutangira abantu abasuulawo eby'amaguzi byabwe. Okubala ebitabo era kwaleese okuddukanya obulungi kabangali z’ebyamaguzi ebiyita mu bifo ebirala n’okuddamu okukakasa n’okuwandiika ebiwandiiko ebifulumizibwa ebweru w’eggwanga.

Fox Odoi-Oywelowo naye mukozi wa mateeka ga ssemateeka mu bujjuvu era yawaaba empaaba za ssemateeka eziwerako ezitereezezza enkola y’amateeka mu Uganda. A Locus Classicus eya Fox Odoi-Oywelowo ne James Akampumuza V Ssaabawolereza wa Gavumenti esomesebwa mu masomero gonna ag’amateeka mu Uganda.

Okuva mu mwaka gwa 2000 okutuuka mu 2010, Odoi-Oywelowo ye yali akulira abawaabi ba gavumenti mu kitongole ky’amagye ga Uganda People’s Defence Forces unit, abakuumi ba Pulezidenti aba Presidential Protection Unit (PPU) oluvannyuma ekyakyuka ne kifuuka ekibinja ky’abakuumi ba Pulezidenti (PGB) nga mu kiseera kino kye kiyitibwa Special Forces Command (SFC).

Bwe yali mu State House, era yalondeddwa okubeera mmemba w’akakiiko akagaziyiziddwa akanoonyereza ku bivuddeko okulwanagana wakati w’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces (UPDF) n’eggye lya Rwanda Patriotic Front (RPF) e Kisangani . [2]

Mu 2010, Odoi-Oywelowo yeegatta ku Directorate of Civil Litigation mu Minisitule ya Uganda ey’ebyamateeka n'ensonga za Ssemateeka, ng’akola nga munnamateeka wa Gavumenti.

Akyagenda mu maaso n’okukola eby’amateeka ng’omuwolereza wa Kkooti z’Ekitongole ekiramuzi nga yeewandiisa mu 1998.

Emirimu gy'obwa Mmemba wa Paalamenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Fox Odoi-Oywelowo yalondebwa nga mmemba wa Paalamenti ya Uganda ey’omwenda, ng’akiikirira ekitundu kya Budama ey'Obuggwanjuba mu Bukiikakkono. Bwe yali mu Paalamenti, yaliko ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku mateeka, enkizo n’empisa. Era yaliko omukiise ku kakiiko k’ebyamateeka n'ensonga za Paalamenti n’akakiiko akavunaanyizibwa ku mbalirira. Fox Odoi-Oywelowo nga 14 Ogusooka 2021, yaddamu okulondebwa mu Paalamenti ya Uganda okukiikirira ekitundu ky'Obuggwanjuba bwa Budama mu Bukiikakkonobwobuvanjuba, n’awangula ekifo nga mmemba w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM). [3] Ye mubaka mu Paalamenti eyasooka okukiikirira Konsityuwensi eyali yakutulwa okuva ku Konsityuwensi y'e Budama ey'Obuggwanjuba mu Bukiikakkono mu 2020.

Mu kiseera kye ekya 2011–2016, Fox Odoi-Oywelowo y’omu ku bavujjirizi abaawakanya etteeka lya Uganda erirwanyisa ebisiyaga mu Paalamenti ne mu kkooti ya Ssemateeka. [4] N’ekyavaamu, kkooti ya Ssemateeka yalangirira nti etteeka erirwanyisa abagaala ebisiyaga terisaana mu ssemateeka. Ng’omubaka mu Paalamenti, Fox Odoi-Oywelowo yawagira okuggyawo ekibonerezo ky’okufa era n’asaba olukusa okuva mu Paalamenti wamu n’abalala okuleeta ebbago ly’etteeka ly’omukiise ow’obwannannyini olw’ekigendererwa kino. Era yasaba okukkirizibwa okuggyamu embuto mu mateeka n’okussaawo obulwaliro obuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe ng’engeri yokka ey’omugaso ey’okutaasa obulamu bw’enkumi n’enkumi za bamaama abafa olw'enkola z’okuggyamu embuto ezitali nnungi. [5]

Mu 2023, Odoi-Oywelowo ye mubaka yekka eyakuba akalulu nga awakanya ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga, 2023 . Yasekererwa bannamateeka banne ne bamulumiriza okufuna ssente okutumbula bye balaba nga "obugwenyufu bw'amawanga g'obugwanjuba". [6]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Fox Odoi-Oywelowo mufumbo era alina abaana bana. Wa nzikiriza ya Kikatoliki.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]