Jump to content

Fred Jalameso

Bisangiddwa ku Wikipedia
Fred Jalameso
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa

Fred Jalameso Munnayuganda, munnabyabufuzi era musomesa mu Uganda . Ye mubaka mu Palamenti akikirira Ajuri County mu Disitulikiti y'e Alebtong, ng'ekifo kino yakiwangula mu kulonda kwa palamenti okwa 2026 nga yeesimbirawo mu kibiina kya Uganda People's Congress (UPC)[1][2]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Fred Jalameso yazalibwa ku kyalo Abwa, Angoltok Parish, Abako Sub-county mu Disitulikiti y’e Alebtong . Nga tanennyigira mu byabufuzi, yali musomesa era omuddukanya w'essomero. Alina diguli eyookukubiri mu Business and administration okuva ku yunivasite y’e Lira era yaliko omukulu w'essomero lya Light Vocational Secondary School.[3][4]

Omulimu gw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Jalameso yennyikira muby'obufuzi mu 2025 era n'alondebwa okukwatira ekibiina kya UPC beendera mu Ajuri County mu kamyufu k'ekibiina mu gwomunaana mu 2025[1]

Mu kulonda kwa bonna okwa 2026, yavuganya ku kifo kya palamenti wa Ajuri County. Ebyasooka okuva mu kulonda okwaliwo mu gwoluberyeberye nga 15 byalaga nti yali aleebya Denis Hamson Obua n’obuwagizi bungi. Wabula ebyava mu bifo ebironderwamu ebyenjawulo byaviirako okuddamu okulonda ng'ekiragiro kyava eri akakiiko k’ebyokulonda. Mu kulonda okwaddibwamu nga 27 ogwoluberyeberye, 2026, Jalameso yalangirirwa ng’omuwanguzi n’obululu 16,336, n’asinga Obua, eyafuna obululu 15,568.[5][6][7]

  1. 1 2 "Teacher Jalameso defeats govt whip Obua to become MP after Alebtong partial re-run". Monitor (in Lungereza). 2026-01-27. Retrieved 2026-02-24.
  2. "Jalameso of UPC ends Obua's reign in parliament". The Independent Uganda (in American English). 2026-01-28. Retrieved 2026-02-24.
  3. Naimanye, Andrew Victor. "Obua Holds Thanksgiving Service After Losing Ajuri County MP Seat". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-24.
  4. SSEBWAMI, JAVIRA (2026-01-28). "How a village teacher brought down the Government Chief Whip Obua". PML Daily (in American English). Retrieved 2026-02-24.
  5. "Obua Bows Out Gracefully After Ajuri Loss". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2026-02-24.
  6. "Obua faces re-election in Alebtong after EC reveals polling station irregularities". Monitor (in Lungereza). 2026-01-20. Retrieved 2026-02-24.
  7. "UPC's Fred Jalameso Defeats NRM's Obua in Ajuri County, Ending 15-Year Parliamentary Tenure" (in American English). Radio Sapientia. Retrieved 2026-02-24.