Fred Nyanzi Ssentamu
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Ezzadde lye | Ssentamu Churchill James |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Luganda |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
Fred Nyanzi Ssentamu (yazaalibwa, 1971) era amanyiddwa nga Chairman Nyanzi, munnayuganda munnabyabufuzi mulwanirizi w’eddembe, musuubuzi era omukulembeze w'ekiwayi kya banneekolera gyange mu kibiina kya National Unity Platform . [1] [2] [3]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Fred Nyanzi Ssentamu yazaalibwa mu 1971 eri bazadde ba JW Ssentamu ne Margaret Nalunkuma eyali omusawo omujanjabi omutendeke. Yasomera ku somero lya pulayimale erya Kanoni oluvannyuma ne yeegatta ku ssomero lya Kasaka erya pulayimale. [3] Olwo yeeyongerayo ku ssomero lya pulayimale erya Bukalagi ne ssomero lya pulayimale era St. Herman lNkozi, gye yamalira ekibiina ekyokutaano .. Oluvannyuma lw’ekyo, yeegatta ku ku ssomero lya pulayimale erya City Primary School n’oluvannyuma ku ssomero lya Bikira Demonstration School, gye yamalira ekibiina ekyomusanvu. [3]
Yeegatta ku ku ssomero lya siniya erya Kololo High School , gye yali ekitundu ku ttiimu enzanyi y'ebikonde, era oluvannyuma n’asomera ku ssomero lya siniya erya Mityana Secondary School, n’amaliriza omutendera gwa siniya eyokuna (O-Level). [3] Yaddayo ku ku ssomero kya siniya erya Kololo High School ku misomo gye egy'omutendera gwa siniya eyomukaaga ( A-Level studies ) nga tanneegatta ku yunivasite y'e Makerere , gye yafunira ddiguli ekwata ku ngeri abantu gyebabeeramu, gyebalowoozaamu n'okukwatagana n'ekitundu mwebali (degree in Social Sciences) . [3]
Nyanzi alina ddiguli eyookubiri mu misomo egikwata ku mirembe n'obutabanguko okuva mu yunivasite y'e Makerere . [3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nyanzi yatandika emirimu gye ng'omukunzi era oluvannyuma n’ayingira ebyobufuzi ebinnyiikivu. Akola n’ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP), gy’aweerezza nga ssaabakunzi . Omulimu gwe gulimu okutegeka abantu n'okuwagira kakuyege w'ebyobufuzi. [4] Omulimu gwe guzingiramu okutegeka abantu n’okuwagira kampeyini z’ebyobufuzi. [4] Yamanyika nnyo mu kiseera ky’ekisinde kya / omugendo gwa People Power. [4] Mu 2021, yavuganya ku bubaka bwa paalamenti mu Kampala eyomumasekkati naye n’awangulwa. Akyagenda mu maaso n’okukola eby'obufuzi n’obukulembeze. [5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Ruby, Josh (2024-02-02). "Bobi Wine's brother Fred Nyanzi Sentamu graduates with Masters Degree". MBU (in American English). Retrieved 2026-03-24.
- "BOBI WINE: NUP's Head of Mobilisation 'chairman' Nyanzi abducted". The Independent Uganda (in American English). 2025-02-17. Retrieved 2026-03-24.
- News, Flash UG; Uganda, Flash (2020-12-18). "Chairman Nyanzi Fred: Biography, Early life and education". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2026-03-24.
{{cite web}}:|last1=has generic name (help)CS1 maint: unrecognized language (link) - "Churchill Sentamu contests for Youth MP, as father Nyanzi vies for Kawempe South MP". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-10-23. Retrieved 2026-03-28.
- Reporter, Senior (2025-02-17). "JUST IN: NUP Head of Mobilization, Nyanzi, Reportedly Abducted". The Source Reports (in Lungereza). Retrieved 2026-03-28.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Ruby, Josh (2024-02-02). "Bobi Wine's brother Fred Nyanzi Sentamu graduates with Masters Degree". MBU (in American English). Retrieved 2026-03-24.
- ↑ "BOBI WINE: NUP's Head of Mobilisation 'chairman' Nyanzi abducted". The Independent Uganda (in American English). 2025-02-17. Retrieved 2026-03-24.
- 1 2 3 4 5 6 News, Flash UG; Uganda, Flash (2020-12-18). "Chairman Nyanzi Fred: Biography, Early life and education". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2026-03-24.
{{cite web}}:|last=has generic name (help)CS1 maint: unrecognized language (link) Cite error: Invalid<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - 1 2 3 "Churchill Sentamu contests for Youth MP, as father Nyanzi vies for Kawempe South MP". Pulse Uganda (in Lungereza). 2025-10-23. Retrieved 2026-03-28.
- ↑ Reporter, Senior (2025-02-17). "JUST IN: NUP Head of Mobilization, Nyanzi, Reportedly Abducted". The Source Reports (in Lungereza). Retrieved 2026-03-28.