Francis Takirwa
Brigadier General Francis Takirwa, Munnayuganda omuserikale wa magye era nga yatandika emirimu gye mu bujjuvu mu Gwekkumineebiri 2019, ng’aduumira ekibinja eky'eggye lya Uganda People’s Defence Forces, erisangibwa mu kibuga Mbarara mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. [1]
Obuto n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Mbarara nga 7 Ogwekkuminoogumu 1965. Yasomerako mu ssomero lya Mbarara Junior School mu pulayimale. Oluvannyuma yasomerako ku Mbarara High School nga eno gye yamaliririza Siniya eyookuna. Yeegatta ku magye ga Uganda nga wayiseewo ekiseera kitono. [2]
Mu 1994, yasoma essomo lya Junior Command and Staff Course mu ttendekero lya Uganda Junior Staff College, e Jinja . Oluvannyuma naagenda mu maaso n’agenda mu musomo gw’abaduumizi ba kkampuni mu ttendekero ly’amagye erya Tanzania e Monduli, mu 1998. Oluvannyuma mu 2006, yagenda mu kusoma essomo ly'obuduumizi b’amagye mu Nanjig Army Command College, e Nanjing, China. Mu 2009, yafuna Dipuloma mu African Strategic Studies okuva mu Nasser Higher Military Academy, e Giza, Misiri. Oluvannyuma yagenda okusoma essomo lya Executive National Security Program mu ttendekero ly’ebyokwerinda erya South Africa. [2]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Okuweereza kwe mu magye ga Uganda kwatandika mu 1989. Aweererezza mu mirimu egy’enjawulo egy’obukulembeze mu magye, omuli n’okulwana mu lutalo lw'e Somalia, ng’omu ku kibinja ky’amagye ga UPDF mu AMISOM, okuva mu 2011 okutuuka mu 2012. [2] Amangu ddala nga tannatuuka mu kifo ky’alimu kati, Takirwa yali akulira Eby'enjigiriza, Emizannyo n’Obuwangwa mu UPDF. Ng’omuduumizi w’ekibinja kya UPDF eky’okubiri, nga yasikira Brigadier Kayanja Muhanga eyagenda okweyongerayo mu misomo gye mu ttendekero lya South African National Defence College. [1]
Ebirala ebikulu
[kyusa | kolera mu edit source]Brigadier Francis Takirwa era yaliko omukiise w’amagye mu Paalamenti ey’ekkumi 2016 - 2021. [1] [2] Mu 2022, yalondebwa ng’akola ng’omumyuka w’omuduumizi w'amagye g’oku ttaka. Era yaliko akulira eby'enjigiriza, emizannyo, n’ebyobuwangwa mu magye ga Uganda. [3] [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/News/National/Takirwa-UPDF-2nd-Division-command--DR-Congo-ADF-/688334-5376022-dkhle5/index.html
- 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-reshuffles-updf-commanders-4047280
- ↑ https://www.updf.go.ug/welfare/major-general-francis-takirwa-urges-troops-to-maintain-new-housing-units/