Jump to content

Fred Wabwire-Mangen

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Frederick Wabwire-Mangen musawo Munnayuganda, omukugu mu by'obulamu era munoonyereza w'ebyobulamu . Mu kiseera kino ye Pulofeesa w'eby'obulwadde era akulira ekitongole kya Epidemiology & Biostatistics mu Makerere University School of Public Health . Wabwire-Mangen era akola nga Ssentebe w'akakiiko ka Kampala International University era ye yatandikawo ekibiina kya Accordia Global Health Foundation ekya Academic Alliance [1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Busia mu Buvanjuba bwa Uganda . Yasomera mu Nakasero Primary School era yatuula ebigezo bye ebya siniya ey'okuna mu St. Mary's College Kisubi . Professor Wabwire-Mangen yafuna diguli ye esooka mu busawo eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery ( MBChB ) okuva mu Makerere University School of Medicine . Era alina dipuloma mu bujanjabi bw'endwadde ezileetebwa olw'obutiti n'obuyonjo eya Diploma in Tropical Medicine and Hygiene ( DTM&H ) okuva mu Liverpool School of Tropical Medicine . Diguli mu by'obulamu eby'olukale eza Master of Public Health ( MPH ) ne Doctor of Philosophy ( PhD ), zombi yazifuna okuva mu Bloomberg School of Public Health mu Johns Hopkins University e Baltimore, Marylandmu Amerika. [2]

Obumanyirivu mu mirimu gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Dr. Wabwire-Manghen abadde munoonyereza, musomesa era lekikyala mu bbanguliro ly'abasawo erya Makerere University School of Public Health okumala ekiseera ekiwerako mu bulamu bwe obw’ekikugu. Afulumizza emiko mu bitabo by’obusawo n’ebitabo ebirala ebikwata ku bavubuka ebifulumizibwa. Y'akulira okunoonyereza ku kawuka akaleeta siriimu mu sub-Sahara Africa . Era ye ssentebe w'olukiiko lw'eggwanga oluvunaanyizibwa ku bungi bw'abantu . Era yaliko omukulu w’ebbanguliro ly'abasawo erya Makerere University school of Public Health [3] Pulofeesa Fred Wabwire-Mangen mmemba w’ettendekero lya Uganda National Academy of Sciences. [4]

Ebimu ku by'eyanoonyereza eby'afulumizibwa mulimu bino wammanga; Malaria in Uganda: Challenges to control on the long road to elimination: I. Epidemiology and current control efforts. [5] Male circumcision for HIV prevention in men in Rakai, Uganda: a randomised trial. Okunoonyereza kuno kwalaga ntu okukomolebwa kw'abasajja kukendeeza emikisa gy'okukwatibwa akawuka ka siriimu mu basajja singa babeera b'egendereza. Okukomolebwa kitwalibwa okubeera emu ku ngeri y'okwewalamu okusiigibwa akawuka ka siriimu mu basajja.[6] Viral load and heterosexual transmission of human immunodeficiency virus type 1. Okunoonyereza kwa kakasa nti omuwendo gw'obuwuka mu musaayi gw'omuntu ky'ekiviirako okusaasaanya obulwadde mu bantu ab'ekikula ekiral era okusiiga kutono nnyo mu bantu abalina omuwendo gw'akawuka akali wansi wa 1500 HIV-1 RNA per milliliter.[7] Rates of HIV-1 transmission per coital Act, by stage of HIV-1 infection, in Rakai, Uganda.[8] Probability of HIV-1 transmission per coital act in monogamous, heterosexual, HIV-1-discordant couples in Rakai, Uganda. Okunoonyereza kuno kwalaga nti obungi bw'akawuka mu musaayi n'amabwa g'omu bitundu by'ekyama by'esinga okuviirako okusaasaanya akawuka ka siriimu mu Bannayuganda.[9] Control of sexually transmitted diseases for AIDS prevention in Uganda: a randomised community trial. Okunoonyereza kw'azuula nti tewali bulabe buleetebwa ndwadde z'akikaba z'etaba mu kusaasanya akawuka ka mukenenya.[10] Current status and future prospects of epidemiology and public health training and research in the WHO African region. Okunoonyereza kwalaga nti waliwo obwetaavu mu kutendeka abantu ku kawuka kano era n'okwongera amaanyi mu kunoonyereza n'ebisoomooza obujjanjabi bwa wamu okwetoloola ensi yonna.[11] Obulwade bwa siriimu bugirako okukyankalana mu busimu obukuuma ebitundu by'ekyama eby'abakyala.[12] Obulabe obweyongedde mu bakyala b'embuto okufuna akawuka ka siriimu mu Rakai, Uganda: Okunoonyereza ku biseera eby'omumaaso.[13] Okunoonyereza okwesigamiziddwa ku kuzaala mu bakyala abalina akawuka ka siriimu mu Uganda.[14] Ebiva mu kukomolebwa kw'abasajja ku bubonero bw'ebitundu by'ekyama eby'abakyala n'okukwatibwa kw'obulwadde bw'ekyama mu kugezesa okwakolebwa mu Rakai, Uganda.[15]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20141226184404/http://www.accordiafoundation.org/what-we-do/infectious-diseases-institute-uganda/ugandan-academic-alliance/index.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-22. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-19. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20150302002902/http://ugandanationalacademy.org/fellow_profile.php
  5. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3156969
  6. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0140673607603134
  7. https://doi.org/10.1056%2FNEJM200003303421303
  8. https://doi.org/10.1086%2F429411
  9. https://www.thelancet.com/journals/lancet/article/PIIS0140-6736(00)04331-2/fulltext
  10. https://doi.org/10.1016%2FS0140-6736%2898%2906439-3
  11. https://academic.oup.com/ije/article/41/6/1829/748411
  12. https://doi.org/10.1016%2FS0140-6736%2897%2901063-5
  13. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0140673605674818
  14. https://doi.org/10.1016%2FS0140-6736%2897%2909381-1
  15. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC2727852

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

 

Lua error: Invalid configuration file.