Frank Tumwebaze

Bisangiddwa ku Wikipedia

Frank Kagyigyi Tumwebaze munnayuganda, musomesa ate nga munnabyabufuzi. Ye Minisita w'eby'okulima, okulunda n'okuvuba okuva nga 8 ogwomukaaga 2021.[1]

Yaliko minisita wa Gender, Labour and Social Development, mu Kakiiko ka Uganda. Yalondebwa ku kifo kino nga 14 ogwekkumi n'ebiri 2019.[2]

Ekyo nga tekinnabaawo, yali minisita w'eby'empuliziganya okuva nga 6 ogwomukaaga 2016 okutuusa nga 13 ogwekkumi n'ebiri 2019.[3]Yaliko Minisita w'omukulembeze ne Minisita wa Kampala Capital City Authority wakati wa 2012 ne 2016. Mu kiseera kino ye Mubaka wa paalamenti omulonde owa Kibaale County mu Kamwenge Disitulikiti nga ali mu kibiina kya National Resistance Movement.[4]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Tumwebaze yazaalibwa Matayo Kagyigyi ne Beatrice Kagyigyi mu Kamwenge Disitulikiti nga 1 ogwekkumi n'ebiri 1975. Mwana wa kutaano mu famire y'abaana omusanvu.

Yasomera Jinja college gye yamalira ekyomukaaga. Yafuna Ddiguli mu musomesa bwa ssaayansi mu 1999 okuva mu Mbarara University of Science and Technology. Yafuna ne Masters mu International and Diplomatic Studies, ne Masters mu Public Health gye yafuna mu 2005 ne mu 2019 e Makerere University, yunivasite esinga obukulu mu Uganda.[5][6] Mu gwoluberyeberye 2019, yafuna Masters mu Public Health e Makerere University.[7]

Emirimu[kyusa | edit source]

Okuva mu 2000 okutuuka mu 2001, yakola nga Ofiisa w'ebyamaguzi mu Kitongole kya ky'eby'emisolo mu Uganda ekya Uganda Revenue Authority. Mu 2001, yalondebwa nga omumyuka wa RDC era yatwalibwa mu Iganga Disitulikiti mu kifo ekyo okutuuka mu 2003. Bwe yava eyo yatwalibwa mu Maka g'obukulembeze, gye yakola nga Omuyambi ow'enjawulo ow'omukulembeze mu kunoonyereza n'empuliziganya okuva mu 2003 okutuuka mu 2005. Mu 2006, yayingira eby'obufuzi nga yeesimbawo ku kifo ky'obubaka bwa paalamenti we Kibale County mu Kamwenge Disitulikiti. Yalondebwa ku tikiti ya NRM. Mu 2011, yaddamu n'alondebwa.[8] Mu kukyusa abakulembeze nga 12 ogwomunaana 2015, yalondebwa nga Minisita w'obwa pulezidenti.[9][10] Yadda mu kifo kya Kabakumba Masiko, eyava mu gavumenti nga 14 ogwekkumi n'ebiri 2011 nga kigambibwa nti yali akozesa bubi woofiisi, obubbi, okufiiriza gavumenti ensimbi n'okweddiza ensimbi za gavumenti mu bukyamu.[11] [12][13]Mu gwomukaaga 2016, yafuulibwa minisita wa ICT. [14]Mu kukyusa obukulembeze nga 14 ogwekkumi n'ebiri 2019, Tumwebaze yafuulibwa minisita wa Gender, Labour and Social Development nga yadda mu kifo kya Janat Mukwaya, eyaggyibwako.[15] Nga 28 ogwokutaano 2021 yafuulibwa mmemba w'akakiiko akalonzi aka paalamenti ak'ekkumi n'ogumu era akakiiko kano akakulemberwa Sipiika wa paalamenti ke kakkiriza n'okwanjula ba mmemba abalondebwa Pulezidenti.[16]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Tumwebaze mufumbo era taata wa baana bataano. Akkiririza mu ddiini ya Anglican. [17]

Emirimu gya paalamenti[kyusa | edit source]

Wammanga bwe buvunaanyizibwa obulala bw'alina mu paalamenti.[18]

  • Ssentebe w'akakiiko ka Finance, Planning and Economic Development
  • Mmemba mu lukiiko lwa Rules, Discipline and Privileges

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

 

  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/105545
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1512132/museveni-shuffles-cabinet
  3. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-01. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1492629/minister-tumwebaze-graduates-masters-degree-makerere
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://web.archive.org/web/20120816010806/http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni+reshuffles+Cabinet++makes+marginal+changes/-/688334/1480036/-/jh8op4/-/index.html
  10. https://www.facebook.com/notes/the-new-vision/full-uganda-cabinet-list-as-of-15th-august-2012/10151137578009078
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-07. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-07. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://web.archive.org/web/20120109061110/http://www.newvision.co.ug/news/314859-Kabakumba-Masiko-resigns.html
  14. https://www.scribd.com/document/314964607/New-Cabinet
  15. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
  16. https://www.independent.co.ug/minister-tumwebaze-on-nrms-appointments-committee-list/
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-01. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2021-09-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Link endala[kyusa | edit source]