Frank Nyangweso
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Francis | |
| Yazaalibwa nga | 29 Gwamwenda(Mutunda) 1939 | |
| Gy'azaalwa | Busia District | |
| Olunaku lwe yafa | 15 Gwakubiri (Mukutulansanja) 2011 | |
| Place of death | Kampala | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | boxer, munnabyabufuzi, military personnel, boxing referee, diplomat, sports executive, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | president, vice president, vice president, president, president | |
| Omuzannyo | boxing | |
| Yeetabye mu | 1960 Summer Olympics, 1958 British Empire and Commonwealth Games, 1962 British Empire and Commonwealth Games | |
| Mmemba wa | International Olympic Committee | |
| Height | 185 centimetre | |
Francis Were Nyangweso (29 Ogwomwenda 1939 – 15 Ogwokubiri 2011) Munnayuganda, eyali omuzannyi w'ebikonde mu Uganda.[1] Yavuganya mu mpaka z'ebikonde ez'abasajja ez'obuzito bwa wakati (men's light middleweight) mu mizannyo gya 1960 Summer Olympics. Oluvannyuma yagenda mu maaso n'okukola mu by'emizannyo mu Uganda,[2] wamu n'okufuuka Genero mu magye ga Uganda,[3] nga tannakwatibwa mu mivuyo gya nguzi mu mizannyo gya Olympics egy'omusana mu 2000 .[4][5]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Nyangweso yazaalibwa Busia, Uganda mu 1939.[6] Yali kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde okuva mu 1955 okutuuka mu 1962.[7]
Mu mizannyo gya Olympics egy’omusana mu 1960 e Roma, Nyangweso yavuganya mu mpaka zebikonde ez’abasajja ez’obuzito obw’omu makkati obutono .[8] Yakubwa mu lawundi eyookubiri mu mpaka zino awo nga Wilbert McClure owa Amerika yakuba Nyangweso., McClure n'agenda mu maaso n'awangula omudaali gwa zaabu.[8] Wadde nga yawangulwa mu Olympics, Nyangweso yawangula omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Hapoel mu 1961,[6] n'omudaali gw'ekikomo mu mizannyo gya British Empire and Commonwealth Games mu 1962 .[9]
Mu 1963, Nyangweso yatikkirwa mu magye n’afuuka Genero mu magye ga Uganda .[1] Nga wayise emyaka munaana, Idi Amin yalonda Nyangweso ku kifo ky'omuduumizi w'amagye era akulira amagye. [1] Mu bufuzi bwa Amin obwannakyemalira, Nyangweso yaliko Omukulembeze w’eggwanga okumala akaseera katono mu 1975 nga Amin ali mu luwummula.[1][9]
Nyangweso yali maneja wa ttiimu ya Uganda ey'ebikonde mu mizannyo gya Olympics egy'omusana mu 1968,[1] era nga ye chef de mission wa Uganda mu mizannyo gya Olympics egy'omusana mu 1972 ne Olympics ez'omusana mu 1980 .[1] Olwo n’agenda waggulu n’abeera Pulezidenti w’ekibiina ekifuga ebikonde mu Uganda okumala emisinde ebiri okuva mu 1967 okutuuka mu 1972 n’okuva mu 1979 okutuuka mu 1995.[1] Nyangweso era yali Pulezidenti w’ekibiina ekifuga ebikonde mu Afrika okuva mu 1974 okutuuka mu 1978.[1] Oluvannyuma lw’okuweereza ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina ekigatta abazannyi b’ebikonde ekya Association Internationale de Boxe Amateur okuva mu 1981 okutuuka 1986, Nyangweso yaweereza ng'omumyuka wa Pulezidenti waabwe okuva mu 1986 okutuuka mu 2006.[1] Ku mutendera gwa Olympics, Nyangweso yaliko omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina ekigatta obukiiko bwa Olympics mu ggwanga okuva mu 1999 okutuuka mu 2001,[1] wamu ne Pulezidenti w'akakiiko ka Uganda Olympics okuva mu 1971 okutuuka mu 2009.[1]
Mu 1999, Nyangweso yakwatibwa mu mivuyo gy’enguzi mu Olympics,[9][10] kyokka oluvannyuma n’alongoosebwa oluvannyuma lw’okunoonyereza. [11][12] Yafa mu February 2011 e Kampala, nga ayina emyaaka 71. [13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 "Frank Nyangweso". Olympedia. Retrieved 2022-03-16.
- ↑ "Ugandan IOC member Nyangweso dies at 72". Taiwan News. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "TRIBUTE: Nyangweso is a real iron-man". New Vision. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "Olympics scandal draws in Sydney". BBC News. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "OLYMPIC SCANDAL LOOMS IN AFRICA". The Washington Post. Retrieved 16 March 2022.
- 1 2 "Nyangweso: Man of many stripes". Observer (Uganda). 17 February 2011. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/boxing/former-boxer-nyangweso-ruled-uganda-olympic-committee-for-more-than-two-decades-1486958
- 1 2 "Light-Middleweight (≤71 kilograms), Men". Olympedia. Retrieved 16 March 2022.
- 1 2 3 "IOC member Francis Nyangweso dies at age of 72". Inside the Games. 20 February 2011. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "Pressure mounts on IOC president". The Irish Times. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "Former Uganda Olympic chief dies". Sowetan Live. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "Bribery Hearings Begin". Los Angeles Times. 24 January 1999. Retrieved 16 March 2022.
- ↑ "Obituary: Major General Francis Nyangweso". The Global Herald. 16 February 2011. Retrieved 16 March 2022.