Jump to content

Francis Omaswa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Francis Omaswa

Francis Gervase Omaswa Munnayuganda omusawo w'emitima n'emisuwa, musomesa era mukugu munzirukanya y'emirimu . [1] Yatuuzibwa ku bwa ssenkulu wa Soroti University, emu ku yunivasite za gavumenti omwenda mu Uganda mu Gwomunaana 2022. [2] Omaswa yaliko ssenkulu wa Busitema University emu ku yunivasite za gavumenti ya Uganda wakati wa 2009 okutuuka 2017.[3][4]

Ensibuko n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Omaswa yazaalibwa mu kyalo Mukura mu Disitulikiti y'e Kumi, mu Buvanjuba bwa Uganda, awo nga mu 1943. Bazadde be baali Yafesi Ijookit ne Matilda Acom. Yasomera ku ssomero lya Mukura Primary School okuva mu P1 okutuuka mu P4, gyeyava okugenda ku Koloin Primary School okuva mu P5 okutuuka mu P6. Oluvannyuma lw'okuyita ebigezo bye ebimalako omutendera ogwa pulayimale, yagenda ku ssomero lya Holy Angels Junior Secondary School mu Disitulikiti y'e Soroti okusoma Junior One ne Junior Two. Oluvannyuma yagenda ku St. Mary's College Kisubi, gye yasomera siniya ne haaya ku mutendera gwa O-Level ne A-Level.

Mu 1964, yaweebwa ekifo ku ttendekero ly'abasawo erya Makerere University School of Medicine era n'attikirwa mu 1969 ne Diguli mu busawo obulongoosa eya Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery. Mu 1974, yafuna Diguli eyookubiri mu busawo okuva ku yunivasite e Makerere.

Oluvannyuma yalondebwa okubeera omu ku bammemba b'ekibiina ki Royal College of Surgeons of Edinburgh kwossa ne College of Surgeons of East, Central and Southern Africa era nga mu kibiina kino y'omu ku batandisi.[5] Omaswa mufumbo era mukyala we ye Dr. Catherine Nyapidi Omaswa era nga naye musawo eyasomera ku yunivasite e Makerere.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. MLO (2009). "Brief Professional & Academic Profile of Professor Francis Omaswa". Ministerial-leadership.org (MLO). Retrieved 21 February 2015.
  2. https://softpower.ug/prof-omaswa-installed-as-first-soroti-university-chancellor/
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Francis%5FOmaswa#cite_note-3
  4. https://web.archive.org/web/20150222031721/http://www.newvision.co.ug/D/8/17/683376
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Francis%5FOmaswa#cite_note-Details-5