Jump to content

Frank Bulira Kabinga

Bisangiddwa ku Wikipedia
Frank Bulira Kabinga
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa

Frank Bulira Kabinga (yazaalibwa mu 1982) MunnaUganda musomesa era munnabyabufuzi . Yavuganya ku bwapulezidenti bw'ekibiina kya Revolutionary People's Party (RPP) mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu Uganda 2026 .Yalondebwa mu butongole akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda mu Gwomwenda 2025 era n'akuba kampeyini ku musingi ogwali gusobozesa okubeerawo kwa federo. . [1] [2]

Obutobwe nokusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabinga yazaalibwa mu 1982 mu Kasubi mu Divizoni y'e Rubaga, n'akulira mu Disitulikiti y'e Luweero . Pulayimale yagimalira mu Kasubi Church of Uganda Primary mu 1999, oluvannyuma n’agenda mu Mengo Senior School ne Old Kampala Secondary School okusoma siniya eyokuna. Yatikkirwa mu Yunivasite y’e Kyambogo mu 2005 ela n’akola ng’omusomesa wa siniya. [2]

Omulimu gw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Bulira okusooka okwenyigira mu byobufuzi mwalimu okukola n’ekibiina kya Uganda Federal Democratic Organization (UFDO) [3], gye yeetaba mu kukungaanya abavubuka n’okubunyisa amawulire ebikwata ku nnongoosereza mu nfuga. [4] Yakwata obukulembeze bwa UFDO oluvannyuma lw'okufa kwa Aggrey Kiyingi . [3] Oluvannyuma Bulira yeegatta ku RPP era n'asituka mu ggwanga lyonna ng'omukwasi wa bendera ya RPP mu kuvuganya ku bwapulezidenti mu 2026. Ono y’omu ku beesimbyewo ku bwapulezidenti munaana abakkirizibwa mu butongole akakiiko k’ebyokulonda mu kiseera ky’okusunsulwamu ku nkomerero yo mwezogwomwenda, 2025. [5]

Ebujuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Who is Presidential Candidate Frank Bulira?". The Torch Uganda (in American English). 2025-09-25. Retrieved 2025-12-03.
  2. 1 2 "Who are candidates Bobi, Muntu, Munyagwa, Bulira?". Monitor (in Lungereza). 2025-09-25. Retrieved 2025-12-03. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content.
  3. 1 2 Naimanye, Andrew Victor Mawanda. "Kabinga Promises Gigantic Surprise in Uganda's 2026 Presidential Race". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-12-03.
  4. Kato, Chris (2025-09-25). "Frank Bulira Kabinga: A New Hope in Uganda's Presidential Race". ugandatoday.co.ug (in British English). Retrieved 2025-12-03.
  5. Kizza, Joseph (2025-09-24). "News: Eight candidates to vie for Uganda's presidency in 2026". New Vision. Retrieved 2025-12-03.