Jump to content

Frederick Drandua

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Frederick Drandua, yazaalibwa nga 12 Ogwomunaana mu 1943,n'afa nga 1 Ogwomwenda mu 2016, nga yali Faaza w'Abakatuliki Omunnayuganda, eyaweereza ng'Omulabirizi w'Essaza ly'e Arua, mu Uganda, okuva nga 27 Ogwokutaano mu 1986 okutuusa nga 19 Ogwomunaana mu 2009. [1]

Obuvo n’obusaserdooti

[kyusa | kolera mu edit source]

Drandua yazaalibwa mu Uleppi, mu emannyikiddwa nga Disitulikiti y’e Ma’di-okollo kati, mu kitundu kya West Nile, mu bitundu by'omu Bukiikakkono bwa Uganda, nga 12 Ogwomunaana mu 1943. Yatuuzibwa ku bwafaaza nga 9 Ogwomunaana mu 1970. Yaweereza nga Faaza w’essaza ly’Abakatuliki mu Arua okutuusa nga 27 Ogwokutaano mu 1986. [1]

Ng'omulabirizi

[kyusa | kolera mu edit source]

Paapa John Paul II yamulonda ng'omulabirizi nga 27 Ogwokutano mu 1986 era n’atukuzibwa ng’Omulabirizi w’e Arua nga 15 Ogwomunaana mu 1986, nga kino kyakolebwa Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga †, Ssaabalabirizi wa Kampala, ng’ayambibwaako [./Emmanuel_Wamalahttps://en.wikipedia.org/wiki/Emmanuel_Wamala Emmanuel Wamala], Omulabirizi w’e Kiyinda-Mityana n’Omulabirizi Cesare Asili †, Omulabirizi w’e Lira, Uganda. [1]

Omulabirizi Frederick Drandua yalekulira eby'okubeera Omulabirizi mu Arua nga 19 Ogwomunaana mu 2009, [1] ng'eby'obulamu bwe by'ali mu mbeera mbi. [2] Yafa nga 1 Ogwomwenda mu 2016, mu ddwaliro lya St. Francis Hospital Nsambya, e Nsambya, Kampala, Uganda, ng'alina emyaka 73. [1] [2] [3]

Ekimeeza ekiraga abaamudira mu bigere

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 David M. Cheney (11 February 2019). "Bishop Frederick Drandua (Deceased): Bishop Emeritus of Arua, Uganda". Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 19 August 2019. Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  2. 1 2 Juliet Lukwago (1 September 2016). "Bishop Fredrick Drandua of Arua Dies". Kampala. Retrieved 19 August 2019.
  3. David Rupiny, and Robert Ariaka (1 September 2016). "Bishop Frederick Drandua Dead". Uganda Radio Network. Retrieved 19 August 2019.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]