Jump to content

Francis Miiro

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Francis A. Miiro, (2 Omwezi ogwomunaana 1934 – 30 Omwezi gwokusatu 2008), yali musawo eyeebuuzibwako mu bujanjabi bw'abakyala abali embuto n’endwadde z'abakyala ez'ekyama mu Uganda, eyaweerezako ng'omukenkufu mu bujanjabi bw'abakyala abali embuto n’endwadde z'abakyala ez'ekyama mu bbanguliro ly'abasawo erya yunivasite ya Makerere ng'era mu kiseera kye kimu akola ng'eyeebuuzibwako omukulu ku bujanjabi bw'abakyala abali embuto n’endwadde z'abakyala ez'ekyama ku ddwaliro ly'egwanga ekkulu ery'e Mulago eddwaaliro erisomerwamu abayizi b'ebbanguliro ly'abasawo. [1] [2]

Obuvo bwe n'obuyigirizebwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Miiro yazaalibwa mu ttundutundu lya Buganda ekya Uganda, nga 2 Omwezi ogwomunaana 1934. Yakuzibwa ng'omukatuliki Bazadde be baali omugenzi Maria Nakiwala Nakayima n’omugenzi Petero Nsubuga. [1]

Yasomera mu Kiziba Primary School mu misomo gye egy'omutendera ogusooka. Oluvannyuma yatwalibwa ku ssomero lya St. Peter’s Boys School, Nsambya gye yamalira emisomo gye egya wansi (middle school). Yadda Namilyango College gye yamalira siniya eyokuna ne siniya ey'omukaaga . [1]

Mu 1963,yatikkirwa okuva mu yunivasite ya Mumbai (mu kiseera ekyo eyali yunivasite ya Bombay ), gye yali asomedde obusawo bw'abantu ku sikaala. Yafuna ddiguli esooka eya Bachelor of Medicine and Bachelor of surgery (MBChB) okuva eyo. Oluvannyuma yakola emisomo egiddirira mu Yunivasite ya Queen's Belfast , mu Belfast, Northern Ireland , gye yafunira ekitiibwa kya Member of the Royal College of Obstetricians and Gynaecologists (MRCOG) mu 1968. Mu 1975, Yunivasite y’e Makerere yamuwa ddiguli eyokusatu eya Doctor of Philosophy (PhD). [1]

Yaweebwa omulimu ng’omusomesa mu by'obujanjabi bw'abakyala abali embuto n'endwadde z'abakyala ez'ekyama ku yunivasite ya Makerere mu bbanguliro ly'abasawo mu 1968. Yalinnya amadaala n’afuuka pulofeesa mu kitongole ekisomesa ku bujanjabi bw'abakyala ab'embuto n'endwadde z'abakyala ez'ekyama mu bbanguliro ly’abasawo era eyeebuzibwako omukulu ku bujanjabi bw'abakyala ab'embuto n'endwadde z'abakyala ez'ekyama mu ddwaaliro ly’ebbanguliro ly'abasawo. [1] [2]

Mu myaka gya 1990 ne ku ntandika y’emyaka gya 2000, yeeyakulemberamu okunoonyereza mu kugezesebwa kw'amalwaliro nga Yunivasite y’e Makerere yali kifo ekisomerwamu. Okunoonyereza kuno kwalaga nti eddagala lya Nevirapine likola bulungi mu kuziyiza okusiiga kw'akawuka ka sirrimu okuva mu maama okudda ku mwana eyakazaalibwa . [2] Miiro ne banne baasobola okulaga okukendeera kwa bitundu 50 ku buli 100 mu kusiigibwa nga bazaala eri abaana abazaalibwa bamaama abalina akawuka ka siriimu mu bbanga lya mwaka gumu okuva maama wafunira olubuto okutuusa lwazaala , nga ba maama baweebwa ddoozi emu eya Nevirapine mu kiseera ky'okuzaazla. [3]

Obulwadde n’okufa

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafa nga 30 Omwezi ogwokusatu 2008 mu ddwaliro lyeggwanga ekkulu e Mulago ,nga yafa kirwadde kya kkookolo w'akalulwe ku myaka 73. Yalina omukyala n’abaana abakulu kkumi n’omu n’abazzukulu munaana. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda Funeral Services (13 July 2023). "Memorial Website for Professor Francis A. Miiro, August 02, 1934 - March 28, 2008". Legacy.com. Kampala, Uganda. Retrieved 13 July 2023.
  2. Francis Kagolo (31 March 2018). "HIV Drugs Researcher Miiro, Dead". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 13 July 2023.
  3. Charles Wendo (2000). "Govt to continue AIDS drug supply". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 13 July 2023.
  1. 1 2 3 4 5 6 Uganda Funeral Services (13 July 2023). "Memorial Website for Professor Francis A. Miiro, August 02, 1934 - March 28, 2008". Legacy.com. Retrieved 13 July 2023. Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. 1 2 3 Francis Kagolo (31 March 2018). "HIV Drugs Researcher Miiro, Dead". New Vision. Retrieved 13 July 2023. Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  3. Charles Wendo (2000). "Govt to continue AIDS drug supply". New Vision. Retrieved 13 July 2023.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]