Jump to content

Fred Mukisa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, omwami Fred Mukisa mu lusisinkana lwe ne Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, ensonga z’abakozesa, n’okubunyisa emmere mu bantu bonna, Shri Kantilal Bhuria, mu kibuga New Delhi nga 07 Ogwomwenda, 2006

Frederick Douglas Mwanja Mukisa (4 Ogwokuna 1949 – 29 Ogwekkuminebiri 2019 [1] ) yali Munnayuganda, musomesa era munnabyabufuzi . Yaweerezako nga Minisita omubeezi ow'ebyobuvubi mu kabineeti ya Uganda, okuva nga 1 Ogwomukaaga 2006 okutuuka nga 27 Ogwokutaano 2011. [2] Mu nkyukakyuka ezakolebwa mu kabineti nga 27 Ogwokutaano 2011, yasuulibwa okuva mu kabineeti n'asikizibwa Ruth Nankabirwa . [3] Era yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ng'omubaka eyalondebwa, ng'akiikirira "eSsaza ly'eBukooli ey'omumasekkati", Disitulikiti y'e Bugiri, okuva mu 2006 okutuuka mu 2011. Mu kulonda kw'eggwanga okwa 2011, yawangulwa Hajji Siraji Lyavala mu kalulu k'ani anakwata bendera y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), nga naye yawangulwa Wafula Oguttu owa Forum for Democratic Change, mu kulonda kwa bonna. Mu Gwokusatu 2015, Siraji Lyavala yalondebwa okuba Ssentebe (LC-5) wa Disitulikiti y'e Bugiri . [4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Bugiri nga 4 Ogwokuna 1949. Yalina diguli mu by'enfuna eya Bachelor of Arts in Economics, ng’ayakuguka mu by’enfuna by’ebyalo, eyamuweebwa okuva mu Ssettendekero wa Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Uganda nga yatandikibwawo mu 1922. Yalina ne Dipuloma mu by’enjigiriza okuva mu ttendekero lye limu. Diguli ye eya Masters mu Education Planning & Management nayo yagifunira Makerere.

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Fred Mukisa yatandika nga musomesa mu ssomo ly'eby'enfuna n'okubala ebitabo, mu ssomero lya siniya e Kenya, okuva mu 1976 okutuuka mu 1978. Yakomawo mu Uganda n’akola nga omubalirizi w'ebitabo ku misolo egiwoozebwa, mu kkampuni ya Kakira Sugar Works, e Jinja, okuva mu 1979 okutuuka mu 1981. Oluvannyuma yadda e Kenya n’akola nga omukulu w'essomero lya Ekwanda High School, okuva mu 1981 okutuuka 1985. Mu kiseera ekyo, okuva mu 1976 okutuuka mu 1984, yaweereza ng'omubuuzi w'ebigezo mu lukiiko lw’ebigezo olwa East African Examination Council (EAEC).

Oluvanyuma lw’ekibiina kya National Resistance Movement okuwamba obuyinza mu 1986, Fred Mukisa yakomawo mu Uganda n’akola ng'omukubiriza w'ebyobufuzi, mu kibiina kya NRM mu kitundu ky’e Busoga, okuva mu 1986 okutuuka mu 1987. Mu 1987, yalondebwa okuba omukiise wa Pulezidenti (RDC) ow'Ebuvanjuba bwa Uganda, nga yaweereza mu kifo kino okutuusa mu 1991. Oluvanyuma yakyusibwa n'atwalibwa ku kitebe kya NRM ekikulu mu Kampala, gye yakolera ng’omumyuka wa dayirekita, NRM Secretariat, okuva mu 1994 okutuusa mu 1998.

Mu 1998, yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2001. Era yaweereza nga mmemba w’akakiiko k’ebyettaka mu Uganda okuva mu 2003 okutuuka mu 2006. [5] Mu 2006, yaddamu okulondebwa kubwa Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, ekifo kye yaweererezaamu wakati wa 1998 ne 2001. Mu bbanga nga lya myezi mukaaga okuva mu Gwekkuminogumu 2010 okutuuka mu Gwokutaano 2011, yafiirwa ebifo bye byombi eky'omubaka mu Paalamenti mu kalulu k'ekibiina n’ekifo kye mu kabineeti mu nkyukakyuka ezaliwo mu kabineti.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Fred Mukisa yali mufumbo. Yali mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Mu bintu bye yali asinga okwagala mwalimu okusoma, okutambula n’okulima

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]