Frances Akello
Frances Akello (yazaalibwa mu 1936) mu nna yuganda omulimi, omusomesa era yali munnabyabufuzi. Yaweereza ku lukiiko lw'ababaka ba Uganda nga mmemba w'ekibiina kya Democratic Party okuva mu 1959 okutuuka mu 1961, yomu ku bakyala aba firika abasooka okuweereza ku lukiiko.[1][2]
Yasomera ku Magoro Primary School, Toroma Primary School ne Ngora Convent School. Yattikibwa obusomesa e Namagunga mu Disitulikiti y'emukono mu 1958 era n'afuna dipulomoma okuva ku Makerere University mu 1966. Yasoma okusomesa olungereza ng'ayambibwako sikaala mu University of Leeds.[1]
Akello yali musomesa mu ttendekero ly'abasomesa erya St Mary's Teachers Training College bweyasunsulwamu n'alondebwa mu lukiiko lw'ababaka ba palamenti mu 1958. Yakolako ng'omukiise ku kakiiko ka Bandera, ng'avunaanyizibwa ku kutegeka bandera y'eggwanga ku bwetwaze bwalyo. Yasalawo obutavuganya ku kifo mu lukiiko lw'eggwanga olusooka kubanga yandibadde avuganya omubuulizi we Cuthbert Joseph Obwangor.[1]
Ebiwandiiko Ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/One-of-Uganda-s-pioneer-female-legislators/691232-2025658-l4nvjnz/index.html
- ↑ http://www.nzdl.org/gsdlmod?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-1l--11-en-50---20-help---00-0-1-00-0--4----0-0-11-10-0utfZz-8-10&cl=CL1.11&d=HASH01498f0cfd994ddfe10f20e4.15&x=1