Jump to content

Fred Omach

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Fred Mandir Jachan Omach amanyikiddwa ennyo nga Fred Omach Munnayuganda akola mu bbanka era munnabyabufuzi . Mu kiseera kino ye ssentebe w’olukiiko olufuzi mu kitongole kya Pride Bank Limited, ekitongole ky’ebyensimbi ekya Tier II ekya Uganda. [1] Ekyo nga tekinnatuuka, okuva nga 14 Ogwokusatu 2017 okutuuka mu 2024, yali ssentebe w’ekitongole ekyali kivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority, [2]

Yaweerezaako nga Minisita omubeezi ow’ebyensimbi mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo kino mu 2006. [3] [4] Mu nkyukakyuka mu kabineti eya 16 Ogwokubiri 2009, [5] n’eya 27 Ogwokutaano 2011, [6] yasigaza ekifo kye mu kabineti.

Era yaweereza nga omubaka mu Paalamenti (MP), akiikirira "Jonam County", Nebbi District okuva mu 2001 okutuuka mu 2016.

Obuvo bwe n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Nebbi nga 16 Ogwokuna 1953. Fred Omach yasomera ku St. Aloysius College Nyapea, mu Disitulikiti y'e Zombo, mu misomo gye egya O-Levo. Oluvannyuma yeegatta ku Lango College mu Lira okusoma A-Levo, nga yagimaliriza mu 1973. Yayingira Ssettendekero wa Makerere, yunivasite esinga obukadde mu East Africa mu 1974, n’atikkirwa mu 1977 ne diguli mu by'enfuna eya Bachelor of Arts in economics n’okukwasaganya embeera z’abantu . [7]

Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu yunivasite y’e Makerere, yapangisibwa nga omukungu w'abakozi,(HR) aba minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, mu 1978. Mu 1979 yeegatta ku bbanka y'ebyobusuubuzi eya Uganda Commercial Bank (UCB) nga kati etakyaliwo, bbanka y’ebyobusuubuzi eyali esinga obunene mu kiseera ekyo. Yasituka ng’ayita mu madaala okutuusa lwe yatuuka ku ddaala lya Maneja ow'okuntikko, owa UCB. [7]

Yawummula emirimu gya bbanka n'ayingira eby'obufuzi eby'okulonda mu 2001. Omwaka ogwo, Omach yavuganya bulungi ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti eky "Essaza ly'e Jonam"mu Distulikiti y'e Nebbi . Okuva ku olwo yaddamu okulondebwa obutasalako, okutuusa lwe yawangulwa mu 2016. [8]

Mu Gwokusatu 2017, yalondebwa okuba ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’abantu omusanvu mu kitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA mu Uganda. Ekisanja kye kyatambula okutuusa mu Gwokusatu 2020. [9]

Fred Omach mufumbo. Ayagala nnyo okuyiga Baibuli, okuzannya golf n'okusoma .

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://sunrise.ug/finance-and-banking/202504/pride-microfinance-officially-transitions-to-pride-bank-limited-ushering-in-a-new-era-of-financial-inclusion-in-uganda.html
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1448506/minister-omach-unra-board-boss
  3. https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-26. Retrieved 2025-07-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
  6. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  7. 1 2 {{cite web}}: Empty citation (help)Denzel Shantel (26 April 2015). "Meet Fred Omach, The Pillar Of Nebbi District". Kampala: Showbiz Uganda. Retrieved 25 March 2019.
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-25. Retrieved 2025-07-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/Ex-minister-Omach-head-UNRA-board/688334-3850210-9no0cx/index.html

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]