Jump to content

Fred Ruhindi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ruhindi Fredrick
Munnayuganda munnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waFred Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga29 Gwamunaana(Muwakanya) 1955 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda, Kampala Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnamateeka, munnabyabufuzi, Minisita, human rights defender, legislator Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda, Ssabawolereza wa gavumenti ya Uganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raUniversity of Edinburgh, Ssettendekero wa Makerere, Mbarara High School Kyusa Wikidata
GyabeeraBugoloobi Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1981 Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa Wikidata
Okwe­siim­ba­wo kwe mu kaluluAkalulu ka Uganda aka 2026 Kyusa Wikidata
Mmemba wa12th Parliament of Uganda Kyusa Wikidata

Fredrick Ruhindi amanyiddwa ennyo nga Freddie Ruhindi oba Fred Ruhindi munnamateeka nga munnayuganda ate era munnabyabufuzi , Yaliko Ssaabawolereza wa gavumenti ya Yuanda okuva nga 1 ogwokusatu 2015 okutuuka mu 2016. [1] Wakati wa nga 2 ogwomukaaga 2006 ne nga 28 ogwokubiri 2015, yaliko Minisita w’obwenkanya ow’ebyamateeka ne ssemateeka mu kabineti ya Yuganda . [2] Mu nkyukakyuka ezakolebwa mu kabineti nga 16 ogwokubiri 2009, [3] ne nga 27 ogwokutaano 2011, [4] yasigaza ekifo kye ekya kabineti. Era ye mubaka omulonde akiikirira Divizoni y'e Nakawa mu Disitulikiti y'e Kampala . [5]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 29 ogwomunaana mu 1955. O-level yagisomera ku Mbarara high school, n’afuna Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1973. A-level yagisomera ku Ntare school, n’afuna ebbaluwa ya Uganda Advanced Certificate of Education mu 1975. Alina diguli ya Bachelor of Laws okuva mu Ssetendekero w'e Makerere . Era alina Dipuloma mu by’amateeka okuva mu kitongole ky'amateeka mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene. Diguli ye eya Master mu mateeka yagifuna okuva ku u yunivasite y'e Edinburgh . [5]

Okumala ebbanga lya myaka kkumi nagumu, wakati wa 1981 okutuuka mu 1992, Fred Ruhindi yakola nga omuwolereza wa gavumenti, mu Ministry y'obwenkanya n'ensonga z'amateeka. Oluvannyuma yakyusibwa n’atwalibwa mu kitongole kya Uganda ekivunanyizibwa ku by’ensimbi eziteekebwa mu ggwanga), gye yakola nga ssabawandiisi, okuva mu 1992 okutuuka mu 1999. Yayingira ebyobufuzi mu mwaka gwa 2001 n'alondebwa mu palamenti okukiikirira Divizoni y'e Nakawa mu Disitulikiti y'e Kampala . Yaddamu nnalondebwa mu mwaka gwa 2006. Awereza nga Minisita w’obwenkanya ne’ebyamateeka okuva mu mwaka gwa 2006. Okuva mu June wa 2006 okutuuka mu February wa 2015, era yawerezaako ng'omumyuka wa Ssaabawolereza wa Uganda . [5] [2] Mu nkyukakyuka ezakolebwa mu kabineti nga 1 ogwokusatu 2015, yalondebwa ku bwa Ssaabawolereza wa Uganda. [1]

Ebikwata ku muntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Fred Ruhindi ssemwandu. Agwa mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Wa nzikiriza yakikristaayo . [5]

  1. 1 2 https://web.archive.org/web/20170709092825/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/2639388/data/956667/-/oq6gpdz/-/cabinet.pdf Cite error: Invalid <ref> tag; name "Shuffle" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695 Cite error: Invalid <ref> tag; name "Cabinet" defined multiple times with different content.
  3. ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
  4. ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  5. 1 2 3 4 "Profile of Ruhindi Fredrick, Member of Parliament for Nakawa Division, Kampala District". Parliament of Uganda. 2011. Retrieved 14 February 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Profile" defined multiple times with different content.