Francis Kitaka
Francis Xavier Kitaka (1 Ogwolubereberye 1935 – 12 Ogwomwenda, 2020). Yali Munnayuganda nga biochemist, musawo w'abisolo, mutandisi w'amirimu era omukugu mu by'amakolero . Ono ye yali ssentebe w’ekitongole kya Cipla Quality Chemical Industries Limited (CIPLAQCIL), ekisangibwa e Luzira, ekitundu ekiri ku njegooyego za Kampala, nga ky'ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. CIPLAQCIL ye kampuni yokka mu Ekitundu kya Africa ekiri wansi w'eddungu Sahara, ekkirizibwa okukola eddagala eriweweeza ku siriimu eriwa obujjanjabi obw’emirundi esatu. [1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu 1935, mu maka ag'abaana omukaaga, nga bazadde be ye Celestino Mayambala Musoke ne Monica Musoke . Francis Kitaka yasomerako mu Rubaga Primary School, okuva mu 1944 okutuuka mu 1948 Kitaka yaweebwa ekifo mu seminaaliyo y'abato eya Bukalasa Minor Seminary, kyokka n’agobwa mu 1950, lwa kwambala ssapatu n'agenda mu Kereziya. Omwaka ogwaddako ogwa 1951, yaweebwa ekifo mu Rubaga Boys' Secondary School, gye yatuulira ebigezo bye ebya middle school mu 1952. Yaweebwa ekifo mu St. Mary's College Kisubi mu 1952 oluvannyuma navaayo mu 1954 oluvannyuma lw'okumaliriza Siniya Eyookuna eyitibwa (Cambridge Ordinary School Certificate Examinations). Mu 1955, yaweebwa ekifo mu kitongole kya Sayansi oba Faculty of Science mu yunivasite y’e Makerere okusoma essomo erimpimpi ery'amala emyaka ebiri. Kino kyali kyenkana n’okusoma Siniya Eyookutaano n'eyoomukaaga. Mu 1957, Kitaka yayingira ekitongole ky’obusawo bw’ebisolo, okusoma Diploma mu by’obusawo bw’ebisolo, gye yafuna mu 1958. Mu 1961, yafuna sikaala okuva mu Gavumenti ya Uganda okusoma Biochemistry mu University of Aberdeen mu Scotland . Oluvannyuma lw’okutikkirwa, Kitaka yafuuka Biochemist Omufirika eyasooka mu buvanjuba bwa Africa . [2]
Ebyafaayo by'okukola kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1961, bwe yali tannaba kugenda Scotland okweyongerayo mu kusoma, yali akolera mu kitongole kya Animal Health Research Centre e Entebbe. Bwe yali mu Scotland, yali akolera mu Rowett Research Institute mu Aberdeen okumala emyaka munaana bwe yali tannaba kudda Uganda mu 1968. Bwe yakomawo, yakolera mu Ekitongole kya Tick Control Department mu minisitule y'ebyobulimi, ng'omukugu mu by'ebiwuka. Mu 1972, Francis Kitaka yeegatta ku Wellcome Uganda Limited, ng'omukulu w'abakitunzi.[1][2]
Mu 1989, Kitaka ne banne babiri okuli Edward Martin ne Randall Tierney baagula kkampuni ya Wellcome East Africa Limited ne bagituuma Cooper Uganda Limited . Mu 1994, baagula ekizimbe kino nga kirimu ofiisi zaabwe ne bakikyusa erinnya ne bakifuula MTK Holdings Limited, nga bakiikirira ennukuta ezisooka ku linnya ly'ekika erya buli omu ku bo. [1] [2]
Mu 1997, nga ali ne bamusigansimbi abalala basatu; George Baguma, Frederick Kitaka ne Emmanuel Katongole, ekibinja kya bamusigansimbi mukaaga kyatondawo kkampuni ya Quality Chemicals Limited (QCL), nga ekigendererwa kyayo ekyasooka kwali kusuubula ddagala erikola mu ngeri ennyingi, ery’ebisolo n’ery’abantu mu ggwanga okuva ebweru. Mu 2003, bannannyini migabo mu QCL baategeera nga bayita mu kaminsona wa Buyindi mu Uganda, nti Cipla, kkampuni y’eddagala mu Buyindi yali enoonya kkampuni y’eddagala ey’amaanyi egenda okukolagana nayo mu Uganda. Baalinnya ennyonyi ne bagenda e Buyindi ne bassa omukono ku ndagaano z’okukolagana n’okutunda. Eyo ye yali entandikwa y’okusuubula mu Uganda okuva ebweru eddagala erikolebwa aba Cipla. [1] [2]
Baamatiza Cipla okuzimba ekkolero eryali ery'okukola eddagala lya Siriimu mu Uganda. QCL yagula ettaka mu 2004 era nga 3 Ogwomwenda 2005, Pulezidenti Yoweri Museveni n’akola omukolo gw’okuggulawo ekifo. Ekkolero lino lyatandika okukola mu 2007. Ekyuma ekikola eddagala kyali kya kkampuni empya eyali eyitibwa Quality Chemical Industries Limited, nga Cipla ne Quality Chemicals Limited baalinamu emigabo egyenkanankana. Ekyuma ekyo kyali kiddukanyizibwa kkampuni ya QCL. Francis Xavier Kitaka yali ssentebe w'olukiiko oluddukanya QCIL okuva mu 2007 okutuuka mu Gwekkuminoogumu 2013. [1] [2]
Mu 2013, Cipla yafuna emigabo egisinga obungi mu QCIL, era n’akyusa erinnya lya kkampuni eno n’efuuka CIPLAQCIL. Mu kiseera ekyo Obwa ssentebe bw'akyuka ne buweebwa Emmanuel Katongole. Francis X Kitaka yasigala ng’alina emigabo mu bizinensi eno. [3]
Obulwadde n’okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Francis X Kitaka yafa nga 12 Ogwomwenda, 2020. Mu kiseera we yafiira, MTK Holdings Limited, gye yalina ne banne, yalina emigabo oba nnannyini, bizinensi eziwerako omuli: 1. Quality Chemicals Limited 2. Mosquito Net Village Limited, ekola obutimba bw’ensiri 3. Tinosoft Limited, nga eno bizinensi ya ICT nga nayo eteeka ssente mu by’ettaka n'amayumba ebivaamu ssente. [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 https://www.ceo.co.ug/francis-x-kitaka-the-unsung-hero-of-ugandas-health-and-agricultural-sectors/
- 1 2 3 4 5 https://www.newvision.co.ug/news/1216319/kitaka-brain-africa-eur-arvs-factory
- ↑ https://web.archive.org/web/20150402132145/http://www.ciplaqcil.co.ug/about-us/board-of-directors/
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/09/breaking-mtk-holdings-boss-dead.html